TOP

Ekikwekweto ku babba mmotoka kiyodde omugagga

Added 10th November 2012

EKITONGOLE kya poliisi ekya VCIOPU ekirwanyisa obubbi n’ettemu mu Kampala n’emiriraano kikoze ekikwekweto ku bubbi bwa mmotoka mwe kiyooledde omugagga Godfrey Ssengendo

Bya JOSEPH MUTEBI

EKITONGOLE kya poliisi ekya VCIOPU ekirwanyisa obubbi n’ettemu mu Kampala n’emiriraano kikoze ekikwekweto ku bubbi bwa mmotoka mwe kiyooledde omugagga Godfrey Ssengendo annyonnyole ku mmotoka omusanvu ezaasangiddwa mu kikomera kye.

Mmotoka zino ez’ebika eby’enjawulo okuli IPsum, Prado, Spacio, Toyota, n’endala, zaasangiddwa mu kikomera kya Ssengendo ekisangibwa e Kyengera mu Nabaziza Zooni mu kiro ekyakeesezza Olwokuna.

Okukwatibwa kw’omugagga ono kwaddiridde Dr. Zeverio Ssamula eyabbiddwaako emmotoka, kyokka babbulooka ne b
amukubira essimu nga bamutegeeza nga bwe balina mmotoka ezitundibwa ku bbeeyi eya layisi.


Abalala abaakwatiddwa nga bali ku mpingu.

Babbulooka bano baakwataganye ne Ssamula ne boolekera Kyengera mmotoka we zaabadde. Omuguzi ono bwe yazirabye kwe kugenda n’atemya ku poliisi eyayungudde abaserikale baayo ne bazinda ekikomera ne bayoola buli eyabaddewo.


Mu kuzinda ekifo, waasangiddwawo abavubuka basatu abaakwatiddwa era poliisi yagenze n’ekwata ne babbulooka bataano okuva mu Ndeeba abaabadde banoonyeza mmotoka zino akatale. Oluvannyuma poliisi yakimye nnyinizo, Ssengendo gwe yaggye e Mpigi naye n’emugattako.

Ssengendo musajja nneekolera gyange nga mutuuze w’e Kyengera kyokka ne Mpigi gye yaggyiddwa alinayo amaka. E Mpigi alinayo ekifo mw’asomeseza abantu eby’obuwangwa n’okubajjanjaba mu ngeri y’ekinnansi.

Isma Mugerwa omutunzi w’emmotoka mu Ndeeba ng’ali ku mpingu.

Ssengendo yennyonnyoddeko

Wabula mu kunnyonnyola kwe, Ssengendo agamba nti mmotoka zino zonna zize era abadde azikozesa mulimu gwa sipensulo. Kyokka gye buvuddeko yafuna looni okuva mu bbanka emu n’emulema okusasula kye yavudde asalawo atunde mmotoka ze zino.


Ezimu ku mmotoka ezaasangiddwa mu kikomera kya Ssengendo.

Yatumizza kaadi zaazo n’azikwasa poliisi okukakasa obwannannyini kyokka poliisi yagenze okuzeetegereza ng’ezimu tezirina TIN nnamba nga bwe kiteekeddwa okubeera ku buli kaadi ya mmotoka. Oluvannyuma Ssngendo yatwaliddwa ku CPS okwongera okunoonyereza ku mmotoka zino.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Idd Ibin Ssenkumbi yategeezezza nti bagenda kutwala kaadi zino mu kitongole kya URA kizeetegereze era ekinaazuulwa kye kijja okubawa ekyokukola. Yayongeddeko nti ekyatwazizza Ssegendo ku CPS kumuggyako sitatimenti ku nsonga zino.

Dr. Ssamula agamba nti yaleeta makanika omu awaka okumukanikira mmotoka kyokka wayita ennaku nnya mmotoka ye eno n’ebbibwa. Oluvannyuma makanika ono yamukubira essimu ng’amutegeeza nga bw’alina abantu baamanyi abalina mmotoka ezalayisi kwekuzimutwalako era bwebatuuseeyo nga za Ssengendo.

Dr. Ssamula olunwe alusonga mu makanika nti alina ky’amanyi ku kubbibwa kwa mmotokaye nti era babbuloka bano balina engeri gyebaakolaganamu ne makanika gweyaleeta awaka nga ayagala poliisi ebanyweze.

 

Ekikwekweto ku babba mmotoka kiyodde omugagga

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bamukutte mu bubbi ne yeeka...

"Nnaliko omubbi ne mbuvaamu nga mu kiseera kino sirina mulimu wabula maama ampa buli kyetaago siraba lwaki nziba,...

Poliisi ekutte Sipapa

Poliisi ekutte Sipapa

Patrick Onyango omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano bwe yatuukiriddwa ku ssimu yakakasizza okukwatibwa...

Abaserikale nga bakutte Kirumira.  Mu katono ku kkono ye Namulindwa n'omwana we gw'agamba nti Kirumira yamukubisizza waya z'amasannyalaze.

Abatuuze gwe balumiriza oku...

Kirumira yategeezezza nti abantu abakubira nsonga ng'omwana yamukubidde kutwala firimu ey'obuseegu ewuwe n'ekigendererwa...

Omugagga Katumwa

Omugagga Katumwa ayimbuddwa...

OMUGAGGA David Katumwa ayimbuddwa n’ayogera b’agamba nti bebali emabega w’okumusibisa. Katumwa okuyimbulwa baamuggye...