TOP

Bakutte omusamize eyasaddaaka omwana

Added 19th February 2013

POLIISI ezinze essabo n’ekwata abasamize babiri abeekobaanye n’omusajja n’asaddaaka omwana we nga bamutumye ebitundu by’omubiri gwe asobole okufuna obugagga.

Bya Ronald Mubiru 

POLIISI ezinze essabo n’ekwata abasamize babiri abeekobaanye n’omusajja n’asaddaaka omwana we nga bamutumye ebitundu by’omubiri gwe asobole okufuna obugagga.

Jjajja Teopista Nakakande n’omuyambi we Moses Kasiita ab’e Ssekabusolo Mubende poliisi be yakutte ku Lwomukaaga  lwa kwekobaana ne Ali Mugerwa n’asaddaaka omwana we Akram Mugerwa omulambo ne bagusuula mu nsiko.

Amyuka akulira bambega ku poliisi e Katwe Benard Odyek ye yakulembeddemu okukwata bano nga poliisi eri wamu n’ekibiina kya Kyampisi Childcare Ministries ekikwekweto ne kiyinda.

Wiiki ewedde poliisi y’e Katwe yakutte Mugerwa ow’e Masajja B Kibira Zooni ng’emuteebereza okusaddaaka omwana we mu December wa 2011 ne yegaana ng’awoza kimu nti omwana yali mulwadde n’amutwala mu ddwaliro kyokka n’afiira mu kkubo omulabo n’agusuula mu nsiko.

Poliisi yayongedde okunyweza Mugerwa n’emukunya olwo n’atandika okutottola byonna nti waliwo mukwano gwe eyamutwala ewa Nakakande anoonye obugagga ye Nakakakande kwekumutuma ebitundu by’omubiri gw’omwana okuli: amatu, olulimi, ebitundu by’ekyama n’omusaayi kyokka bwe yamutegeeza nti alinayo omwana ayonka n’aggumiza nti oyo y’asinga.

 “Yampa omusajja gwe najja naye okuva e Mubende ekiro ne tugula kalifoomu gwe nateeka mu muceere gwe nnawa mukazi wange nsobole okumubbako omwana nga tawulira. Omwana twamutwala naye bwe baali bamusala naddukawo nga ntide era obugagga saabulinda naye kati mbonaabona” Mugerwa bwe yannyonnyodde.

Clare Kyalisiima nnyina w’omwana yannyonnyodde nti Mugerwa yali amaze wiiki nnamba nga tali waka lwe yakomawo n’adda n’omuceere gwe yamuwa nga yakatuuka. Yeebaka yagenda okudda engulu nga bba n’omwana tabalaba n’alaya enduulu.

“Nga wayise ennaku bbiri poliisi yazuula omulambo gw’omwana wange mu nsiko nga gusaliddwako ebitundu by’omubiri,” Kyalisiima bw’annyonnyola.

Awaka wa Nakakande e Mubende poliisi yasanzeewo amasabo abiri (2) era yategeezezza nti ye agaba yirizi y’obugagga ng’ataddemu empitambi ekalidde ku kkubo, mukoka, kayaayaana, oluyito n’eddagala eddala naye ebitundu by’omubiri gw’omwana tabimanyiiko. “Oyo Mugerwa yajja ewange ng’ayagala kugenda Dubai n’okufuna obugagga,” Nakakande bw’akubira.

Kasiita yagambye nti Mugerwa amaumanyi bulungi kubanga abadde agenda mu ssabo lyabwe naye ng’eby’okusaddaaka omwana abyegaana era yategeezezza poliisi nti ye tatambulangako ne Mugerwa bagende basale omwana. 

Eggulo Mugerwa yakulembeddemu poliisi n’atwala abaserikale mu kifo we baasalira omwana obulago e Masajja Kibira Zooni okumpi n’ekikomera kya ssentebe w’ekyalo, Daud Musenza Alanda. Abatuuze baacoomedde poliisi nga baagala babawe Mugerwa bamukube ne kirema. 

Omusango guli ku fayiro nnamba CRB 8125/2011.



Bakutte omusamize eyasaddaaka omwana

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Muwonge (ku ddyo nga bw'afaanana) ng'abuusizza ddigi.

Mutabani wa Super Lady alaz...

FILBERT Muwonge, ng'ono mutabani wa kyampiyoni w'emmotoka z'empaka owa 2011 ne 2018, afuludde banne mu ddigi z'empaka....

Ebyana nga binyumirwa obulamu e Kamwokya.

Ebbaala zigyemye ne ziggula...

EBBAALA zeewaggudde ku mateeka agaayisibwa poliisi ku kutegeka ebivvulu ku lunaku lw'Amazuukira. Ekivvulu ekyamaanyi,...

Katikkiro Mayiga (mu kkooti) ng'abuuza ku Ssaabasumba Kizito Lwanga, minisita Muyingo. asembye ku ddyo ye Bp. Ssemwogerere.

'Ssaabasumba abadde assa ek...

Buganda ebadde esula Ssaabasumba Lwanga ku mutima era abadde omutumbuzi w'ennono n'obuwangwa. Mu kufa kwa Dr.Lwanga,...

Okidi ng'alya obulamu ne Nnaalongo we e Kalangala.

Bawangudde okulambula mu bi...

Oluvannyuma  lw'akazannyo akaategekebwa ekitongole ky'ebyobulambuzi mu ggwanga ekya Uganda Tourism Board akamanyiddwa...

Kibowa (mu kiteeteeyi ekya kyenvu) n'abakyala be yabadde asisinkanye.

Abakyala basabye Museveni a...

SSENTEBE w'obukiiko bw'abakyala mu ggwanga, Faridah Kibowa asabye gavumenti okubongera ssente kibayambe okwongera...