TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omukazi abadde afera ebibanda by'ensimbi mukwate

Omukazi abadde afera ebibanda by'ensimbi mukwate

Added 5th November 2012

POLIISI mu Kampala ekutte n'eggalira omukazi agambibwa okubeera mu kibinja ky'ababbi abakozesa olukujjukujju n'ebabba ssente eziba ziwerezeddwa okuva ebweru w'eggwanga.

Bya Eria Luyimbazi

POLIISI mu Kampala ekutte n'eggalira omukazi agambibwa okubeera mu kibinja ky'ababbi abakozesa olukujjukujju n'ebabba ssente eziba ziwerezeddwa okuva ebweru w'eggwanga.

Anatoli Wanyama oluusi eyeyita Mariam oba Chichi yeyakwatiddwa poliisi y'e Kabalagala oluvanyuma lw'okukwatagana n'e banne abalala abakyaly’obutaala n'ebanyaga ssente ezisoba mu bukadde 40 ezaali ziwerezeddwa omuntu okuva emitala wa mayanja.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano Ibin Ssenkumbi yagambye Wanyama ng'akolagana n'abasajja abalala baagenda mu kibanda ekivungisa ssente ekiyitibwa Jet Forex Bureau e Kabalagala nga bamaze okujingirira ebiwandiiko nebanyaga ssente ezaali ziwerezeddwa omwami omu eyategerekese nga Andrew Ssegawa.

"Poliisi erudde ng'efuna okwemulugunya okuva mu bantu nga bwe waliwo abababbira ssente zaabwe eziba zibawerezeddwa okuva ebweru w'egganga era naffe bwe twafunye kwemulugunya okuwera kwekusitukiramu netukola okunoonyereza kwaffe okwatutuusizza ku kukwata omukazi ono nga twagala atuyamba tukwate ne banne" Ssenkumbi bwe yagambye.

Yagambye nti okukwata Wanyama yabadde agenze okuddamu okufuna ssente endala nga nazo kigambibwa z'ababadde ziwerezeddwa okuva ebweru w'eggwanga okugenda ew'omuntu omulala.

Wabula Wanyama yagambye nti obubbi buno yabadde tabumanyiko nga waliwo abasajja abamukubira ssimu nga bamusaba abafunire ebikwata ku Ssegawa eyabadde awerezeddwa ssente nga bamusuubiza okumusasula bwamaliriza omulimu guno .

Poliisi we yakwatidde Wanyama yabadde alina akapapula okuli ebikwata ku Ssegawa oluvanyuma n'emugulako omusango oguli ku fayiro CRB 6930/2012

 

Omukazi abadde afera ebibanda by''ensimbi mukwate

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...