TOP

Abafumbo bagabanidde ebintu ku poliisi

Added 13th January 2013

SSEMAKA agwiikirizza mukazi we abadde asibye ebintu by’omu nnyumba byonna ng’anoba ne beezooba okukkakkana nga bali ku poliisi gye babigabanidde era ne baawukana.

Bya ALI KIZZA

SSEMAKA agwiikirizza mukazi we abadde asibye ebintu by’omu nnyumba byonna ng’anoba ne beezooba okukkakkana nga bali ku  poliisi gye babigabanidde era ne baawukana.

Eddy Mugwanya ow’e Kyengera Nabaziza A y’ayawukanidde ku poliisi y’e Kyengera ne mukazi we Catherine Namutebi  oluvannyuma lwa Namutebi okugezaako okusiba ebintu byonna nga bba ali ku mulimu.

Mugwanya agamba: “Nakedde ne ng’enda ku mulimu nga tewali buzibu wakati wange ne mukyala wange wabula nabadde ndi awo mukwano gwange n’ankubira essimu n’ang’amba omukazi asibye ebintu byonna agenda

Nafunye bodaboda okuva e Nalukolongo gye nkolera okutuuka e Kyengera era nasanze mmotoka esimbudde kwe kugigoba. Nagezezaako okugiyimiriza wabula ddereeva n’agaana okuyimirira kwe kugibuukira. 

Natandise okuggyako ebintu nga bwe mbikasuka okutuusa ddereeva bwe yalabye nga kiyinza okumuleetera obuzibu n’akyama ku poliisi e Kyengera, Mugwanya bw’annyonnyola.” 

Namutebi olwatuuse ku poliisi n’alayira obutaggya kintu kyonna ku mmotoka ng’agamba ebintu byonna ye yabigula ku ssente ze.

Agamba: Mugwanya yankwana nga nkola era nga nnina n’ebintu byange, bwe yamala okunzaalamu omwana n’ansaba ng’ende ewuwe tutandike okubeera ffembi. Nakwata ebintu byange ne ng’enda mu maka ge kyokka teyalina kintu kyonna mu nnyumba era ebintu byange bye yajjuza enju ye.

Mugwanya ku kkono ng’asitudde leediyo gye yagabanye ate ku ddyo ye Namutebi ku poliisi.

Ebintu byonna bye nabadde nsibye byange era okusalawo okubisiba nga nkooye embeera za Mugwanya omuli okugaana okumwanjula, okuyomba olutatadde n’okungattako omukazi omulala alina n’olubuto,” bwe yategeezezza.

Bino byonna Mugwanya yabigaanye n’agamba ensonga eyabadde enobya Namutebi kwe kuba ng’abadde amupeeka okukola ebintu buli by’alaba banne balina era n’agamba abadde yaakamugamba agule emmeeza ya dayiningi n’agaana nga kw’agasse n’okumupeeka okumuwa ensimbi buli kiseera.

Baagabanye ebintu era ebisinga obungi Namutebi ye yabitutte ng’agamba byonna bibye nga ku bino byonna Mugwanya yasigazza ttivvi ne leediyo ekika kya woofa olwo buli omu n’akwata gage.

Akola ku nsonga z’amaka ku poliisi y’e Kyengera, Slyvia Mutesi yategeezezza nti ababiri baakoze endagaano y’okugabana ebintu era ne fayiro n’eggulwawo ku nsonga eno ng’eri ku nnamba SD 25/ 11/ 01/ 2013.

Abafumbo bagabanidde ebintu ku poliisi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusumba Joel Kakembo akunz...

Omusumba Joel Kakembo owa Mt. Zion Church Gayaza era akulira Upper Room Pastors Network, akubirizza abasumba okwetaba...

Abatuuze mu lukiiko.

Nnamukadde yeekubidde enduu...

Nnamukadde Teddy Nakirijja 75, nnamwandu w'omugenzi Disan Mukasa yeekubidde enduulu mu ofiisi y'omukulembeze w'eggwanga...

Omubaka Kabanda ng'ayogera eri abaddusi.

'Muwagire nnyo enteekateeka...

OMUBAKA omukyala owa Masaka mu Paalamenti, Mary Babirye Kabanda emisinde gy'amazaalibwa ga Kabaka agisimbudde n'abaddusi...

Amuriat (owookusatu ku ddyo) ne banne nga batudde mu luguudo wakati.

Wano nvaawo na guleeda - Am...

Wabaddewo akanyoolagano wakati w'akwatidde FDC  bendera okuvuganya ku bwapulezidenti, Patrick Oboi Amuriat ne Poliisi....

Ssaabasumba ng'akwasa Omukristu Bayibuli. (Ebif. Ponsiano Nsimbi)

Abavubuka mukomye okukola e...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga alabudde abavubuka  okukomya okukola effujjo....