
Bya Muwanga Kakooza
BANNADIINI n'ebibiina by'obwa nakyewa ebirala bagenze mu palamenti ne basaba minisita w'ebyamafuta aleme kuweebwa buyinza bw'ankomeredde ku kugaba layisinsi z'okusima amafuta mu Uganda.
Akawayiro akawa minisita obuyinza buno kakyagulumbya palamenti era wiiki ewedde ke kaavuddeko ababaka okuva mu mbeera ne batandika okuwogganira wamu n'okukola effujjo eddala sipiika ne bimusobola n'afuluma palamenti. Ababaka nga 200 bagenda kuyitibwa babuzibwe akana n'akataano ku busiwuufu bw'empisa buno.
Kyokka ebibiina by'obwa nnakyewa ebiwerako omwabadde n'ekibiina ekigatta enzikiriza eziri mu Uganda ekya 'Inter Religious Council of Uganda' byagenze mu palamenti ne bisaba ababaka baleme kugwang'ana mu malaka lwa nsonga z'amafuta wabula bazikwate mu bukkakkamu.
Ssaabawandiisi w'ekibiina kino Mssgr John Kawuta yakwanze sipiika Rebecca Kadaga ekiwandiiko ky'ensonga eziruma bannaddiini .
Baagambye nti baagala olukiiko lwa baminisita lwe luba luweebwa obuyinza bw'okugaba layisinsi z'okusima amafuta kyokka nga palamenti y'ezikakasa.
Era baagala palamenti y'eba ekakasa abagenda abalondebwa okukulembera ekitongole ekigenda okuvunaanyizibwa ku by'amafuta, nga n'obuyinza bwonna obuweebwa minisita ku nsonga z'amafuta alina okubokozesa nga yeebuuza ku kitongole ekigenda okuvunaanyizibwa ku by'amafuta.
Frank Muramuzi ow'ekibiina kya NAPE naye yeemulugunyizza ku kya Gavumenti okugaana ebibiina by'obwa nnakyewa okusomesa abantu ebikwata ku mafuta mu kitundu gye gagenda okusimwa.
Abalala abaagenze mu palamenti kw'abadde aba West Ankore , ebibiina ekibiina ekigatta abavubuka Abanyoro, n'ekigatta abantu ababeera mu bitundu awagenda okusimwa amafuta.
Ababaka ensonga z;amafuta tezimureetamu ffujjo - Bannaddiini