
Bya PATRICK TUMWESIGYE
POLIISI egguddewo fayiro ey’enjawulo okunoonyereza ku kufa kw’omuvubuka Robert Kalamagi agambibwa okwekumako omuliro ew’omuyimbi Jose Chameleone ogwamuviiriddeko okufa nga yaakatuusibwa mu ddwaaliro e Mulago.
Akulira poliisi y’e Kajjansi Ibrahim Saiga yagambye nti, basazeewo okukung’aanya obujjulizi okuva mu bantu ab’enjawulo oluvannyuma lw’okufuna amawulire nga bwe waliwo ab’omuliraano abagamba nti baalaba omuvubuka ono ng’atulugunyizibwa era ne bamuyiira n’amafuta.
Yagambye nti omuntu yenna alina ky’amanyi ku kufa kuno waddembe okutuukirira poliisi n’awaayo obujulizi bwe nga ne poliisi ejja kugenda mu maaso n’okutuukirira abantu ab’enjawulo ng’ebaggyako sitetimenti.
Poliisi ng’eri mu maka ga Chameleone e Seguku.
Abooluganda lwa Kalamagi bagamba nti tewali nsonga lwaki poliisi ekkiriza ebigambo bya Chameleon, byokka so ng’ate waliwo abantu abaliraanyeewo abaalaba ekyaliwo kyokka nga poliisi tefuddeeyo kubayita kubaggyako sitatimenti zaabwe kubanga tebannaba kuyitibwa.
Ebya Chameleon biranze: Poliisi egguddewo fayiro endala