
Bya MOSES LEMISA
ABAGOBEREZI b’ekkanisa y’omusumba David Kiganda bamukubyeko akalulu addemu awase kyokka ne bamussaako akakwakkulizo obutalonda mukazi kuva mu kkanisa eyo yennyini okwewala okuleetamu obuvuyo.
Omusumba Ssaalongo Ntale ye yabuulidde oluvannyuma lwa Kiganda okulemererwa olw’abantu abaabadde bamutadde ku nninga okuwasa.
“Munsaba okuwasa naye mulindeeko essaawa tennatuuka mulinde nja kubaleetera omudinka. Musumba Ntale jangu obuulire kuba ndaba abantu tebaagala kunziramu olw’okuba baagala mbalage omukazi” Kiganda bwe yazzeemu.
Wabula omusumba Ntale ng’azze ku muzindaalo yagasseeko, “abagoberezi bano kati bakutwala nga taata waabwe, kale kiba kiswaza ate okubawasaamu. Ssebo tuyambe tokikola, naye oli wa ddembe okufuna omuntu yenna ne bw’oba omuggye bweru wa ggwanga naye nga si mu kkanisa.”
Omusumba David Kiganda ow’ekkanisa ya Christianity Focus Centre mu Kisenyi atambuza mwaka gwa munaana bukya ayawukana ne mukyala we Hadija Nassejje gwe yakwatira mu bwenzi n’omusajja Mukwasi omusiisi wa capati.
Gyevuddeko abasumba b’omu kkanisa ye baawandika ekiwandiiko ne bakiweereza omusumba Alex Mitala akulira amakanisa g’abalokole mu ggwanga nga bemulungunya ku musumba waabwe gwe bagamba nti aluddewo okuddamu okuwasa.
Ku Ssande abagoberezi nga bakulemberwamu omusumba Isaac Mpawulo, baategese okulonda ku nsonga y’okuwasa kwa Musumba Kiganda era okulonda kwagenze okukomekkerezebwa ng’abantu 96 ku 100 bawagira omusumba waabwe afune omubeezi kyokka bino byonna baabikoze Kiganda tebaamutegeezezzaako.
Kiganda yategeezezza nti eby’okumukubako akalulu tabimanyiiko kuba yabadde aliko gye yagenda okudda ng’abasumba b’omu kkanisa ye bategese okulonda ku kye yagambye nti kyabadde tekyetaagisa. Yasabye abagoberezi baguminkirize.
Bakubye akalulu ku musumba Kiganda afune omukyala