TOP

Basajjabalaba azziddwaayo e Luzira

Added 17th January 2013

OMULAMUZI azzizza omuggaga Hassan Basajjabalaba mu kkomera e Luzira ng'agamba nti akyetaaga obudde okwetegereza okusaba kwe okw'okweyimirira.

BYA ALICE NAMUTEBI

OMULAMUZI azzizza omuggaga Hassan Basajjabalaba mu kkomera e Luzira ng'agamba nti akyetaaga obudde okwetegereza okusaba kwe okw'okweyimirira.

Kino kyaddiridde omuwaabi wa Gavumenti, Lillian Namara, okutegeeza omulamuzi Irene Akankwasa owa kkooti ewozesa abakenuzi nti singa Basajjabalaba ateebwa agenda kudduka mu ggwanga ate nga okumukwata kibatwalidde ebbanga ddene ng'anoonyezebwa.

Namara era yategeezezza omulamuzi nti Basajjabalaba yayitibwa enfunda eziwereko okujja ku kitebe kya bambega e Kibuli yeeyanjule ssaako okukola sitetimenti, kyokka n'atalabikako era beekanze ate okumulaba mu mpapula z'amawulire ng'alabiseeko mu kkooti ya Buganda Road mu maaso g'omulamuzi Eleanor Khainza okumuvunaana emisango egyekuusa ku gyabwe ng'omuwaabi wa Gavumenti talina ky'akimanyiIko.

Namara yagambye nti oluvannyuma lw'okusoma mu mawulire, Basajjabalaba yakwatiddwa ku kisaawe bwe yabadde agezaako okudduka mu ggwanga .

Eyakuliddemu bapuliida be, Kavuma Kabeng, yasabye omulamuzi akkirize okusaba kwa Basajjabalaba oluvannyuma lw'okukyusa mu baamweyimiridde, okwabadde Chis Rwakasisi, ne Kagolo Matsiko olwo ne bateekako Kassim Sekabira Basajjabala ne Nasser Basajjabalaba era n'ategeeza nti engeri Hassan gye yayimbuddwa ku kakalu k'obukadde 30 ku kkooti ya Buganda ate nga n'abamweyimiridde bamatiza kkooti, omulamuzi akkirize okusaba kwe.

Wano puliida wa Gavumenti omulala, Robert Mackey, bwe yasitukidde n'ategeeza nti eby'omusango oguli mu kkooti ya Buganda Road, Ssaabawaabi wa Gavumenti tabimanyiiko era yalagidde dda guggyibweyo nga wano Basajjabalaba obwedda abalaata akatuuyo katandiise okumuyitamu, bwe yalabye nga kyenkana ensonga ze zirinnye enkadaggo.

Omulamuzi Irene Akankwasa yalagidde azzibweyo mu kkomera e Luzira okutuusa enkya [Lwakutaano], amale okwetegereza bulungi ensonga ze.

Basajjabalaba avunaanibwa okujingiriria ebiwandiiko n'atasasula musolo gwa Gavumenti obuwumbi 20, okukyusakyusa ebiwandiiko bya kkooti n'afuna ssente obuwumbi 142 n'okwekobaana n'omu ku baganda be,  Muzamir Basajjabala, ne babba ssente kyoka byona yabyegaanye.

Basajjabalaba azziddwaayo e Luzira

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...