TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ababbi baleese obukodyo obupya mu biseera bya Ssekukulu

Ababbi baleese obukodyo obupya mu biseera bya Ssekukulu

Added 14th December 2012

ABABBI abanyakula ebintu omuli ssente n’ebintu eby’omuwendo bazinze Kampala wakati mu biseera bya Ssekukkulu era mu bunyazi buno abantu bangi bafiiriddwa ebintu byabwe eby’omuwendo.

Bya Margaret Ziribaggwa, Benjamin Ssebaggala, Joseph Mutebi,   Henry Ssennyondo ne  Hannington Nkalubo

ABABBI abanyakula ebintu omuli ssente n’ebintu eby’omuwendo bazinze Kampala wakati mu biseera bya Ssekukkulu era mu bunyazi buno abantu bangi bafiiriddwa ebintu byabwe eby’omuwendo.


Obunyazi buno butadde Bannakampala abagula ebintu bya Ssekukkulu ku bunkenke, nga batya okutambula n’ensimbi olw’ababbi abeesomye nga bakozesa eryanyi okunyaga nga waliwo n’abantu be batuusizzaako obulabe.

 

EBIFO EBY’OBULABE:
Oluguudo lwa William Street okuva ku Gazaland okutuuka ku Kirumira Towers, omwala gw’e Nakivubo okuva ku katale ka Kisekka okutuuka ku Clock Tower, ku Mini Price okutuukira ddala ku Namirembe Road, Hollywood Theatre, Queen’s Way, wakati w’ebizimbe bya Qualicel ne Jessco, ku kibaati kye baakuba awaali paaka empya, ku Kafumbe Mukasa Road mu Kisenyi ku luguudo lwe baakazaako Mayirungi Road,

Ku mwala gwa Nakivubo, okuva ku Pride Theatre okugenda ku ssomero lya Nabagereka, amadaala agayingira mu paaka wamu n’emiryango egiyingira n’okufuluma mu paaka enkadde, emiryango g’omu Kikuubo, amasang’azira agagatta oluguudo lwa Lumu ne Ben Kiwanuka, siteegi ya takisi ku Arua paaka, n’oluguudo lwa Allen Road.

ENGERI GYE BABBAMU
Akulira poliisi ya Mini Price, James Ariko agamba nti ababbi bano batambulira mu bibinja by’abantu nga mukaaga nga bwe bakutuukako nga bakutomera era mu kavuvung’ano kano nga bakunyaga mu kaseera mpawe kaaga kubanga omu aba asumulula zzipu, abalala nga basala ensawo n’eggirita.


Yannyonnyodde nti mu bakwatiddwa kuliko, Edgar Muhairwe, Yusuf Waidangala, Abdu Kakaire, Bbosa Muhamud ne Simon Kiconco nga bakuumirwa ku Poliisi ya Muzaana mu Kisenyi.


Umar Semanda agamba nti abeera Ntebe ng’ono kigambibwa nti abbira ku Mukwano Arcade. Ssemanda Poliisi yamwogezza n’agitegeeza nti basinga kwetannira nnyo abantu abayambadde obulungi n’abakutte ebisawo.

Bafunye n’ebigambo bye bakozesa ng’oli bw’abalabikira nti talina ssente bamuyita ‘musomesa’ era tebatawaana naye.

Ate ku muntu alabika ng’ava mu kyalo ng’alina ssente omu ajja n’akuyitako n’aleekaana nti ‘ku kigobero’ era olwo banne ne bakuyiikira.

Omubalirizi w’ebitabo mu kkampuni ya AHTHAKKAR and Sons, Henry Nyanzi y’omu ku baalozezza ku bukambwe bw’ababbi bano bwe yagudde mu kibinja ky’abavubuka mukaaga ku ssaawa 2.30 ez’ekiro ekyakesezza ku Lwokusa-tu ne bamukuba agakonde oluvannyuma ne bamunyagulula amasimu ne ssente.

Poliisi yasobodde okukwatako Shafik Mubiru gw’agamba nti ye yakulidde abaamunyaze era yabadde amwetegerezza bulungi. Omusango guli ku fayiro nnamba 53/11/12/12 eya poliisi ya Mini Price.

Ebintu bye basinga okubba kuliko ssente enkalu, kompyuta, essimu, eby’omubulago, essaawa, ssente z’oku mobile money, batwala emigugu naddala egirimu ebintu ebipya, ensawo empya.
Bw’oba oweese ensawo oluusi bagisalamu ekituli ne babbamu ebiri munda nga tebakukutteeko.


Ku bodaboda ezaatuumibwa ‘bodataxi’ nga zisimba ku Blueroom era nga tezitikka muntu omu, ababbi bazeeyambisa nnyo bwe balaba ng’omaze okutuula omulala n’akutuula emabega n’akusala ensawo oba oluusi okukolagana n’abavuzi ba bodaboda bennyini ne bakubbira mu kkubo.


Kuno kw’ogatta n’abeefuula abeetissi b’emigugu naddala ku bbaasi kyokka k’omuggyako amaaso ng’abula n’ebintu byo.
Abantu abatambula bakutte mu nsawo nga tebaziggyamu n’abo ababbi bano babateebereza nti balina ssente. Olwo beegabanya ne bakukoona n’ogwa wansi era mu kavuvung’aano k’okuyimuka ne bakunyaga.

Abavuzi b’emmotoka abatambulira ku Mukwano Road, emmotoka bw’obeera togisibye ababbi bagiggula naddala mu jjaamu ne bakusikako ensawo oba bwe mubaamu laputoopu ne bagitwala.


Omuwala Mariam Awor owa Mutungo zooni 4, ababbi baamusaze ensawo ku Lwokubiri lwa wiiki eno ne bamubbako 40,000/-. Omusango gwe guli ku fayiro nnamba SD 08/11/12.

Ate Hadija Alinde yakiguddeko bwe baamunyazeeko ensawo eyabaddemu engoye ze yabadde ava okusuubula ezibalirirwamu 650,0000/-, era omusango yagugguddewo ku poliisi ya paaka y’omu Kisenyi ku SD/ 07/06/12/12.


‘TUBALINNYA KAGERE’
Akulira ebikwekweto bya CPS, Ezra Tugume agamba nti baatandise okukola ebikwekweto mu paaka za bbaasi oluvannyuma lw’okuzuula nti ababbi bagifudde mpuku yaabwe.


Akulira poliisi y’omu takisi paaka, James Kintu, agamba nti ababbi babadde bangi kyokka bagezezzaako okubafunza era babalinnya kagere buli we balaga.


Ate akulira poliisi ya Blueroom, Willy Ndyanabo agamba nti ababbi ababbira okumpi n’omwala bwe bamala okunyaga nga beefuubitika munda nga kino kibalemesa okubalondoola.




 

Ababbi baleese obukodyo obupya mu biseera bya Ssekukulu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

DERRICK ORONE naye alaze by...

Yawangudde eky'omubaka wa Gogonyo mu disitulikiti y'e Pallisa. Aludde mu nsiike y'okuyimba era abaddeko maneja...

GEOFFREY LUTAAYA alaze byat...

GEOFFREY LUTAAYA Sisobola kuva mu kuyimba kuba kwe kunfudde Lutaaya ensi gw'emanyi naye olw'obuvunaanyizibwa kati...

Ebyakwasizza Dr Lulume mu k...

OMUBAKA wa Buikwe South eyaakalondebwa Dr. Lulume Bayiga n'abantu abalala mwenda baakwatiddwa poliisi y'e Nyenga...

'Siri mwangu buli ankubyeek...

EYAGAANYE okusasula ssente z'entambula bamutabukidde ne bamwambula ne bamutwala ku poliisi gye yeekoledde obusolo...

Ssaabasumba asabye Gavument...

SAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala Dr.Cyprian Kizito Lwanga awadde Pulezidenti Museveni amagezi okusoosowaza...