TOP

DPC bamukyusizza lwa kugaana kuyimbula bazigu

Added 29th January 2013

ABADDE DPC wa poliisi y’e Katwe (SP) Richard Ecega yakyusiddwa olw’ebigambibwa nti yalagiddwa bakama be okuyimbula bakanyama abateega abantu ne babasiba emiguwa ne babakuba emiggo n’okubanyagulula mu kabuga k’omu Mubaraka.

Bya Henry Ssennyondo

ABADDE DPC wa poliisi y’e Katwe (SP) Richard Ecega yakyusiddwa olw’ebigambibwa nti yalagiddwa bakama be okuyimbula bakanyama abateega abantu ne babasiba emiguwa ne babakuba emiggo n’okubanyagulula mu kabuga k’omu Mubaraka.

Kigambibwa nti DPC Ecega okukyusibwa kyavudde ku muduumizi wa poliisi mu Kampala South Metropolitan, Michale Mugabi okumulagira ayimbule bakanyama bano abaali bakwatiddwa n’agaana.

Ecega yategeezezza nti ekikolwa bakanyama bano kye baakola okusalako amakubo ne basiba abantu emiguwa n’okubakuba n’abamu ne baweebwa ebitanda, yali tayinza kumala gabayimbula atyo.

Ekiro ekyakeesa nga 13thJanuary,2013 ekibinja kya bakanyama nga 30 lwe baazinda akabuga ka Mubaraka e Makindye ne basiba abantu ku miguwa n’okunyagulula abantu ssente enkalu, okubbako amasimu nga kwe batadde n’okubakuba emiggo ne babaasa emitwe.

Mu baakubibwa emiggo ne baddusibwa mu malwaaliro nga bataawa, kwaliko n’abavubuka ba Paakingi ya Sun Frontier. Abalala bakyatambulira ku miggo.

Bakanyama okwali: Kassim Masembe eyeeyita owa “State House”, Vincent Talemwa, Gilbert Mujuni, Geoffrey Katumba, Juma Ssenyonga, Brian Ssentongo, Sulaiman Ssemwogerere, Michael Nsambu, Hassan Bizimana ne Sulaiman Bukenya be baakwatibwa.

Ekifo kya DPC, kyajjuziddwamu (SP) Patrick Issamat eyatandise okukakalabya emirimu gye ate Ecega tannamanyika wa w’ali.

DPC w''e Katwe akyusiddwa lwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Olukiiko lwa NRM e Bukasa L...

WABADDEWO okusika omuguwa ku Ofiisi za NRM e Bukasa-Masozi mu Ggombolola y'e Bweyogerere mu Munisipaali y'e Kira...

Aba Takisi mu ppaaka y'oku ...

WABALUSEWO obutakanya mu ba takisi mu  ppaaka y'oku kaleerwe ekiwayi ekimu bwe kirumirizza nanyini ttaka kwe bakolera...

Nalweyiso ng'atottola obulamu bw'ekkomera

Gwe baakwatira mu Curfew ne...

OMUYIMBI  eyakwatibwa olw'okugyemeera ebiragiro bya pulezidenti oluvudde mu kkomera e Kigo nayiiya oluyimba lw'atumye...

Abaabadde batendekebwa okuyamba abakoseddwa mu mataba.

Ab'e Kasese abaakosebwa ama...

ABANTU b'e Kasese abaakosebwa amataba olw'omugga Nyamwamba okwabika bakyalaajanira gavumenti okubayamba waakiri...

 Abdallah Mubiru ng'ayogerako n'abazannyi be

Mubiru atendeka Police FC a...

OMUTENDESI wa Police FC, Abdallah Mubiru, aweze nga sizoni ejja bw’alina okulaba nga ttiimu ye evuganya ku bikopo....