TOP

Kabaka asuubirwa ku matikkira e Masaka

Added 15th February 2013

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II ku Lwokutaano asuubirwa okwetaba ku mikolo gy’okutikkira abayizi ba Muteesa I Royal University e Kirumba Masaka ku kitebe kya yunivasite eno.

Bya BENJAMIN SSEBAGGALA

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II ku Lwokutaano asuubirwa okwetaba ku mikolo gy’okutikkira abayizi ba Muteesa I Royal University e Kirumba Masaka  ku kitebe kya yunivasite eno.

Kabaka era Canasala wa yunivasite eno agenda kutikkira abayizi 719 abaamaze emisomo gya diguli ne dipuloma ku matikkira ag’omulundi ogw’okubiri.

Amyuka Cansala Polof. Isaac Kigongo Bukenya bino yabitegeerezza mu lukung’aana lw’abamawulire ku ttabi lya yunivasite e Mmengo ku Lwokubiri n’agamba nti ekikulu yunivasite eno ky’esinga okwetaaga kwe kugisuula omukono mu byensimbi.

Yayongeddeko nti abayizi abasoba mu 100 kabaka be yawa bbasale okuva mu buli disitulikiti okwetoloola eggwanga nabo bagenda kutikkirwa ku mulundi guno.

Omumyuka wa pulezidenti Edward Kiwanuka Ssekandi naye ku mukolo asuubirwa okubaako.

Kabaka asuubirwa ku matikkira e Masaka

More From The Author

Ow

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...