TOP

Ssaabalabirizi Stanley Ntagali atuuziddwa

Added 16th December 2012

SSAABALABIRIZI w''Ekkanisa ya Uganda omuggya Stanley Ntagali atuuziddwa mu ntebe ye mu Lutikko e Namirembe okudda mu bigere bya Henry Luke Orombi era Pulezidenti Yoweri Museveni abadde omugenyi omukulu alabudde ku kirwadde kya siriimu nti kituuse okumalawo eggwanga kubanga okunoonyereza kulaga nti k

Bya BENJAMIN SSEBAGGALA 16/12/2012

SSAABALABIRIZI w'Ekkanisa ya Uganda omuggya Stanley Ntagali atuuziddwa mu ntebe ye mu Lutikko e Namirembe okudda mu bigere bya Henry Luke Orombi era Pulezidenti Yoweri Museveni abadde omugenyi omukulu alabudde ku kirwadde kya siriimu nti kituuse okumalawo eggwanga kubanga okunoonyereza kulaga nti kizzeemu okulinnya.

Agambye nti siriimu okulinnya kivudde ku bantu okusuula enkola ey’ennono okuva ku by’okwegadanga nga tebannaba kufumbirwa oba abafumbo okwesigang’ana ne balowooza okweyinulira ku nkola ezassibwawo ng’okukomola abasajja oba okukozesa kondomu so nga byonna tekuli kiremeseza ddala muntu kukwatibwa bulwadde buno.

Ddiini w’ekkanisa ya Uganda era Omulabirizi w’e Luweero Evans Mukasa Kisekka ye yakulidde emikolo gy’okutuuza Ssaabalabirizi Ntagali ku lutikko e Namirembe wakati mu mizira n’enduulu era Pulezidenti Museveni yamuwadde Kapyata n’amukwasa ebiwandiiko byayo.

Ssaabalabirizi w’e York eyawummudde John Sentamu yakuutidde Ntagali okubeera omwesigwa era owamazima ng’atambuza emirimu gy’Ekkanisa.  Abalabirizi b’Ekkanisa ya Uganda baabaddewo ne bakuba ekiragaano ky’okuwulira n’okukola ne Ssaabalabirizi omuggya okutwala Ekkanisa mu maaso.

 Ntagali ne mukyala we, Mbabazi ne mukyala we, ssabawolereza wa gavumenti Nyombi, Prof. Nsibambi, amyuka Sipiika Jacob Oranya, Ssaabalabirizi John Sentamu nga bali ku lutikko e Namirembe

Ssaabalabirizi Orombi eyawummudde yakwasizza Ntagali omuggo gw’Obwassaabalabirizi ogwoleka obuyinza mu bukulembeze bw’Ekkanisa, kyokka nga yasoose kuteeka mukono ku biwandiiko era munnamateeka w’Ekkanisa Can. Barnabas Tumusingize ye yasomye ekiwandiiko ekiraga nti Abalabirizi be baamulonda era nabo ne baanukula nga bakakasa.

Orombi bwe yabadde asiibula, yasabye baleme kutawaana kumuyita Ssaabalabirizi eyawummula nti ye okumuyita Omulabirizi kimumala kubanga emyaka omwenda gy’aweerezza mu kifo kya Ssaabalabirizi abadde mumativu n’ekitiibwa ekimuweereddwa.

Ssaabalabirizi Ntagali bwe yabadde ayogera yeeyamye okutwala pulojekiti z’Ekkanisa ng’eya Church House mu maaso, okwongera okutumbula omutindo gwa Yunivasite ya Uganda Christian University, okutumbula abavubuka mu Kkanisa, okuwagira Obulabirizi bwonna obukola ekkanisa ya Uganda, okwongera okutendeka abaweereza mu kkanisa n’ebirala.

 

 

 Pulezidenti Museveni ng'akwasa Ssaabalabirizi Ntagali ebiwandiiko bya mmotoka gye yamuwadde: Ebifaananyi byonna bya Benjamin Ssebaggala

Omukolo gwetabiddwaako ebikonge omwabadde Katikkiro wa Uganda Amama Mbababazi ne mukyala we, Polof. Apolo Nsibambi, Ssaabalamuzi Benjamin Odoki, amumyuka Sipiika wa Palamenti Jacob Oulanyah, Loodi meeya Erias Lukwago, ababaka ba Palamenti, wamu n'abantu abalala.

Abakulembeze b’enzikiriza endala abeegattira mu kibiina kya Inter Religious Council Of Uganda okwabadde: Ssaabasumba w’essa lya Kampala , Dr.Cyprian Kizito Lwanga,  eyakiikiiridde Abakatoliki, Omusumba Joseph Sserwada ow'Enzikiriza y'Abalokole eya 'Born Again Faith' , Sheikh Mukuwakika eyakiikiridde Mufti Mubajje, wamu ne Ssaabasumba w’Abasodokisi Yonah Lwanga n’abalala.

Saaabalabirizi Stanley Ntagali atuuziddwa: Museveni alabudde ku siriimu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....