TOP

Gavt. enaawa ab''e Buvuma ekidyeri ekipya

Added 23rd February 2013

Katikkiro wa Uganda, Patrick Amama Mbabazi ayanukudde omulanga gw’abatuuze, abavubi n’abakolera emirimu gyabwe mu bizinga by’e Buvuma bw’abategeezezza nti gavumenti emalirizza enteekateeka ez’okubwa ekidyeri ekipya.

Bya Henry Nsubuga


Katikkiro wa Uganda, Patrick Amama Mbabazi ayanukudde omulanga gw’abatuuze, abavubi n’abakolera emirimu  gyabwe mu bizinga by’e Buvuma bw’abategeezezza nti Gavumenti emalirizza enteekateeka z'okubawa ekidyeri ekipya.

Mbabazi eyatambuliddeko ku kidyeri ekiva ku mwalo gw’e Kiyindi okugenda e Buvuma yagambye nti naye akizudde nti ekidyeri kino ekiva e Kiyindi okugenda ku mwalo gw’e Kirongo mu Buvuma kifuuse ganyegenya ate nga kitikka nnyo.

Yagambye nti olw’okuba e Buvuma wavaayo eby’amaguzi bingi mu kiseera kino, kyetaagisa era nga Gavumenti ekirabye nti balina okufuna ekidyeri ekinene obulungi okwongera okwanguyiza ab’e Buvuma mu ntambula.

Mbabazi okwogera bino yabadde adda mu mubaka w’e Buvuma omukyala mu palamenti, Janifer Nantume Egunyu eyamutegeezezza ng’abakolera mu bizinga by’e Buvuma bwe bagenda okutuuka okugwa mu mazzi ng’entabwe eva ku kuba nti ekidyeri kyabwe kitikka nnyo ate nga kiwedde ku mpagala!.

Nantume yagambye nti baludde nga Gavumenti ebasuubiza nga bw’egenda okubawa ekidyeri naye nga tetuukiriza n’asaba ku mulundi guno nga ne Mbabazi kennyini bw'akitambukliddeko n’akiwulira, ateeke mangu mu nkola ekisuubizo kino.

Bino byabadde ku mukolo ab’e Buvuma kwe baakulizza emyaka gya NRM 27 mu buyinza gyayindidde ku kisaawe e Maggyo.

 

 

Gavt. enaawa ab''e Buvuma ekidyeri ekipya

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulabirizi Rt. Rev Kityo Luwalira ng'akwasa Ven. Canon Moses Banja ne mukyala we Rev. Can Dr. Banja Baibuli.

Mwongere okusabira Ssaabasa...

OMULABIRIZI w'e Namirembe Wilberforce Kityo Luwalira, akunze Obuganda okwongera okusabira  Ssaabasajja Kabaka,...

Dombo ng'annyonnyola.

Pulezidenti waakusooka kusi...

Omukulembeze w'eggwanga, Yoweri Kaguta Museveni asazeewo okutandika okusisinkana ababaka ba NRM abapya abaakalondebwa...

Katikkiro Mayiga ng’ayogera.

▶️ Ebibuuzo 10 eri Katikkir...

ABATAKA abakulu b'ebika n'abantu ab'enjawulo bavuddeyo ku byayogeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga ku mbeera...

Wakabi abatuuze gwe baakubye nga bamulumiriza okumenya ebbaala n'abba.

'Munsonyiwe okubba naye mu ...

KINYOZI bamukwatidde mu bubbi n'asaba bamusonyiwe kubanga  mu saluuni  temuli ssente zimumala kweyimirizaawo....

Abakungubazi nga bakungaanye okulaba agambibwa okumenya emmotoka n'abba eyakubiddwa mu kuziika Fr. Tamale .

Bakubye agambibwa okubba mu...

ABAKUNGUBAZI batebuse omubbi agambibwa okulabiriza Bafaaza nga bali mu Mmisa eyawerekedde munnaabwe Fr. Joseph...