TOP

NEBANDA: Abavunaanibwa okumutta baweze mukaaga

Added 15th January 2013

KKOOTI e Makindye ekubyeko ng’abantu mukaaga abavunaanibwa okutta eyali omubaka wa Paalamenti owa Butalejja, Celina Nebanda basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi.

Bya Henry Ssennyondo ne Alice Namutebi 15thJanuary,2013.

KKOOTI e Makindye ekubyeko ng’abantu mukaaga abavunaanibwa okutta eyali omubaka wa Paalamenti owa Butalejja, Celina Nebanda basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi.

Omuwendo gw’abantu abavunaaniddwa okutta Cerinah Nebanda gweyongedde nga kati bali mukaaga. Abasooka okuvunaanibwa mu musango guno, baali bana.

Ate eby’okwerinda ku kkooti byabadde binywezeddwa ng’ate kkooti yakubye era bannamateeka abamu katono babulwe we batuula.

Adam Kalungi omutuuze w’e Kiruddu-Buziga, Ali Omar Almuzahim (40) omutuuze w’e Kiwafu e Kansanga, Noor Abubaker (32) nga mutuuze w’e Kiwafu mu Kansanga, Abid Rashied Butt (41), Khan Babu Abudul n’omukazi Fatuma Babu be bavunaaniddwa mu maaso g’akulira kkooti eno, Esther Nambayo.

Oludda oluwaabi olwa Gavumenti okubadde abakulembeddwamu: Samali Wakholi, Lucy Kabahuma ne Maurine Kagaba basomedde abawawaabirwa emisango ena omuli ogw’okutta omubaka Celina Nebanda mu butali bugenderevu.

Emisango emirala: kuliko ogw’okusangibwa n’ebiragala ebitamiiza ekimenya etteeka g’ekitongole kya gavumenti ekya “Uganda National Drug Authority-UNDA” erya 206 n’obutundu obutundutundu obulala. Ssaako, okugaba ebiragala bino nakyo ekimenya etteeka lye lirimu.

Abawawaabirwa nga bawolerezebwa kkampuni ya bannamateeka eya “Tumusiime & Kabega Advocates” abakulembeddwamu Kabega, yawakanyizza omusango ogwokuna oguvunaanibwa abawawaabirwa ng’agamba nti mu sitatimenti tekiggyayo bulungi okulaga ddi ebiragala bino lwe byagabirwa omubaka Nebanda.

Emisango emirala esatu abawawaabirwa, gyonna bagyegaanye nga bagamba nti tebagizzangako.

Wabula Khan Babu yasoose n’atangalijja ng’ebimusomerwa, tabitegeera. Omulamuzi Nambayo kwe kumubuuza obanga ebitegedde bulungi n’asigala ng’alinga atamanyi kigenda mu maaso olw’okubanga Olungereza yabadde tgalutegeera.

Kkooti yamufunidde omusirikale w’ekitongole ky’amakomera Edyagu n’amuvuunulira mu Luswayiri emisango egyabadde gimusomeddwa n’agyegaana.

Ku musango ogwokuna ogw’ebiragala ebyagabirwa Nebanda, munnamateeka Kabega gwe yabadde takkiriziganya nagwo, yawaliriza kkooti okusooka okuwummulamu essaawa nga nnya basooke beetegereze amateeka kye gagamba n’oluvannyuma kkooti eddemu.

 

NEBANDA: Abavunaanibwa okumutta baweze mukaaga

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....