TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bamukutte lwa kukozesa lukujjukujju n'anyaga omusuubuzi

Bamukutte lwa kukozesa lukujjukujju n'anyaga omusuubuzi

Added 13th November 2012

POLIISI ekutte n'eggalira omusajja agambibwa okuggya ssente ku muvubuka ng'amusuubiza okumufunira viza emutwala e Dubai akube ekyeyo.

Bya Eria Luyimbazi November 13, 2012

POLIISI ekutte n'eggalira omusajja agambibwa okuggya ssente ku muvubuka ng'amusuubiza okumufunira viza amutwale e Dubai akube ekyeyo.

Suleiman Lubowa ye yakwatiddwa poliisi oluvannyuma lw'omuvubuka Brian Nalima gwe yaggyako ssente z'okumutwala e Dubai okwekubira enduulu ku poliisi n'aggulawo omusango  gw'okufera ssente ze obukadde 3 n'atamutamufunira visa.

Nalima yagambye nti Lubowa yamutegeeza nga bw'agenda okumutwala e Dubai amufunire omulimu kuba waliwo omugagga eyeetaaga omukozi ssaako n'okumufunira viza emutwala, n'amusaba amusasule obukadde 3 ze yamuwa mbagirawo oluvanyuma lw'okutunda ebintu bye.

"Lubowa yangamba nti ajja kuntwala e Dubai nkube ekyeyo era ne ntunda ebyange kyokka ebbanga lye yang'amba liweddeko atandise okumbuzaabuza kuba yali angambye  nti buli mwezi nja kufuna doola 500", Nalima bwe yagambye.

Yagambye nti yatuukirira Lubowa amuwe Viza gye yamusuubiza n'atandika okumubuzaabuza, kyokka oluvanyuma n'abaako olupapula lw'amuwa okumulaga nti ye viza ekyamuviiriddeko okwekengera .

Yategezezza nti yatutte olupapula olwamuweereddwa okulwekebejja mu kkampuni z'ennyonyi oba lutuufu ne zikakasa nti lujingirire ekyamuleetedde okugenda ku poliisi n'aggulawo omusango.

Yagasseeko nti Lubowa yali amusuubiza okusitula okugenda e Dubai nga October 10 kyokka n'atandika ookubiwanvuya okutuusa lwe yamutwalidde abasirikale abaamukwatidde ku kizimbe kya Namaganda Plaza w'agamba nti we wasangibwa ofiisi ye.

Wabula Lubowa yeegaanyi eby'okufuna ssente okuva eri Nalima ng'ategeeza nga bwe waliwo abamulwanyisa nga be bamuwendulira abantu okumulemesa emirimu gye.

 

 

Bamukutte lwa kukozesa lukujjukujju n''anyaga omusuubuzi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...