TOP

Abafumbo beerangidde ku poliisi

Added 18th February 2013

ABAFUMBO batabuse, omusajja n’atwala mukazi we ku poliisi n’agisaba emuggalire okutuusa ng’amuleetedde omwana gw’agamba nti amaze wiiki bbiri ng’amukwese.

Bya Ssennabulya Baagalayina

ABAFUMBO batabuse, omusajja n’atwala mukazi we ku poliisi n’agisaba emuggalire okutuusa ng’amuleetedde omwana gw’agamba nti amaze wiiki bbiri ng’amukwese.

Moses Kiwanuka, omutuuze ku kyalo Birongo mu Ggombolola y’e Lwabenge yagenze ku poliisi y’e Lukaya n’agikwasa mukazi we Josephine Mukashaka n’agisaba emuwalirize okuleeta omwana we Gift Kisaakye Nampijja.

Kiwanuka agamba nti Mukashaka yasiba eby’omu nju byonna n’adduka awaka n’omwana okutuusa bwe yamulondodde n’amugwiikiriza ku mwalo gw’e Kamuwunga ng’akola mu bbaala ya Nantongo.

Wabula Kiwanuka yeekokkodde Mukashaka nti yamuwendulidde abasajja be abaamukkakkanyeko ne bamukuba ebikonde sso nga yabadde akimye mwana we yekka sso si bya kumuzzaayo mu ddya.

Mu kwerwanako, Mukashaka yakitadde ku bba nti muzibu nnyo atabeereka naye kuba mu bbanga ly’amaze naye amukuba olutatadde gattako okutunda eby’awaka okuli n’ebirime ssente n’azeekomya.

Mukashaka alumiriza nti okunoba,  bba yaliwo awaka n’amukwasa omwana we n’ebisumuluzo by’enju n’abimuggyako nti era amanyi omwana oyo gy’ali ng’okumulondoola aluubirira kumuzzaayo mu nnaku.

Kyokka kino Kiwanuka yakigaanye ng’agamba nti ku kye yatuuseeko ku mwalo takyetaaga mukazi wadde okutambula ababiri mu kkubo okuggyako amwagaza kimu mwana we yekka.

Akulira Poliisi e Lukaya, AIP Pascal Mutatina yategeezezza nti Mukashaka bakyamuggalidde nga bwe banoonyerezza ku mayitire g’omwana Kisaakye.

 

Abafumbo beerangidde ku poliisi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abalondoola enkulaakulana m...

ABAKUNGU mu byenkulakulana ku lukalu lwa Africa balaze omugaso gw'okukuuma obutonde bwensi mu kaweefube w'okuddabulula...

Paapa Francis nga yaakatuuka  mu Iraq ku Lwokutaano.

Engeri Paapa gye yeesitudde...

PAAPA Francis ‘Baba al Vatican' (nga bwe bamuyita mu Iraq) ku bugenyi obwebyafaayo mu Iraq yasisinkanye n'omukulembeze...

Catherine Namaato baamusala Catherine okutu ng’ava okukola..

Abakuba obutayimbwa basitud...

BANNAKYOTERA beeraliikirivu olw'akabinja k'abanyazi akateega abantu nga bava okukola ne babakuba obutayimbwa ku...

Ssebwana Kiberu (ku ddyo) ng’akulembeddemu Bannabusiro okukola bulungi bwansi e Kajjansi.

Ssebwana akuutidde abavubuk...

OMWAMI wa Ssaabasajja atwala Essaza ly'e Busiro, Ssebwana Charles Kiberu Kisiriiza, akuutidde Abavubuka abaalondeddwa...

Abamu ku bavubuka abagambibwa okubbira ku bodaboda abakwatiddwa.

▶️ Akabinja k'aba bodabo...

AKABINJA k'ababodaboda ababbi katadde abasuubuzi mu Kampala ku bunkenke. Babbye ssente obuwumbi bubiri mu wiiki...