TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Museveni alumbye ababaka: 'Mulemesezza entegeka zange'

Museveni alumbye ababaka: 'Mulemesezza entegeka zange'

Added 13th January 2013

PULEZIDENTI Museveni alumbye ababaka ba palamenti abamu olw’okuva ku mulamwa gw’okuteesa ebikulaakulanya eggwanga ne beefuula ‘abaakabi’ nga badda mu kweraga ‘"n’okuzannya katemba’’ basobole okulabikako ku ttivvi n’emikutu gy’amawulire emirala.

Bya Muwanga Kakooza

PULEZIDENTI Museveni alumbye ababaka ba palamenti abamu olw’okuva ku mulamwa gw’okuteesa ebikulaakulanya eggwanga ne beefuula ‘abaakabi’ nga badda mu kweraga "n’okuzannya katemba’’ basobole okulabikako ku ttivvi n’emikutu gy’amawulire emirala.

‘’Obuzibu bw’ababaka ba palamenti (abamu) buli lwe balaba aba kkamera (bannamawulire) nga batandika kuzannya katemba basobole okubalaba. Kati bagende muteese bulungi,’’ Museveni bwe yategeezezza mu lusirika lw’ ababaka ba NRM e Kyankwanzi mwe yalumbidde n’omubaka Theodro Ssekikubo (Lwemiyaga).

Museveni yagambye nti ababaka bamulemesezza entegeka ze ennyingi ez’okukulaakulanya eggwanga omuli n’abaggagga okutandika wano emirimu egivaamu ensimbi, ne beerabira nti ensimbi ezibasasula ziva mu misolo abaggagga bano gye bawa Gavumenti. ‘’ Lwaki munneegayiriza okutuusa awo !. Buli kyendeeta ne mwagala mbakubire mavi nga nninga byenkola ebigasa nze ng’omuntu," Museveni bwe yagambye.

Yazzeemu okukikkaatiriza nti akyayagala okufunira ekkolero lya ssukaali erya SCOUL, ery’Omuyindi Mehta e Lugazi ettaka asobole okwongera okulima ebikajjo. ‘’Mulina okusalawo tufunire ekkolero lino ettaka oba ssi ekyo fakitole ya ssukaali eno eggalewo’’ bwe yagambye. Eky’okufunira ekkolero lino ettaka nga lisalibwa ku kibira Mabira kyaleeta obwegugungo gye buvuddeko obwafiiramu Omuyindi ne Bannayuganda abalala.

Mu kusooka omubaka Bernabas Tinkasimire (Buyaga) yeekalamulidde mu lusirika ng’ayagala luteese ku nsonga y’okukomyawo ekkomo ku bisanja bya Pulezidenti n’okufuna anaamusikira. ‘’Muntu ki afuga eggwanga emyaka 30 nga takoowa ?’’ Tinkasimire bwe yeebuuzizza.

Kyokka Museveni yamwanukudde nti okubala kumuzannye kuba emyaka 30 gy’ayimbirira mitono nnyo ku myaka gy’amaze ng’alwanirira eggwanga lino egiwera 50. ‘’Oyogera myaka 30 gokka weerabidde nti nnamala emirala 20 mu nsiko? Emyaka 20 nnali mu nsiko ate 30 gye nnaakamala mu kibuga," Museveni bwe yagambye.

Omumyuka wa nnampala w’ababaka ba NRM David Bahati yagambye nti eby’okuteesa ku bisanja tebiri ku pulogulaamu ya lusirika era teri ajja kubiteesaako.

Yagambye nti bagenda kuteesa ku manifesito ya kibiina n’ensonga endala eziruma eggwanga.

Ate omwogezi w’akabondo ka NRM, Evelyn Anite, yagambye nti Pulezidenti tanenyezebwa kulwa mu buyinza kuba ssi ye yeyeelonda, abantu be baamuyiira obululu buli mulundi ekibiina kye lwe kibaddenga kimusimbawo. ‘’Akyali mbooko ne 2016 bw’adda tumuwa’’, Anite bwe yagambye bannamawulire, kyokka Tinkasimire n’amwanukula nti ‘’okukyusa obukulembeze kisobola okuleeta omulala envumuulo n’akola ebiremye aliko.’’

Mu kusooka Pulezidenti yagambye nti Gavumenti egenda kukola kyonna ekisoboka okulaba ng’ebbeeyi y’amasannyalaze ekka.

wadd

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Andrew Ssenyonga

Ssenyonga alangiridde nga b...

Ssenyonga alangiridde nga bw'avudde mu lwokaano ng'okulonda kubulako ssaawa busaawa kuggwe. Ssentebe wa disitulikiti...

Joe Biden ng'alayira nga pulezidenti wa Amerika owa 46.

Joe Biden alayiziddwa nga ...

WASHINGTON Amerika Munna DP, Joe Biden alayiziddwa nga pulezidenti wa Amerika owa 46,  n'asikira Donald Trump...

Omusumba eyawummula John Baptist Kaggwa

Kitalo! Omusumba w'Essaza l...

Kitalo! Omusumba w'Essaza ly'e Masaka eyawummula John Baptist Kaggwa afudde Corona. Omusumba Kaggwa abadde amaze...

Omusumba w'Abasodookisi any...

Mu bantu abatenda ssennyiga omukambwe mwe muli Omusumba w’Abasodookisi Silvestros Kisitu atwala kitundu ky’e Gulu...

Eddwaaliro lya Mukono ng’abalwadde balindiridde obujjanjabi.

Omujjuzo mu ddwaaliro e Muk...

Abalwadde n’abajjanjabi mu ddwaaliro e Mukono beeraliikirivu olw’omujjuzo oguyitiridde gwe bagamba nti gwandibaleetera...