
Bya Ali Mambule ne Mulyowa John Bosco
ABAKULIRA poliisi mu ggwanga beetondedde eggwanga olw’obutataasa bulamu bw’abantu 9 abaatemuddwa omulundi ogumu mu maka g’Omusumba w’Abalokole e Kyebe mu disitulikiti y’e Rakai mu kiro ekyakeesezza Mmande.
Omumyuka w’akulira ekitongole kino, Martins Okoth Ochola ye yeetisse obubaka buno bwe yabadde agenzeeko mu maka omwatemuliddwa Pastor Steven Mugambe, mukyalawe Noeline Nalinnya, nnyina Maria Namatovu ow’emyaka 80 n’abantu abalala 6 nga bonna baaluganda.
“Ekikolwa kino tekyakomye kukwennyamiza ggwanga lyonna wabula ate ku lwaffe ng’ekitongole kya poliisi ekiteekeddwa okukuuma obulamu bwa Bannayuganda okusinziira ku kawayiro nnamba 212 mu ssemateeka w’eggwanga lino kyayiseewo nnyo mu kutuswazane kituwa okusoomooza okw’ekika ekyawaggulu okwanganga obuzzi bw’emisango,”
Ochola bwe yayogedde oluvannyuma lw’okulambula amaka ga Mugambe mwe yatemuliddwan’abantu be.
Ochola e Kyebe yabadde awerekeddwako abakungu okuva mu kitongole kya poliisi abaawaggulu era yasinzidde wano n’agamba nti ettemu lino teryabadde ng’eryabulijjo wabula abaalikoze baabaddemu n’ebikolwa eby’obutujju okusinziira ku ndabaye ey’ebintu.
“Ekyo no kye kindeesezza n’omumyuka w’avunaanyizibwa ku kulwanyisa ebikolwa ebyobutujju Geoffrey Chombe okutwegattako nga poliisi okukakasa nga tuzuula abatemu abaakoze kino, okumanya ekigendererwa kyabwe ate n’okukakasa nti tekiddamu kubaawo mu Kyebe, Rakai n’eggwanga lyonna,” Ochola bwe yagambye.
Yalabudde abatuuze okubeera abeegendereza ennyo eri abantu abapya be basanga ate n’abakuutira nabo okwenyigira obutereevu mu kunoonya abaakoze ettemu lino nga bawaayo amawulire ag’omugaso ge bamanyi kubikwatagana n’okuttibwa kwa Mugambe n’abantu be.
Poliisi yeetonze olw’abantu 9 abaatemuddwa e Rakai