TOP

Muzaale abaana ab'omukisa -Msgr. Katende

Added 23rd December 2012

OLUSOZI Nalumunye lwawuunye Omulangira David Wasajja muto wa Kabaka Ronald Mutebi, bw’abadde ayanjulwa omuzaana Marion Nankya 24, mu maka g’abakadde be Mathias Nsubuga omubaka wa Palamenti owa Bukoto South e Nalumunye.

Bya JOSEPH MUTEBI

OLUSOZI  Nalumunye lwawuunye Omulangira David Wasajja muto wa Kabaka Ronald Mutebi, bw’abadde ayanjulwa omuzaana Marion Nankya 24, mu maka g’abakadde be Mathias Nsubuga omubaka wa Palamenti owa Bukoto South e Nalumunye.

Omulangira yawerekeddwaako  abantu  150 abakulembeddwaamu Katikkiro wa Buganda J.B Walusimbi ne munnamakolero James Mulwana abadde omwegezi w’abako ate Katikkiro n’akulembera abagenyi. Abagagga b’omu Kampala bo baakulembeddwaamu omugagga Godfrey Kirumira era abadde ssentebe w’emikolo gino.

Baasoose kukung’aanira mu kisaawe ky’e Wankulukuku, eno  gye batuuse ku ssaawa 5:00 ez’e misana era baasimbuddewo ku ssaawa 8:45 ne batuuka ku ssaawa 9:15 era ng’okusooka omwogezi w’abako  James Mulwana yasoose kuyitiramu mu bako abaawerekedde  ku Mulangira bye bagenda okugobeera.

Okwawukano n’emikolo emirala ku guno abako baagenze okusimbula nga bonna bamaze okubagema (okubassaako obumuli). Era tewaabadde bya ssenga kunoonya muko gattako n’okusaba okuzaalibwa byonna tebyakoleddwa kubanga ono, Mulangira tasaba mukopi kumuzaala.

Ku mukolo guno tekwabadde kutwala bintu era tewaabadde kintu kyonna kyayanjuddwa era n’ebirabo ebyatwaliddwa tewali yabirabyeko byayisiddwa eyo ne bituuka ku bazadde.

Abawala n’abako abazze okubuuza obwedda batambula butambuzi ku buyimba obukubibwa teyabadde kuzina kyokka oluvannyuma ssenga yakutte Mulangira n’amulaga abantu nti, ye bbaabwe wabula ne Marion yabadde ayimiridde awo kumpi enta nga ttaano okuva ku bba.

Omukolo gwasinze kubeerako banenne bokka  okuva e Mmengon ne mu gavumenti ya wakati okuli Nnaabagereka, omumyuka wa Pulezidenti Edward Ssekandi, minisita w’ebyensimbi  Maria Kiwanuka ne Ameria Kyambadde n’ababaka ba palamenti abasoba mu 100.

Omulangira JJunju n’Abambejja b’abaddeyo ate Omulangira Kalifani Kakungu ye yabadde kalabaalaba w’omugole. Enkuba yakedde kutonnya mmotoka z’abako ne ziseerera nnyo.

Msgr. Wynand Katende eyasabidde abagole yasabye Katonda abawe abaana abaganzi nga bo n’amaka amalungi.

Taata w’omuzaana Mathias Nsubuga ku ddyo ng’ali ku mukolo.

 

Munsenyooli Wynand Katende ye yasabidde omukolo.

 

Omulangira Wassajja ne kalabalaba we Omulangira Khalifan ne JJunju ku kkono.

 

Katumba Wamala ku ddyo ne Peter Mayega baawerekedde.

 

Nnaabagereka wakati ng’ali ku mukolo gw’okwanjula.

 

Omumyuka wa Pulezidenti Ssekandi ku ddyo ne minisita Amelia Kyambadde.

 

Omuzaana Nankya mu kyenvu ng’ajja okubuuza abagenyi.

 

Abambejja nga bali ku mukolo.

 

James Mulwana akutte akazindaalo eyabadde omwogezi w’Omulangira ku mukolo.

 

Abamu ku bawala b’omu luggya nga babuuza abagenyi.

 

Abamu ku bawala b’omu luggya nga babuuza abagenyi.

 

Omuzaana Marion Nankya nga bwe yalabise mu bifaananyi eby'enjawulo. Ebifaananyi byonna bya Joseph Mutebi


 

Muzaale abaana ab’omukisa -Msgr. Katende

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...