TOP

Omwana wa muggyawe amukwasizza

Added 5th February 2013

OMUKAZI omufumbo atuyaanidde ku Poliisi e Lukaya mu Kalungu gy’atwaliddwa aginnyonnyole ku by’omwana wa muggyawe eyasangiddwa ng’abunye amabwa omubiri gwonna.

 

Bya Ssennabulya Baagalayina
 
OMUKAZI omufumbo atuyaanidde ku Poliisi e Lukaya mu Kalungu gy’atwaliddwa aginnyonnyole ku by’omwana wa muggyawe eyasangiddwa ng’abunye amabwa omubiri gwonna.

Mariam Nakyejjwe yakwatiddwa olw’ebigambibwa nti alina ekkoobaane ne bba Amuri Ssemuyaga okubonyaabonya omwana Fahad Mubiru ow’emyaka esatu ng’ono poliisi w’emugwiiriddeko ng’akubiddwa bubi n’okwokebwa omuliro.

Mubiru yabadde n’ebiwundu by’omuliro ku mikono, ebigere n’omugongo ng’abazirakisa be baatemezza ku poliisi ku ngeri abazadde bano gye baamutulugunyaamu wabula omukazi n’agiremesa okukwata bba.

Omukazi bwe yatuusiddwa ku Poliisi yagambye nti omwana kitaawe yennyini y’amutulugunya ng’amukuba buli lunaku nti ayonoona ku buliri era olulala yamukuba n’azirika.

Mu kiseera kye kimu Poliisi etubidde n’abaana basatu okuli n’ayonka abaasuuliddwawo nnyina nga kigambibwa nti abadde atambula nabo ng’abasuza mu nsiko.

Omuduumizi wa Poliisi mu Kalungu, SP Martine Okoyo yategeezezza nti abaana abasatu okuli Sauda Namatta, Malusi Nawangi ne Adam Kyaterekera baazuuliddwa omuzirakisa Hussein Kayizzi.

SP Okoyo agamba nti Kayizzi yabategeezezza nti abaana baasuuliddwa ku kyalo Mukoko ekiri mu Ggombolola y’e Bukulula. 

Omwana wa muggyawe amukwasizza

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Harold Kaija

Omukunzi wa FDC attiddwa mu...

AKULIRA okukunga abantu mu kibiina kya FDC mu disitulikiti y'e Lyantonde bamusse ne kireka ebibuuzo ku bigendererwa...

Minisita Namugwanya (mu kyenvu) n’omubaka Hussein (ku kkono) n’abamu ku bakulembeze abaalondeddwa.

Gavt. erondesezza akakiiko ...

GAVUMENTI erondesezza akakiiko ak'ekiseera ka bantu bataano mu St. Balikuddembe kagiyambeko okuddukanya akatale...

Amaka ga Kasango (mu katono) e Butabika mu munisipaali y’e Nakawa.

Obukama bwa Tooro buyingidd...

OLUVANNYUMA lwa ffamire okulemererwa okutuuka ku kukkaanya ku by'okuziika munnamateeka Bob Kasango eyafiira mu...

Florence Nabakooza bba Shafique Wangoli yakwatiddwa ng’ali lubuto.

Abaabulwako abaabwe olukala...

ABANTU abaabulwako abaabwe tebamatidde n'olukalala minisita w'ensonga z'omunda mu ggwanga Gen. Jeje Odong lwe yayajulidde...

Ku kkono; Hope Kitwiine, Mildref Tuhaise, Mercy Kainobwisho, Patience Rubagumya, Connie Kekihembo, Agnes Nandutu ne Irene Irumba.

Abakyala balaze ebirungi by...

ABAKYALA abali mu bifo by'obukulembeze mu by'obusuubuzi balaze okusomoozebwa abakazi kwe bayiseemu olwa corona...