TOP

Ssemakookiro ali mu Lubiri azannya: Akuze

Added 6th February 2013

OMULANGIRA Ssemakookiroakuze era adduka misindemu muddo gw’omu Lubiri n’okukozesa ebyokuzannyisa ebyamugulirwa.

Bya MUSASI WAFFE

OMULANGIRA Ssemakookiro akuze era adduka misindemu muddo gw’omu Lubiri n’okukozesa ebyokuzannyisa ebyamugulirwa.

Alina omupiira gw’azannya, kiddole ky’essimu, akagaali, bbaaluuuni n’ebyokuzannyisa ebirala by’amalirako obudde mu Lubiri lwa Ssaabasajja e Banda.

Nga July 10, omwaka guno Ssemakookiro lw’ajja okuweza emyaka ebiri egy’obukulu.

Yazaalibwa July 10, 2011 mu ddwaaliro e Nsambya mu waadi ya Madhivani.

Bukedde ye yasooka okukuba ekifaananyi ky’Omulangira Ssemakookiro ng’asituddwa Ssabasajja nga January 18, 2012 amawulire agaacamula ennyo Abaganda.


Kabaka ng'asitudde Omulangira Ssemakookiro. Ku ddyo Omulangira Ssemakookiro nga bw'afaanana kati

Omulangira azaalibwa Omuzaana Rose Nansikombi muwala wa Ssaalongo George Edward Sserebe ne Nnaalongo Christine Nalubanjwa ab’e Bulemeezi.

Omuzaana Nansikombi yeddira Nseenene.

Omulangira bwe yazaalibwa, Ssaabasajja n’amubbula mu Ssekabaka Ssemakookiro eyali Kabaka wa Buganda owa 27.


Ku (kkono), Omulangira Ssemakookiro bw’afaanana kati. Ate ku (ddyo) Ssemakookiro ng'azannya.

Ekika ky’Enseenene kyakavaamu Bakabaka basatu okuli Ssemakookiro, Ssekabaka Kimera eyali owookuna ne Kamaanya eyali owa 28.

Katikkiro Yinginiya John Baptist Walusimbi yalangirira mu butongole eri Obuganda okuzaalibwa kwa Ssemakookiro nga January 17, 2012 oluvannyuma lwa Bukedde okumutwalira ekifaananyi kya Kabaka ng’asitudde Ssemakookiro.

Alina obubaka obuyozaayoza Omulangira okuweza omwaka ogumu n’ekitundu wandiika ‘MULANGIRA’ mu ssimu yo ozzeeko obubaka bwo oweereze ku 8338.


Ssemakookiro ali mu Lubiri azannya: Azannya

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mbuga ne Vivian

Ebya SK Mbuga ne mukyala we...

JALIA Vivian Mbuga yasoose kuvaayo ng’ayita ku mukutu gwe ogwa Face book n’avumirira ebikolwa by’obutabanguko mu...

Obutungulu busobola okukugg...

GWE abadde alowooza nti obwavu bwakwesibako era nga n’olumu weeyita mwavu, okukaaba kwo kukomye anti obutungulu...

Paul Kafeero

Ebya Kafeero okuziikuulwa b...

ABAANA ba Paul Kafeero bana bapangisizza looya omupya okubawolereza mu musango ogwabawawaabiddwa bannaabwe 10....

Engeri Corona gy'akosezzaam...

Engeri abatawulira, abatayogera n’abaliko obulemu obulala ate nga balina obulwadde bw’olukonvuba gye bakoseddwaamu...

Ennyumba Ssendawula gye yazimba e Kayunga.

Famire y'omusama amansa sse...

OLUKIIKO lwa ffamire olwatudde ku nsonga z’omuvubuka wa ‘Rich Gang’ Luke Junior Ssendawula lwasazeewo aziikibwe...