
Bya Musasi waffe
LEERO ku Mmande March 4, Bannakenya lwe basuula akalulu akasalawo ku mukulembeze anaddira Mwai Kibaki mu bigere.
Abavuganya ku kalulu kano bali 8 ng’omukyala ali omu yekka kuliko: Peter Kenneth (EAGLE),
Uhuru Kenyatta (JUBILEE), Raila Odinga (CORD), Martha Karua (NARC KENYA), Wycliffe Musalia Mudavadi (AMANI), James ole Kiyiapi (RBK), Paul Muite (SAFINA) ne Mohamed Abduda Dida (ARK).
Raila Odinga ne Uhuru Kinyatta bebatunuuliddwa okubeera n’enkizo mu kuwangula akalulu
kano. Bannakenya abasoba mu bukadde 14 bebasuubirwa okusuula akalulu ng’oggyeko ekifo kya pulezidenti n’ebifo ebirala bagenda kubironderamu abakulembeze okuli: Gavana, omubaka mu lukiiko lwa seneta, omubaka wa palamenti, omubaka akiikirira essaza
n’omubaka omukyala.
EBY’OKWERINDA
GAVUMENTI eyungudde abaserikale ku mitendera egy’enjawulo abawerera ddala 99,000 okukuuma obutebenkevu mu kulonda kuno.
Abaserikale abaleeteddwa kuliko poliisi, abakuuma ebisolo by’omu nsiko, abakuuma ebibira, aba National Youth Service, abaamakomera bebagenda okulabirira ebifo 33,400 awagenda okulonderwa.
Omuwandiisi ow’enkalakkalira mu minisitule y’ensonga z’omunda mu ggwanga, Mutea Iringo ng’ali wamu n’omuduumizi wa poliisi, David Kimaiyo be baategeezezza abaamawulire nti tewali kusaaga wadde okuzannyira mu kalulu kano era abaserikale bonna bamaze okubategeeza eky’okukola.
Yagambye nti bataddewo ekitongole eky’enjawulo mu poliisi ekya special team of Criminal Investigation Departments (CID) okulondoola n’okunoonyereza ku misango gyonna egyekuusa ku kulonda.
Bino byonna nga bigenda mu maaso Bannakenya bangi bali ku bunkenke nga beeraliikirira
akavuyo akayinza okuva mu kulonda kuno bwe bageraageranya n’ebyo ebyaliwo mu kulonda okwaggwa.
Irungo yagambye nti bammemba b’akabiina ka Mombasa Republican Congress 22 ababadde batiisa okuleeta akavuyo mu kulonda babakutte ye Kimaiyo yagambye nti poliisi yaakakwata 85 abazzizza emisango egyekuusa ku kulonda.
PULEZIDENTI BARACK OBAMA AWEEREZZA OBUBAKA
Obama aweerezza Bannakenya obubaka nga beetegekera okulonda n’abakubiriza okukuuma eddembe.
Obubaka buno yabuyisizza ku mukutu gwa You Tube ku yintanenti akuutidde ab’e Kenya awaava kitaawe babeere bumu ng’eggwanga beewale okulowooleza mu mawanga
nga balonda.
“Guno omukisa gwa njawulo mu byafaayo bya Kenya okuyamba bannansi okubeera obumu
muyimirire wamu ng’eggwanga ku lw’emirembe n’enkulaakulana okufuna obukulembeze obutambulira ku mateeka,” Obama bwe yabakuutidde.
Yayongeddeko nti America yaakussa ekitiibwa mw’oyo yenna anaabeera awangudde akalulu okufuuka pulezidenti wa Kenya omuggya.
BANNAYUGANDA BAGENZE KENYA OKUTUNUULIRA OKULONDA
Abakulembeze b’enzikiriza abeegattira mu kibiina ekigatta enzikiriza ekya, Inter Religious Council Uganda nga bakulemberwa Dr. JB Kakembo ow’Abadiventi baabitaddemu
engatto nga 18 February ne boolekera Kenya okulondoola okulonda.
Kakembo yategeezezza nti baayitiddwa bannaabwe abeegattira mu kibiina kyekimu e Kenya
bagende babayambeko okusomesa emirembe n’okukubiriza obukkakkamu mu mitima gy’abantu Kenya esobole okubeera n’okulonda okwemirembe nga Uganda kwe yayitamu mu 2011.
Ekibiina kya The Citizens’ Coalition for Electoral Democracy in Uganda (CCEDU) baasitudde mu kibinja kya bantu 8 ne bagenda e Nairobi okutunuulira okulonda.
Okulonda kw’e Kenya kutandise wakati mu bunkenke