TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gavumenti evudde mu by'okukunya Sipiika ku nfa ya Nebanda

Gavumenti evudde mu by'okukunya Sipiika ku nfa ya Nebanda

Added 5th January 2013

GAVUMENTI etangaazizza ku by’okulagira poliisi okuyita Sipiika wa palamenti Rebecca Kadaga emukunye ku by’okusambajja lipooti yaayo ku kufa kw’omubaka Cerinah Nebanda n’egamba nti enteekateeka eno teriiwo era Sipiika yaggyiddwa mu bintu bino.

Bya MUWANGA KAKOOZA


GAVUMENTI etangaazizza ku by’okulagira poliisi okuyita Sipiika wa palamenti Rebecca Kadaga emukunye ku by’okusambajja lipooti yaayo ku kufa kw’omubaka Cerinah Nebanda n’egamba nti enteekateeka eno teriiwo era Sipiika yaggyiddwa mu bintu bino.


Kino kiddiridde sipiika okusinziira ku mukolo gw’okuziika omugenzi Nebanda e Butalejja n’asambajja
lipooti ya gavumenti ku nfa ye n’agamba nti ababaka be abamanyi bulungi asobola okwawula abanywi ba lujuuju n’abatagukombako.


Pulezidenti Museveni abaamawulire bwe baamubuuza ku byayogerwa sipiika n’agamba nti poliisi eyinza okumuyita abeeko by’abuuzibwa ayogere ekyatta Nebanda ekirala ky’amanyi era ne yeewerera babaka abalumiriza gavumenti okumutta be yayita ebigwengere n’agamba nti kajja kubajjuutuka.


Okuva olwo wabaddewo obunkenke wakati wa palamenti ne gavumenti. Kyokka akola nga minisita w’ebyamawulire Rose Namayanja yagambye Bukedde eggulo nti: “Sipiika tannayitibwa era teyetaagibwa poliisi.


Abakung’anya emikono gy’okuyita Palamenti okuva mu ggandaalo, kano baabadde bakeeyambisa nga kakodyo okulimbalimba ababaka omuli n’aba NRM okussa emikono ku kiwandiiko kyabwe batuukirize ebigendererwa byabwe’’.


Yagambye nti n’ababaka abeetaagibwa poliisi okubuuzibwa ku nfa y’omugenzi okuli Betty Nambooze (Mukono munisipaali) ne Sam Lyomoki (bakozi) beeveemu nga bannaabwe Emanuel Dombo (Bunyole) ne Medard Bitekyerezo bagende babeeko bye babuuzibwa teri ajja kubasiba.


“Omubaka Dombo yagenze ku poliisi n’akola sitatimenti teri yamusibye. Nabo baveeyo bagende bakole sitatimenti mu kifo ky’okwekukuma,’’ Namayanja bwe yagambye.


Wabula ababaka abalala Dr. Chris Baryomunsi (Kinkizi West) ne Mohammad Nsereko (Kampala Central) ennaku enkulu baaziriridde mu kadukulu lwa nsonga ze zimu eza Nebanda.


Mu kiseera ky’ekimu omu ku babaka abali mu kaweefube w’okukung’anya emikono, Medard Ssegonna alangidde gavumenti okukola emirimu gyayo mu ngeri gye yayise ‘’ey’abalaalo n’abalimi b’ebijanjaalo’’.


“Oba waliwo ababaka be baagala poliisi ebawandiikire mu butongole erage nti ebeetaaga sso ssi kubiwulira mu ngambo,’’ bwe yagambye.


Bwe yabuuziddwa wa omubaka Nambooze gy’ali, Ssegona yagambye nti ssi mulimu gwe nga looya okunoonya omuntu gw’awolereza okumutwala ku poliisi n’agamba nti oba gavumenti emwetaaga emunoonye.


Yagambye nti baawezezza emikono 130 era bagenze ewa sipiika ne bamutegeeza nga bwe bagenda okuleeta ekiwandiiko ekisaba palamenti eve mu ggandaalo eteese ku kanyoolagano akaliwo wakati waayo ne Gavumenti.
Era kye balinze ye sipiika okubawa olunaku bamukwase okusaba kwabwe mu butongole.


Sseggona yeebuuzizza kiki gavumenti ky’etya okuyita palamenti okuva mu ggandaalo eteese ku by’okufa kwa Nebanda.


Kyokka minisita Namayanja yagambye nti ababaka babaleke mu ggandaalo kuba okuyita palamenti tekirina kye kigenda kukyusa ku mbeera eriwo okuva emisango bwe giri mu mikono gya poliisi.


Era n’atangaaza nti olusirika lw’ababaka ba NRM e Kyankwanzi olugenda okubaawo wakati wa January 11 ne January 22 lwalowoozebwako nga n’eby’okukung’anya emikono okuyita palamenti tebinnabaawo.


Era lugendereddwaamu ba NRM kwessa ku minzaani kulaba bituukiddwaako n’ebikyagaanyi. Yasabye ababaka ba palamenti baggye ebyobufuzi mu nfa ya munnaabwe ensonga zirekerwe ekitongole kiramuzi ne poliisi bizibuulirizeeko.

 

Gavumenti evudde mu by’okukunya Sipiika ku nfa ya Nebanda

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

KCCA ewaddeyo ekitundu kya ...

EKITONGOLE kya KCCA kyaddaaki kiwaddeyo ekitundu ku kibangirizi kya Centenary Park eri ekitongole ekivunaanyizibwa...

Pulaani y'okulonda mu 2021 ...

KU Lwokuna nga January 14, 2021 lwe lunaku lw’okulonderako ababaka ba Palamenti mu ggwanga lyonna. Omulamuzi Simon...

OC asse omutuuze e Lugala -...

OLUTALO poliisi mwe yakubidde omutuuze amasasi n’afiirawo lwatandise na kusobya ku mukazi eyakedde okugenda okukola...

Poliisi ewadde gwe yakuba e...

Poliisi yeetondedde omukazi omukadde eyakwatibwa ku katambi nga ofiisa waayo amuweweenyula kibooko.

Jjingo mutabani wa Yiga Mbizzaayo

Taata akyali mulamu tteke -...

Mutabani wa Paasita Yiga akakasizza nti kitaawe akyali mulamu katebule.