TOP

Gavt erabudde abalina essimu z'ebicupuli

Added 7th January 2013

GAVUMENTI ettukizza entegeka ez’okuggyako amasimu gonna ag’ebicupuli ng’entandikira ku kulemesa ago agaleetebwa okuva ebweru.

Bya MUSASI WAFFE

GAVUMENTI ettukizza entegeka ez’okuggyako amasimu gonna ag’ebicupuli ng’entandikira ku kulemesa ago agaleetebwa okuva ebweru.

Okusinziira ku kiwandiiko ekyafulumiziddwa ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’empuliziganya mu ggwanga ekya Uganda Communications Commission (UCC) okutandika mu mwezi guno ogwa January gwe tulimu amasimu gonna ag’ebicupuli tegajja kukkirizibwa kuyingizibwa mu ggwanga.

Omanya otya nti essimu njingirire? 

Ku ngeri y’okumanyaamu oba essimu yo ntuufu, UCC kigamba nti kola bino;

  • Ekisooka, genda ku mutimbagano gwa kompyuta ogwahttp://www.ucc.co.ug/details.php?option=imei, ogoberere ekikugambibwa.
  • Ate mu nkola ey’okuweereza obubaka bw’essimu eya ‘sms’: wandiika ennamba ya IMEI (oba serial nnamba) ebeera munda mu ssimu yo ng’oggyeemu eryanda ogiweereze mu SMS ku 8883 (ku mukutu gwonna kw’oli, era ojja kusalwako ssente ezitasukka 100/-).  Ojja kufunirawo obubaka obulaga essimu yo bw’eyimiridde ku IMEI, ekika kyayo, n’abaagikola. 
  • Okumanya IMEI (seriel nnamba) ey’essimu yo, nyiga *#06#.

Ekitongole kya UCC kisaba abantu bonna abalina essimu okutandikirawo okwekenneenya essimu zaabwe nga bakozesa enkola ezo ebbiri waggulu.

Essimu 1,000,000 zisaliddwaako e kenya

Ku muliraano e Kenya, essimu 1,280,840 ze zaasaliddwaako nga January 1 omwaka guno olw’okuba ez’ebicupuli era bannannyini zo ne baweebwayo ennaku 90 okuziwandiisa oba si ekyo, ziggyibwe ddala ku mpewo.

Ekigendereddwa mu bino byonna, gavumenti zigamba nti kwe kulwanyisa obumenyi bw’amateeka ng’abantu bakozesa essimu ezitali mpandiise.

Gavt erabudde abalina essimu z’ebicupuli

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Emmotoka ya Kyagulanyi empya.

Aba URA beezinze ku mmotoka...

EBY'EMMOTOKA ya Kyagulanyi gy'agamba nti teyitamu masasi byongedde okulanda ab'ekitongole ky'emisolo ekya URA bwe...

Kyagulanyi (wakati), Ssaabawandiisi wa NUP Lubongoya ne Nambooze nga bakutte ebifaananyi by’abaakwatibwa.

▶️ Bazadde b'abaakwatibwa b...

BAZADDE b'abavubuka abaakwatibwa bakaabizza abantu nga batottola ennaku gye bayitamu okuva abaana baabwe lwe baakwatibwa....

Akulira bonna bagaggawale e Gomba , Brig. Fanekansi Mugyenyi (wakati) ng’akwasa abakyala b’e Gomba ente.

Abakyala b'e Gombe bafunye ...

GAVUMENTI ng'eyita mu kitongole kyayo ekya Operation Wealth Creation (Bonna Bagaggawale) egabidde abakyala b'e...

Abaserikale nga bateeka ku kabangali omulambo gw’omusajja eyasangiddwa mu kibira e Bunnamwaya.

Bazudde omulambo ogutaliiko...

ABATUUZE bakyasobeddwa ku mulambo gwe baazudde mu kibira nga teguliiko magulu. Omulambo guno gwasangiddwa mu kibira...

Ettaka eryogerwako baalissaako n’akapande akagaana abantu okuligula. Mu katono ye Msgr. Kasibante.

Omugagga aguze ettaka ly'Ek...

ABAKRISTU b'ekigo kya St. Charles Lwanga e Gaba bali mu kusoberwa olw'engeri ettaka ly'ekigo eriwezaako yiika bbiri...