TOP

Ssente enkadde zikoma mu March 2013

Added 7th December 2012

BBANKA enkulu eweze empapula za ssente enkadde ezaafulumizibwa wakati wa 1987 ne 2010 omuli n’akapapula k’omutwalo aka CHOGM akaakubwa mu 2007.

Bya AHMED MUKIIBI

BBANKA  enkulu eweze  empapula za ssente enkadde ezaafulumizibwa  wakati wa 1987 ne 2010 omuli n’akapapula k’omutwalo aka CHOGM akaakubwa mu 2007.

Okutandika ne March 2013,  buli muntu  ssente eziriko emyaka egikka wansi wa 2010 zigenda kumufiiririra kubanga zijja kuba tezikyakola.

Omumyuka wa Gavana wa Bbanka enkulu,  Dr.  Lousi Kasekende yategeezezza mu kiwandiiko kye yafulumizza eggulo nti empapula za ssente okuva ku 1,000,  5,000, 10,000, 20,000 ne 50,000 eziriko emyaka egikka wansi wa 2010 zikoma okukola nga March 30, 2013.

 Yagambye nti Bbanka ez’obusuubuzi ziragiddwa okukoma  mbagirawo okugabira bakasitooma ensimbi enkadde ezikka wansi w’omwaka 2010. Ssente ezigwa mu ttuluba lino, Dr. Kasekende yagambye nti ziri ebitundu 4 ku 100 byokka ku nsimbi zonna eziri mu bantu

“Abantu abalina ssente enkadde baakusigala nga bazikozesa mu mirimu ne bizinensi zaabwe  okutuuka nga March 30 Bbanka enkulu lwe nsuubira nti eneeba ezikung’aanyizizza”, Dr. Kasekende bwe yagambye.

Yannyonnyodde nti wakati wa March 30 ne May 30, abantu abanaaba basigadde ne ssente enkadde bajja kuzitwala mu Banka ez’obusuubuzi baziwaanyiseemu n’empya ez’emyaka okuva mu 2010 okudda waggulu awatali kuggyibwako magoba oba okusalwako ssente zaabwe.

Dr. Kasekende yagambye nti  okuva nga May 30, bbanka ez’obusuubuzi tezigenda kuddamu kuwaanyisa ssente n’agamba nti  abanaaba basigazza ssente enkadde bagenda kuziwaanyisa ku matabi ga bbanka enkulu  mu Kampala, Masaka, Jinja, Mbale, Gulu, Mbarara, Arua, Kabale, ne Fort Portal nga kino kyakukoma nga December 31, 2013.

Ssente enkadde zikoma mu March 2013

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamu ku Badiventi nga balaga ekkanisa yaabwe eyamenyeddwa.

Bamenye ekkanisa y'Abadiventi

ABAADIVENTI balaajanidde gavumenti n'ekitongole ky'ebyokwerinda kinoonyereze ku baamenye ekkanisa yaabwe. Ekkanisa...

Omubaka Ssebunya (akutte akazindaalo). M katono ye Nanteza

Nnamwandu wa Kibirige Ssebu...

OMUBAKA Kasule Sebunya owa Munisipaali ya Nansana agumizza Abalokole muka kitaawe be yagabira ettaka ng'akyali...

Omubaka Zziwa (ku kkono) ng’ayogera eri abakungubazi mu kusabira omwoyo gwa nnyina mu katono.

Batenderezza maama wa Marga...

BANNADDIINI batenderezza omukwano Josephine Mugerwa 76, Maama wa Margaret Zziwa Babu gw'abadde nagwo ne basaba...

Katende

Eyakubiddwa akakebe ka ttiy...

ABOOLUGANDA lw'omusuubuzi mu katale ka St. Balikuddembe eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu Kampala mu kwekalakaasa...

Ssegirinya atenda Nalufeenya

Ssegirinya yandyesonyiwa ''Struggle'' ! sikuntenda gyatendamu Nalufeenya.