
Bya Hannington Nkalubo
NNAGAGGA Hassan Basajjabalaba asindikiddwa mu kkomera e Luzira ng’avunaanibwa emisango esatu poliisi gy’emaze ebbanga ng’ emunoonyezaako yeeyanjule ku kitebe kya bambega e Kibuli, kyokka n’agaana.
Omulamuzi mu kkooti ewozesa abali b’enguzi, Irene Akankwasa yalagidde Basajjabalaba atwalibwe mu kkomera e Luzira okutuusa olwaleero (Lwakuna) lw’aba akomezebwawo ng’oludda oluwaabi lumaze okwekenneenya ebiwandiiko by’abantu be ebiweereddwaayo ng’asaba okweyimirirwa.
Omulamuzi Akankwasa yamusomedde emisango omuli ogw’okujingirira ebiwandiiko n’atasasula musolo gwa gavumenti oguweza obuwumbi 20, okukyusakyusa ebiwandiiko n’afuna ssente obuwumbi 142 n’okwekobaana n’omu ku ba maneja be ate nga muganda we (gw’avunaanibwa) naye ayitibwa Muzamir Basajjabalaba ne bafuna ssente.
Emisango gyonna Basajjabalaba yagyegaanyi looya wen’asaba omulamuzi nti omuntu we akkirizibwe okweyimirirwa era abantu bonna abalina ebiwandiiko ebituufu azze nabo.
Omuwabuzi wa Pulezidenti, Chris Rwakasiisi, omubaka wa palamenti owa Igara Micheal Mawanda n’omukyala, Margaret Muhanguzi be baawaddeyo ebiwandiiko okumweyimirira kyokka omulala Matsiko Kagolo abadde n’amaka abiri yalemeddwa okukakasa kkooti ku maka amatuufu oludda oluwaabi kwe kwemulugunya nti tebafunye budde kwetegeereza biwandiiko bibaweereddwa.
Omulamuzi Akankwasa yakkirizza okusaba kw’oludda oluwaabi n’alagira nti omuwawaabirwa Hassan Basajjabalaba asuzibwe mu kkomera e Luzira. Yalagidde nti akomezebwewo leero (Lwakuna) ng’ebiwandiiko by’abamweyimirira byekenneenyezeddwa bulungi.
Okutwalibwa mu kkooti yaggyiddwa mu kaduukulu ka poliisi e Kireka. Wano ab’oluganda n’emikwano baakedde kweyiwa mu kifo kino okugezaako okumuggyayo kyokka poliisi n’emulemera okutuusa bwe yamututte mu kkooti eyamusomedde emisango n’asindikibwa mu kkomera e Luzira.
Basajjabalaba yakwatiddwa ku Lwokubiri bambega ba poliisi bwe yabadde afuluma ebweru w’eggwanga ng’ayita ku kisaawe ky’ennyonnyi e Ntebe.
Poliisi yali yalagira dda okukwata Basajjabalaba nti yagaana okweyanjula ku poliisi ku misango gy’okujingirira ebiwandiiko bya gavumenti n’atasasula musolo gwa ssente obuwumbi 20 ku nsimbi obuwumbi 142 ze yasasulwa gavumenti.
Yawaabira gavumenti nga yeemulugunya olwa KCCA okumugoba mu butale bwayo ate nga yali ebuguze kyokka Pulezidenti Museveni n’abugabira abasuubuzi ababukoleramu babwekulaakulanyize.
Basajjabalaba atwaliddwa Luzira