
BYA Alice Namutebi
KKOOTI enkulu ekola ku nsonga z’ettaka e Kampala eragidde ab’enganda z’omugenzi munnamakolero James Mulwana okusasula ssente ezisoba mu kawumbi kamu oluvannyuma lw’okusingisa omugenzi omusango gw’obufere.
Omulamuzi Percy Tuhaise era yalagidde ab’enganda okuddiza Rehema Namuli [60] namwandu wa Daudi Ochieng ettaka lye erisangibwa ku Block 243, plot 786 Kitintale nga liwezaako desimolo 75 bweyategezeeza nti Mulwana ettaka yalifuna mu bukyamu.
Omugenzi Mulwana abadde awerennemba n’omusango guno wamu ne Mukalazi Kibuuka, Mukangombe Kibuuka, Sarah Walusimbi kyokka nga bona tebaabadewo mu kkooti yadde puliida wa Mulwana, Peter Musoke.
Namuli yategeeza omulamuzi nti obuzibu bwatandika mu mwezi gwa December 2002 bweyewoola obukadde 30 ku Mulwana asobole okusasula looni gyeyali yewooze era nawaayo ekyapa kye ttaka ng’omusingo nebakola endagaano nga wakuzzaayo ssente zino mu banga lya myezi esatu.
“Nga wakayita omwezi gumu nga n’ebbanga lyebaategeragana terinaggwako, Namuli yafuna ssente zeyali yewooze ku Mulwana wabula Mulwana namutegeeza nga bweyali yatunda edda ettaka lye kyokka nga teyasooka kumwebuuzako yadde okufuna olukusa” Namuli bweyategeezezza.
Namuli eyali mukwano nfa nfe wa Mulwana yategeezezza Omulamuzi Tuhaise nti ettaka lino yaligula nga 26 June 1971 nga mwalimu n’amayumba gapangisa nga buli mwezi yali afuna akakadde 1 n’emitwalo ena era naleeta n’endagaano eziraga obwananyinni kyokka Mulwana mu kwewozaako yategeeza nga bweyasaba Namuli okumuguza ettaka lye oluvannyuma lw’okukizuula nti kampuni Namuli gyeyali yewozeeko ssente eya [Moneylending company Investment Masters limited] yali egenda kulitunda ng’alemeddwa okusasula obukadde 30.
Omulamuzi Tuhaise yategezeeza nti Mulwana teyaleeta bujulizi bwonna bukakasa bwananyinni ku ttaka lino era nalagira basasule Namuli ensimbi zonna zafiiriddwa mu mayumbage mu myaka 10 gyamaze nga tajjaamu ssente saako n’okumuddiza ettaka n’ekyapa kyakwo.
Omugenzi Mulwana bamusingisizza omusango