TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyatta mukazi we n''abalala babiri asibiddwa emyaka 30

Eyatta mukazi we n''abalala babiri asibiddwa emyaka 30

Added 28th January 2013

Omujaasi wa UPDF, Lance Corporal Herbert Rwakihembo asingiddwa omusango gw''okutta mu butali bugenderevu kyokka ekibonerezo kyakumuweebwa eggulo lya leero.

Bya Ahmed Mukiibi

OMUJAASI wa UPDF eyasindirira abakazi basatu amasasi agaabattirawo asimattuse akalabba, kkooti y'amagye ebadde emuwozesa mu lujjudde e Luzira bw'emwejjerezza emisango gy'obutemu kyokka n'amusingisa ogw'okutta abantu mu butanwa n'emukaliga emyaka 30.

Kkooti esazzeewo ku buli muntu Lance. Cpl. Herbert Rwakihembo 27, gwe yatta, asibwa emyaka 30, ate ku musajja Ssaazi Bavawala gwe yakuba amasasi n'amulumya, Rwakihembe waakusibwa emyaka etaano. Ebibonerezo byombi agenda kubikolera kumu ekitegeeza nti wakusibwa emyaka 30, Katonda bw'anaaba amuwadde obulamu wakuyimbulwa mu 2043.

Wabula ensala yasaanudde abamu ku batuuze b'e Luzira abakung'aanidde ku Luzira COU Primary School, kkooti w'ebadde etuula, bano baagezezzaako okwegugunga nga bagamba nti omujaasi bamusibye emyaka mingi nnyo, kyokka embeera yakkakanyiziddwa abajaasi ba militale bakira abakaalakaala n'ekimotoka ki mmamba.

Bannamateeka ba Rwakihembo, Martin Muhumuza, ne 2nd Lt. David Mukwana baagambye nti bateekateeka kujulira ku kibonerezo kkooti ky'emuwadde nga bagamba nti kinene nnyo.

Rwakihembo eyali yaakadde okuva mu ddwaaniro e Somalia yatta abakazi basatu; Irene Namuyaba Nakibirango eyali muganzi we ng'amulinamu n'omwana, ne mikwano gye; Zaina Nassolo Nnaalongo ne Loyce Kawendeke be yansindirira amasasi agaabattirawo.

Omusango guno ogw'ebyafaayo guwuliddwa mu wiiki bbiri zokka okuva January 14, 2013, okutuuka eggulo ku Mmande kkooti y'amagye ey'abajaasi musanvu abakulirwa Col. Geoffrey Kakama bwe baagutyemudde wakati mu kwerinda okw'amaanyi.

Ettemu lino, lyaliwo nga December 10, 2012, mu Kisenyi Zone e Luzira mu ggombolola y'e Nakawa ku ssaawa nga zigenda mu bbiri ez'ekiro .

Waabaddewo obunkenke ku ssomero lya Luzira COU Primary School, kkooti w'ebadde etuula okuviira ddala ku makya ekimotoka ki Mmamba bwe kyasimbiddwa ku mulyango n'abajaasi ba Militale abasukka mu 100 bagumbye mu buli kasonda.

Wadde eby'okwerinda byabadde gguluggulu, abantu ba bulijjo mu Luzira beesombye mu bungi okuwulira ensala y'omusango era bwe gwawedde okusalirwa abamu baafulumya beemulugunya nga bagamba nti omujaasi yandibadde ayimbulwa kubanga yajoogebwa ekisusse.

Zaabadde ssaawa 4:15 ez'oku makya nga buli muntu akkalidde wansi, Lance. Cpl. Herbert Rwakihembo 27, n'ayingizibwa mu kisenge kya kkooti okumusomera ensala.

Munnamateeka wa kkooti, Capt David Epalu Drani, ye yasoose okuyitamu ebibaddewo okuva kkooti lwe yatandiika okuwulira omusango n'awa empapula ye mu by'amateeka era bannamagye gye beesigamyeko okuwa ensala.

Bwe yabadde awa ensala ye; Col. Kakama yategeezezza nti kkooti etunuulidde obujulizi ku njuyi zombi era basazeewo nti Rwakihembo okutta abantu abasatu teyasooka kweteekateeka wabula yasosonkerezebwa n'ava mu mbeera n'olwekyo tayinza kumusingisa musango gwa .

Kkooti y'amagye ebadde ekulirwa Col. Kakama ng'ayambibwako abajaasi abalala mukaaga okuli; Lt. Col. Philbert Owumo, Maj. Ramathan Delu, Maj. Godfrey Abigaba, Capt. Perez Kaija, Lt. James Muteyi ne WOI Job Tukei.

Oludda oluwaabi lubadde lukuliddwa Capt. Victor Kyemusu eyabadde ayagala Rwakihembo asibwe mayisa kiwe abajaasi abalala ekyokulabirako.

Omujaasi eyatta mukazi we n''abalala basatu asingisiddwa ogw''okutta

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...