TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abatuuze batenderezza omujaasi eyatta abakazi abasatu e Luzira

Abatuuze batenderezza omujaasi eyatta abakazi abasatu e Luzira

Added 15th January 2013

OMUJAASI wa UPDF eyasindirira abakazi basatu amasasi okwali ne mukazi we ne gabattirawo, asimbiddwa mu kkooti y’amagye eyatudde mu lujjudde e Luzira, kyokka abantu ne bamusondera 80,000/- wakati mu kumutendereza nga bagamba nti yasosonkerezebwa n’ava mu mbeera.

Bya Ahmed Mukiibi

OMUJAASI wa UPDF eyasindirira abakazi basatu amasasi okwali ne mukazi we ne gabattirawo, asimbiddwa mu kkooti y’amagye eyatudde mu lujjudde e Luzira, kyokka abantu ne bamusondera  80,000/- wakati mu kumutendereza nga bagamba nti yasosonkerezebwa n’ava mu mbeera.

Lance. Cpl. Herbert Rwakihembo yasimbiddwa mu kkooti y’amagye eyatudde ku Luzira COU Primary School, okumpi n’ekifo we yattira abakazi basatu nga December 10, 2012 n’asomerwa emisango esatu egy’obutemu

Rwakihembo eyali yaakadda okuva mu ddwaaniro e Somalia agambibwa okutta; Irene Namuyaba Nakibirango eyali mukazi we,  Zaina Nassolo Nnalongo ne Loyce Kawendeke be yansindirira  amasasi nga yeeyambisa emmundu bbiri; AK 47 ne SMG. Kyokka emisango gyonna esatu, Rwakihembo yagyegaanyi. 

 Kkooti y’amagye ey’oku kitebe ky’e Bombo yeesitudde n’etuula e Luzira,  Rwakihembo gye yaddiza omusango abantu  baabulijjo babeewo ng’abajulizi ng’omujaasi awozesebwa.

Ebikumi n’ebikumi by’abantu beeyiye ku ssomero okuwulira omusango era bangi  baayimiridde bweru mu luggya lw’essomero olw’obufunda bw’ekibiina kkooti mwe yatudde.

Okuwulira omusango kwatandise ku ssaawa 3:00 ez’oku makya, Rwakihembo bwe yaleeteddwa ku mpigu wakati mu kwerinda okw’amaanyi n’asimbibwa mu maaso ga kkooti eno eyakuliddwa Col. Geoffrey Kakama.

Col. Kakama ayambibwako abajaasi abalala mukaaga okuli; Lt. Col. Philbert Owumo, Maj. Ramathan Delu, Capt. Godfrey Abigaba, Capt. Perez Kaija, Lt. James Muteyi ne WOI Job Tukei  Oludda oluwaabi lwakuliddwa Capt. Victor Kyemusu ate Capt David Epalu Drani ye  Munnamateeka wa kkooti.  Kkooti yabadde yaakaggulawo, Munnamateeka Martin Muhumuza ne yeeyanjula nga Puliida wa Rwakihembo, wabula oluvannyuma yeekandazze n’ava mu kkooti ng’awakanya eky’obutaweebwa biwandiiko bikwata ku musango okusobola okwetegekera okuwolereza omuntu we. Muhumuza bwe yeekandazza Munnamateeka wa UPDF, 2nd Lt. David Mukwana n’adda mu kifo okuwolereza Rwakihembo. 

Col. Kakama yasomedde Rwakihembo emisango era olwagyegaanyi, oludda oluwaabi ne luleeta omujulizi asooka nga ye  wa bodaboda, Ali Ssaaza Bavawala eyakubwa amasasi esatu mu kugulu n’asimattuka okufa.

Ssaazi yagambye nti zaali ssaawa  1:45 ez’akawungeezi, bwe yali ku ka wooteeri ka Nnaalongo okumpi ne siteegi ya posita ng’anywa caayi amasasi ne gatandika okuvuga okukkakkana ng’abantu basatu bafudde, ye asatu ne gamukwasa mu kugulu.

 Bwe yabuuziddwa oba amanyi  omuwawaabirwa, Ssaazi yagambye nti tamumanyi kubanga teyasobola kwetegereza eyakuba amasasi n’agamba nti ye yagwa ku ttaka  ebyaddirira yabitegeera ali mu ddwaaliro.

 Munnamateeka Mukwana yasabye  okuweebwayo obudde okwekenneenya sitatimenti ya Ssaazi, bwatyo Col. Kakama n’ayabula kkooti okutuuka olwaleero ku ssaawa 3.00 ez’oku makya.

 Nga kkooti eyabuse  abantu baakung’aanidde mu luggya lw’essomero ne beesondamu ssente emitwalo munaana ne baziwa Rwahembo okulyako  era basaba kkooti emwejjeereze nga bagamba nti talina musango.

Baagambye nti ensimbi ze  ze yafuna wakati mu kubuuka emirambo n’okwewoma amasasi, omukazi ayinza atya okuzizannyiramu n’atuuka n’okuziguliramu abavubuka bodaboda ye musajjawattu bwe yajja okubuuza ne bamulengezza.

 Baamuwadde n’omudaali gwe baamwambazza mu bulago nga bwe bamutenda obuzira ne bagamba nti bajja kukola ekisoboka okulaba ng’omusango aguwuuta.

Rwakihembo yazziddwa mu kkomera e Luzira gy’agenda okuggyibwa okuzzibwa mu kkooti.

Abatuuze batenderezza omujaasi eyatta abakazi abasatu e Luzira

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengoozi ng'alaga tayiro z'akola.

Okukola tayiro okuva mu bis...

“ Nze nabonaabona n'okunoonya emirimu nga n'akamala yunivasitte, kyokka olw’okuba nali nfunye obukugu mu kukola...

Christopher Kasozi ng'awa ebyennyanja emmere.

Abalunzi b'eby'ennyanja bal...

ABALUNZI b’ebyennyanja ku mwalo gw’e Masese e Jinja abeegattira mu kibiina kya ‘’Masese Cage Fish Farmers Co-operative...

Looya wa Ssempala yeekandaz...

LOOYA wa Isaac Ssempala, bba w’omubaka Naggayi Ssempala yeekandazze n’abooluganda ne bava mu kkooti looya bw’alemereddwa...

KCCA ekutte abatundira ku n...

ABASERIKALE ba KCCA bakoze ekikwekweto  mwe bakwatidde abatembeeyi n’abatundira ebintu ku nguudo n’okubowa emu...

Omulangira Ssimbwa

Enfa y'Omulangira Ssimbwa e...

OKUFA kw’Omulangira Arnold Ssimbwa Ssekamanya kuleesewo ebibuuzo nkumu ebirese nga biyuzizzayuzizza mu Balangira...