TOP

Uhuru Kenyatta alinda kulayizibwa

Added 9th March 2013

UHURU Kenyatta akubye Odinga n’enjawulo y’obululu 832,887 mu kulonda okwajjumbiddwa ennyo Bannakenya era alinze kulayizibwa ku ntebe y'obwa Pulezidenti e Kenya.

UHURU AWANGUDDE

UHURU Kenyatta akubye Odinga n’enjawulo y’obululu  832,887 mu kulonda okwajjumbiddwa ennyo Bannakenya era alinze kulayizibwa ku ntebe y'obwa Pulezidenti e Kenya.

Zibadde ennaku 5 ez’obunkenke okuviira ddala ku Mmande wiiki eno okutuusa ku nkomerero ya wiiki nga Bannakenya basiiba ku leediyo n’entimbe za ttivvi bagoberera eby’okubala obululu okumanya Pulezidenti agenda okuddako okubakulembera.

Uhuru Kenyatta yakulembererwa munne bwe babadde ku mbiranyi Raila Odinga kyokka ebintu byakyuseemu Odinga bwe yalinnye ku ntikko mu kiro ekyakeesezza Olwokutaano ne kiwa ku ssanyu ab’enkambi ye kyokka essanyu lino baalifunyeeko katono ebintu ne biddamu okukyuka, Uhuru n’addayo ku ntikko okutuusa ku nkomerero.

W'osomera bino nga Uhuru alina obululu  6,173,433 Odinga obululu 5,340,546 nga Uhuru amusinza obululu 832,887 ku obwo 12,221,503 obwakubiddwa. Minisita w’amateeka e Kenya Eugene Wamalwa yategeezezza Bannakenya nti mu kiseera kitono nnyo bajja kubeera nga bamaze okumanya pulezidenti agenda okubakulembera ekiseera ekiddako.

Wamalwa yakunze Bannakenya ku Mmande bonna babukeereze nkokola badde ku mirimu bakole ng’agamba nti ekiseera eky’eby’obufuzi n’okukuba kampeyini kuweddeko kati obulamu bulina okugenda mu maaso.

Kwabadde kutyabula mazina n’okukuba enduulu mu nkambi ya Uhuru Kenyatta oluvannyuma lw’amawulire agaalaze nti omuntu wabwe asemberedde okulangirirwa ku buwanguzi olw’ebyabadde biva mu bululu okulaga nti kyabadde kizibu nnyo Raila Odinga okumuyitako.

Amagye gaayiiriddwa mu bitundu by’e Kenya eby’enjawulo naddala ebyo ebisuubirwa okubeeramu obuvuyo okukakasa nti tewabeerawo atabangula mirembe era nga ab’esimbyewo bonna baabadde basabibwa buli kiseera okuwa obubaka obukubiriza abantu okukuuma emirembe.
 

Wabula Uhuru Kenyata ayolekedde omugugu omunene ogw’okutta abantu b’e Kenya olw’omuwendo gw’abantu omunene ogutamuwagidde. Omugugu guno okugwetikka alina kukolera bantu ng’ayita mu kubatusaako ebintu eby’obulamu obwabulijjo ng’enguudo, amazzi amayonjo n’ebirara.

KKOOTI enkulu e Kenya egobye okusaba kw’omukago gw’ebibiina by’obwannakyeewa ebibadde bitunuulira okulonda nga byagala ewe ekiragiro eky’embagirawo akakiiko k’eby’okulonda kakomye okulangirira ebikuvuddemu nti kubanga mujjuddemu okubba obululu kungi.

Abalamuzi ba kkooti enkulu basatu; Justices Isaac Lenaola, David Majanja ne Weldon Korir bassizza kimu nga nkuyege ne basalawo nti kkooti eno tebalina buyinza kuwulira kusaba kwa ngeri ng’eyo.

Okusaba kuno kwabadde kukoleddwa omukago gw’ebibiina by’obwannakyewa eby’omunda mu Kenya n’ebweru ogwa the Africa Centre for Open Governance (Africog)  abaakulembeddwaamu Muky.Gladwell Otieno  nga bawawaabira akakiiko k’ebyokulonda era nga bawawaabira ne ssentebe waako ng’omuntu Isaack Hassan.

Ebibiina bino ebiwerako era nga bibadde bitunuulizi mu kalala kano gye byegattiddwaako eby’ensi yonna n’ebyavudde mu muwanga ag’omuliraano omuli ne Uganda, bagamba nti akakiiko okuva ku nkola empya ey’okulangirira obululu nga kakozesa kompyuta ne kadda ku kubala okw’omukono kye kimu ku bireese vulugu mu kulangirra ebivudde mu kalulu.

Bagala kkooti eyimirize mbagirawo akakiiko k’eby’okulonda okugenda mu maaso n’okulangirira, ewulire omusango gw’okugamba nti okulonda kwabaddemu okubbira, era bwe wanabaawo obujulizi obw’enkukunala obukakasa kino, okulonda kwonna kusazibwemu kuddemu buto.

Abawagizi ba Uhuru baasuze bajaganya so nga abandi bakedde kweyiwa ku nguudo ez'omu bibuga eby'enjawulo e Kenya okuyisa ebivvulu olw'omuntu waabwe okuwuuta akalulu. 

Ekitongole ekikulira okulonda e Kenya ekya IEBC kisuubirwa okulangirira ebyavudde mu kalulu kano akabadde aka kaaasameeme ku ssaawa 5:00 ez'enkya ya leero.


 

Uhuru Kenyatta alinda kulayizibwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr.Tamale

Fr. Tamale waakuziikibwa Bu...

Fr.  Joseph Tamale 39 afudde oluvannyuma lw'okutawaanyizibwa ekirwadde kya Puleesa n'ensigo. W'afiiridde, abadde...

Omutaka Gabunga, Mubiru  (wakati) ne Benon  Kibuuka (ku ddyo) ng'abasabira omwoyo gwa Ssaabasumba e Lubaga.

Bannaddiini musse ekitiibwa...

OMUTAKA Gabunga,Mubiru Zziikwa owookubiri, asoomoozezza Bannaddiini ku kussa ekitiibwa mu buwangwa n'Ennono. ...

Betty Maina (ku kkono) , minisita Oryem ne Amelia Kyambadde oluvannyuma lw'okussa omukono ku ndagaano.

Gavt. ya Uganda ne Kenya zi...

GAVUMENTI ya Uganda ne Kenya zitadde omukono ku ndagaano egendereddwaamu okumalawo emiziziko egibaddewo wakati...

Lukyamuzi ne Kasibante.

Lukyamuzi ne Kasibante bavu...

ABALWANIRIZI b'eddembe ly'obuntu bawakanyizza emisolo emipya gavumenti gy'ereeta mu mbalirira y'ebyensimbi ey'omwaka...

Abasiraamu nga basimba ekipande ku poloti eyassibwa ku ttaka ly'Omuzikiti  e Kiyunga mu Mukono era ekifo baakyeddiza.

Abasiraamu beddizza ettaka ...

ABASIRAAMU b'omu disitulikiti y'e Mukono abali wansi wa Mukono Muslim District Council batandise okweddiza ettaka...