TOP

''Eby''amagye okuwamba byabulimba'' - Museveni

Added 7th February 2013

PULEZIDENTI Museveni agambye nti abantu nga Brig. Muhoozi Kainerugaba okuweereza mu UPDF, kirabo okuva eri Katonda kubanga amagye yagayingira olwa mwoyogwaggwanga sso si kufunamu nsimbi.

Bya AHMED MUKIIBI

PULEZIDENTI Museveni agambye nti abantu nga Brig. Muhoozi Kainerugaba okuweereza mu UPDF, kirabo okuva eri Katonda kubanga amagye yagayingira olwa mwoyogwaggwanga sso si kufunamu nsimbi.

Gen. Museveni yategeezezza nti mutabani we yayita mu mitendera emituufu okuyingira amagye, teyayita mu kamooli nga Col. Kiiza Besigye bwe yawandiise mu mboozi eyafulumidde mu lupapula
olumu n'agamba nti kyandibadde kya buswavu omwana akulidde mu bulamu obw'amagye obuteegomba kugaweererezaamu.

Bino biri mu kiwandiiko nnamutaayika Pulezidenti kye yafulumizza eggulo ng'ayanukula Col. Besigye ku magye ga UPDF, Muhoozi, ne NRM mu myaka 27 egiyise. Pulezidenti era yakoonye ne ku bigambibwa nti amagye gakyayinza okuwamba singa bannabyabufuzi balemwa okwefuga.

KYABULIMBA AMAGYE OKUWAMBA
Museveni yategeezezza nti talina biseera bya kwonoona kwanukula bibooziboozi bye yagambye nti bifumbibwafumbibwa abalabe ba Uganda ne NRM nga bawa ekifaananyi nti waliwo omutawaana.

“Mbadde ndaba katemba agenda mu maaso ku byogerwa nti amagye gateekateeka kuwamba ne nsalawo obutabaako kye nnyanukula olw'ensonga bbiri; esooka obwo bulimba obusaasaanyizibwa emikutu gy'amawulire, ekyokubiri saagala balabe ba Uganda kutuggya ku mulamwa okulekerera ebintu eby'omugaso okudda ku bintu ebitaliimu nsa.

E Kyankwanzi awagambibwa nti gye nnayogerera eby'amagye okuwamba, Museveni yategeezezza nti  bannamawulire bakkirizibwa mu kuggulawo olukung'aana luno olwatuula okuva nga Juanury 11 okutuusa nga January 18, 2013, n'agamba nti ebirala ebyateesebwa

Lwaki Museveni ayambala yunifoomu y'amagye ate nga yawummula?

Ng'omuduumizi w'amagye ow'oku ntikko, Museveni yagambye ateekwa okwambala ekyambalo ky'amagye wadde yagawummula n'agamba nti bw’atandibadde munnamagye eyagawummula, ekifo kino kimusobozesa okwambala yunifoomu y'amagye ey'emikolo.

“Abaaliwo mu biseera ebyo munnajjukira nti abagenzi Kenyatta, Obote ne Nyerere baayambalanga
yunifoomu z'amagye ez'emikolo. Nze mu kifo ky'okwambala yunifoomu ey'emikolo, nnettanira kwambala yunifoomu yange eya kiragala gye nnayambalanga mu ntalo ze nnalwana mu 1971-79 ne 1981-86 wamu n'endala,” bwe yagambye.

Yagasseeko nti yalayizibwa nga Pulezidenti wa Uganda nga January 29, 1986 ku madaala ga Palamenti ng'ali mu yunifoomu ye eya kiragala n'agamba nti oluusi ayambala ne yunifoomu ey'ebibomboola kasita eba ng'etungiddwa bulungi.

Yagambye nti olaba ng'Abaseveni abaalwana mu Ssematalo nabo bakyayambala yunifoomu ezaabaweebwa amagye ga Bungereza mu 1946 nga Ssematalo akomekkerezeddwa n'abuuza lwaki omuntu kyandiyisiddwa bubi olw'ekyo.

'MUHOOZI MWOYO GWA GGWANGA'

 

Museveni yagambye nti Muhoozi bwe yatuula S.6, mu luwummula yasaba akkirizibwe ne mikwano gye okutendekebwa mu by'amagye era ye ng'omuzadde yakisanyukira kubanga omwana oyo yazaalibwa mu magye, akulidde mu magye kyandibadde kibi obuteegomba kuweereza mu magye.

Muhoozi

“Abavubuka abasalawo okuyingira amagye olw'obwamwoyo gwa ggwanga sso si okugukola ng'omulimu ogw'okufuna ensimbi babeera kirabo okuva ewa Katonda eri UPDF,” Museveni bwe yategeezezza.

Yannyonnyodde nti Muhoozi bwe yamala ddiguli ye okuva mu Yunivasite y'e Nottingham mu Bungereza yasaba n'ayingira amagye mu butongole okutuukiriza ekirooto kye.

Museveni yeebuzizza lwaki Munnayuganda yenna alumirirwa eggwanga yandibadde ayisibwa bubi omwana ng'oyo okuyingira amagye.

“Mutabani wange bw'aba talina kye yegomba mu kuweereza mu magye okulwanirira ensi ye nga nze emyaka gyange egy'obukulu gye mbadde nnwanirira eggwanga kiba kitegeeza nti gigenda kufa ttogge,” Museveni bwe yagambye.

Yagambye nti Muhoozi abeera kwesamba magye olwo abaana ba Bannayuganda abalala bandisobodde batya okwegomba amagye.

Museveni yagambye nti Muhoozi okuyingira amagye kirungi kubanga kisirikiriza abavubuka okugayingira.

Ku butendeke bwa Muhoozi, Museveni yagambye nti Dr. Besigye ng'eyaliko mu bifo eby'obuvunaanyizibwa mu UPDF akimanyi nti waliwo enkola eyassibwawo buli munnamagye okusobola okulinnyisibwa amadaala nga bayita mu kwongera okutendekebwa n'okusoma.


“Abo ba Besigye we baabeerera mu magye, kyali kigendererwa kya UPDF okbasindika okutendekebwa munda n'ebweru w'eggwanga kyokka abasinga kw'abo tebaagenda kutendekebwa era Dr. Besigye amanyi ensonga ezaabagaana.

Museveni yagambye nti Gen. Salim Saleh ne Gen, Tumwine basiniya ku Gen. Aronda wadde nga ye muduumizi wa UPDF ky’ava abakubira saluti.

'SALEH NNAMUWUMMUZA LWA TTAMMIIRO’

Ku Saleh, Museveni yagambye nti ye yaduumira entalo e Masindi, Kabamba, Mubende, Katonga, Masaka, Mbarara ne Kampala, NRA n'ewamba emmundu mpitirivu n'okusesebbula omulabe n'agamba nti Saleh bwe yatandika ettamiiro n'amugoba mu magye okutuusa lwe yeddako
n'alyoka amuzza.

“Okulwana entalo, si muniino, ekyo Dr. Besigye ateekwa okukimanya,” Museveni bwe yagambye.

Salim Saleh

Alumbye Besigye ku byenfuna

Museveni yagambye nti kyabadde kikyamu Dr. Besigye okutegeeza nti NRM eremeddwa okutuukiriza ennyingo eyokutaano mu nnyingo ekkumi eza NRM ey'okuzimba ebyenfuna
ebyetengeredde.

Museveni yagambye nti kituufu NRM tennaggusa lugendo olw'okukyusakyuusa ebyenfuna by'eggwanga nga bwe yali ateekeddwa olw'ensonga ez'enjawulo naddala olwa Bannabyabufuzi abasekeerera gavumenti era abasing baasooka kwerimbika mu NRM oluvannyuma ne
beesogga FDC.

Wabula yagambye nti waliwo bingi ebituukiddwaako okuva mu 1986 omuli eby'amakolero, okulwanyisa amagendo, eby'obuzimbi, n'awa emiwendo nga bwe gizze gikyukakyuka.


Nsonga ki ezaatwaza ababaka ba palamenti e kyankwanzi ?

Museveni yagambye nti ekibuuzo ekyo teyandikisuubidde mu Besigye eyaliko Ssaabalung'amya ow'ebyobufuzi mu NRM.

Besigye

Yagambye nti kirabika Besigye yeerabidde nti emisomo gy'ebyobufuzi ne chakamchaka gye gyayamba okuwa abantu ba bulijjo omusingi n'obuvumu okutegeera embeera NRM gye yayitamu mu nsiko omuli, enjala, endwadde, n'obuzibu obulala.

Yagambye abantu ba bulijjo ng'ababaka ba Palamenti okwambala yunifoomu y'amagye mu ngeri ekkirizibwa ng'e Kyakwanzi kirungi kubanga kissaawo enkolagana wakati waabwe n'amagye era bongera okutegeera engeri amagye gye gakolamu.

''Eby''amagye okuwamba byabulimba'' - Museveni

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sosimu Twesiga

Abalima ebikozesebwa mu kus...

ABALIMA ebikozesebwa mu kusogola omwenge balaajanidde gavumenti ne bagisaba okuddiriza ku mateeka g'omuggalo ku...

Rtd. Sgt. Kyazike

Owa UPDF gwe baafera asobeddwa

EYALI omuserikale w'eggye lya UPDF abafere baamulimba okumuguza enju oluvannyuma ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu...

Museveni

Obuwumbi 11 ez'abasomesa mmye

ABASOMESA balojja ennaku gye bayitamu oluvannyuma lwa ssente pulezdienti ze yawa SACCO yaabwe bwe zabbibwa ne bamusaba...

Aba bodaboda ku siteegi y’e Makerere nga bajjuza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu, Ku ddyo ye Donozio Ssempeebwa ssentebe waabwe.

Bukedde bw'agabula tewali a...

ABAVUZI ba bodaboda nabo beegasse ku bantu abalala okukunga bannaabwe okwetaba mu kujjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka ku mukolo gw'okukuyega abakulembeze mu Mbale.

Ab'e Mbale basabye Museveni...

MUSEVENI bwe yabadde mu Bugisu baamubuulidde ebintu ebikulu bye baagala akole olwo basobole okumuyiira obululu...