TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omubaka Dr. Sam Lyomoki kyaddaaki Poliisi emukutte ku bya Nebanda

Omubaka Dr. Sam Lyomoki kyaddaaki Poliisi emukutte ku bya Nebanda

Added 15th January 2013

POLIISI kyaddaaki ekutte omubaka Dr. Sam Lyomoki (bakozi) n’emuwalaawala okumutwala e Kireka gy’emukunyirizza okunnyonnyola bye yayogera ku nfa y’eyali omubaka w’e Butaleja, Cerinah Nebanda.

Bya Muwanga Kakooza

POLIISI kyaddaaki ekutte omubaka Dr. Sam Lyomoki (bakozi) n’emuwalaawala okumutwala e Kireka gy’emukunyirizza okunnyonnyola bye yayogera ku nfa y’eyali omubaka w’e Butaleja, Cerinah Nebanda.

Kino kyaddiridde Lyomoki okuva gye yali yeekukumye n’agenda ku Palamenti n’akontola poliisi eyamuweerezza ebbaluwa ng’emuyita aggye egyeyanjulire, n'agamba nti yabadde emala biseera, tajja kulinnyayo. Era n’addamu okutegeeza nti lipoota eyafulumizibwa Gavumenti ku nfa ya Nebanda si ntuufu.

Lyomoki yakwatiddwa ng’ava ku mukutu gwa ttivvi ogumu mu Kampala okubaako by’ayogera.

Omumyuka w’omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Vincent Ssekate, yategeezezza bannamawulire mu Kampala nti Lyomoki agenda kuvunaanibwa omusango gw’okukuma omuliro mu bantu.

Ssekate yagambye nti babadde balina kumukwata mu ngeri eyo okuva bwe yagaanyi okwewa ekitiibwa okugenda ku poliisi mu mirembe nga bwe yabadde ayitiddwa.

Omuduumizi wa poliisi, Lt. Gen. Kale Kayihura yagambye mu kiwandiiko nti Lyomoki alina ebigambo bye yayogerera e Butunga mu disitulikiti y’ e Butaleja ebitaali birungi. Era n’asaba abantu okugonderanga ebiragiro bya Poliisi bw’eba ebayise ng’erina ky’ebaagaza.

 

Omubaka Sam Lyomoki kyaddaaki Poliisi emukutte ku bya Nebanda

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...