TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abaana b''Omusumba Kiganda bavuddeyo ku kuwasa kwa kitaabwe

Abaana b''Omusumba Kiganda bavuddeyo ku kuwasa kwa kitaabwe

Added 26th February 2013

ABAANA b’omusumba David Kiganda bavuddeyo ne bawagira kitaabwe addemu awase oluvannyuma lw’okukwatira nnyabwe mu bwenzi.

Bya Moses Lemisa

ABAANA b'Omusumba David Kiganda bavuddeyo ne bawagira kitaabwe addemu awase oluvannyuma lw’okukwatira nnyabwe mu bwenzi.

Kiganda yakwatira eyali mukaziwe Hadija Nassejje mu bwenzi n’omusiisi wa chapati mu mwaka gwa 2006.

Abaana bano okuli Baker Kiganda, Philip Kisakye Kiganda,, Deborah Kiwummulo Kiganda ne Charles Kasule Kiganda bategeezezza Bukedde Online nti baatuula ne kitaabwe, oluvannyuma lw’ebyabaawo, ne boogera nebatuuka ku kukkaanya addemu awase.

Bannyonnyodde nti oluvannyuma lw’okwogera ne kitaabwe, baasisinkana nnyabwe naye ne boogera naye ne bakizuula nti kitaabwe yali takyasobola kuddingana na nnyabwe kwekugenda n’okusalawo kwa kitaabwe addemu awase omukazi omulala.

Abaana baategeezezza nti bukya kitaabwe afuna mukyala omulala omupya babadde bamusisinkana kyokka ku Mande ya wiiki ewedde , Omusumba Kiganda yategese mu butongole ekijjulo kweyasemberezza abaana n’abanjulira omukyala gwategeka okugattibwa naye.

Abaana baamuwadde ebirabo era mu kwogera kwabwe baamukakasizza nga bwe bajja okukolagana naye obulungi nga bamussaamu ekitiibwa okuva lwebamwanjuliddwa mu butongole.

Abamu ku baana ba Kiganda, ekif; Moses Lemisa.

Wabula abaana baategeezezza nti waliwo abantu omuli n’Abasumba abaagala okubatabula ne kitaabwe nga babapikapika bagaane kitaabwe okuwasa nebagamba nti kino tebayinza kukikola.

Ssabawandiisi w’ekibiina ky’abalokole ekya National Fellowship of Born Again Pentecostal Churches Omusumba Joshua Lwere yatuuzizza Basumba banne ab’omu Kampala abaasusse mu 20, nebakkiriziganya nti emitendera egy’etaagisa Kiganda okuddamu okuwasa yagituukiriza era tewali kimugaana kugenda mu maaso na mbaga.

Bakkaanyizza nti emitendera omukaaga Omusumba Alex Mitala gyeyayogerako, yali agiwaako magezi nga bwegirina okutambuzibwa nti kyokka bwe beetegerezza emitendera gino gyonna gyatuukirizibwa Omusumba Kiganda.

Emitendera gino omukaaga kwe kuli; okuwulira oludda lwa Hadijah Nassejje, okwebuuza ku baana ba Kiganda, okwebuuza ku mukazi Kiganda gwagenda okuwasa, Kiganda okuwandiikira olukiiko lwa Basumba, ensonga zino okutunulwamu olukiiko ttabamiruka olufuga ekibiina ky’abalokole ekya NFBAPC, olukiiko ttabamiruka okuweereza ensonga zino mu kakiiko k’abakadde b’ekkanisa.

Omu sumba Drake Kanaaba owa Redeemed Church e Makerere, yasembye Kiganda okuwasa n’agamba nti amateeka ageetaagisa gonna yagagoberera omuli n’okuwa eyali mukaziwe enju asobole okubeera obulungi.

Abaana b''Omusumba Kiganda bavuddeyo ku kuwasa kwa kitaabwe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Andrew Ssenyonga

Ssenyonga alangiridde nga b...

Ssenyonga alangiridde nga bw'avudde mu lwokaano ng'okulonda kubulako ssaawa busaawa kuggwe. Ssentebe wa disitulikiti...

Joe Biden ng'alayira nga pulezidenti wa Amerika owa 46.

Joe Biden alayiziddwa nga ...

WASHINGTON Amerika Munna DP, Joe Biden alayiziddwa nga pulezidenti wa Amerika owa 46,  n'asikira Donald Trump...

Omusumba eyawummula John Baptist Kaggwa

Kitalo! Omusumba w'Essaza l...

Kitalo! Omusumba w'Essaza ly'e Masaka eyawummula John Baptist Kaggwa afudde Corona. Omusumba Kaggwa abadde amaze...

Omusumba w'Abasodookisi any...

Mu bantu abatenda ssennyiga omukambwe mwe muli Omusumba w’Abasodookisi Silvestros Kisitu atwala kitundu ky’e Gulu...

Eddwaaliro lya Mukono ng’abalwadde balindiridde obujjanjabi.

Omujjuzo mu ddwaaliro e Muk...

Abalwadde n’abajjanjabi mu ddwaaliro e Mukono beeraliikirivu olw’omujjuzo oguyitiridde gwe bagamba nti gwandibaleetera...