TOP

Tugenda kukwata Chameleone - Poliisi

Added 19th January 2013

POLIISI egambye nti nneetegefu okukwata omuyimbi Jose Chameleone awatali kumuttira ku liiso emutwale mu kkooti avunaanibwe, singa omuwaabi wa gavumenti omukulu abawabula n’ategeeza nti alina omusango.

Bya Benjamin Ssebaggala


POLIISI egambye nti nneetegefu okukwata omuyimbi Jose Chameleone awatali kumuttira ku liiso emutwale mu kkooti avunaanibwe, singa omuwaabi wa gavumenti omukulu abawabula n’ategeeza nti alina omusango.

Kino kiddiridde abantu ab’enjawulo okuvaayo ne balumiriza nti ofiisa wa poliisi akulira ekitongole ekirwanyisa obumenyi bw’amateeka (Crime Inteligence) ku poliisi e Kajjansi muwagizi wa Chameleone.

Era okukakasa kino, bagamba nti n’essimu ye bw’ogikubako yagissaamu oluyimba lwa Chameleone olwa ‘Valu Valu’.

Ekitongole ky’amawulire mu poliisi kyafulumizza ekiwandiiko ne kitegeeza nti tebalina gwe batya kubanga Ssemateeka wa Uganda awa poliisi obuyinza okuweereza abantu bonna kyenkanyi.

Poliisi eyongera okutangaaza nti abantu tebasaanye kweraliikirira ku musango guno nti poliisi y’e Kajjansi eyinza okugulemesa kubanga fayiro ezigukwatako tezikyali mu mikono gya poliisi.

Ennyonnyola nti omuvubuka Robert Karamagi olwayokebwa, Chameleone n’agenda ku poliisi e Kajjansi n’aggulawo omusango gw’okusaalimbira mu maka ge wabula bwe yafiiridde mu ddwaliro e Mulago, ne baggulawo fayiro endala.

Kalamagi yaggyiiridde mu maka ga Chameleone e Seguku ku nkomerero y’omwezi oguwedde poliisi n’emussa ku mpingu n’emutwala mu ddwaaliro e Mulago ng’abambuse olususu.

Abooluganda lwa Karamagi baggulawo omusango ku poliisi nga balumiriza Chameleone ne basajja be okumwokya.

 

Tugenda kukwata Chameleone - Poliisi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bakaluba Mukasa.

NUP ewangudde disitulikiti ...

EKIBIINA kya National Unity Platform (NUP) kyeyongedde okweriisa enkuuli mu kulonda kwa bassentebe ba disitulikiti...

Magogo (ku ddyo) ne Mbidde ku mukolo ogumu.

Magogo okusigala mu ntebe y...

PULEZIDENTI wa FUFA, Moses Magogo oluvannyuma lw'okuwangula akalulu k'omubaka wa Palamenti (Budiope East), asaanye...

Abazannyi ba Rugby Cranes, nga beeriga ne ttiimu ya Zimbabwe e Lugogo.

Aba rugby beesika emiwula l...

Bya SILVANO KIBUUKA Rugby Cranes etandise kaweeefube w'okulaba nga Uganda evuganya mu mizannyo gya Olympics omulundi...

Omuddo gwa Kafumbe nga bwe gufaanana.

Omuddo gwa kafumbe gugoba o...

ABAANA bwe bagenda bakula ne baweza emyaka nga 13 bafuna olusu abangi lwe bamanyi nga kaabuvubuka. Omwana ne bw'aba...

Omusumba Kisitu.

Omusumba w'Abasodookisi any...

Mu bantu abatenda ssennyiga omukambwe mwe muli Omusumba w'Abasodookisi Silvestros Kisitu atwala kitundu ky'e Gulu...