TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Balumirizza ow'e Kyaliwajjala okutunda ennyama y'embwa

Balumirizza ow'e Kyaliwajjala okutunda ennyama y'embwa

Added 9th March 2013

ABATUUZE b’e Kyaliwajjala –Kimbejja mu Kira Tawuni kanso bavudde mu mbeera ne beekubira enduulu ku poliisi nga baagala ebataase ku mutuuze munnaabwe abadde alunda embwa ezisoba mu 70 ze balumiriza nti si ngeme awamu n’okumwekengera nti yandiba ng’asalako ezimu n’azifuula ennyama.

Bya FAITH NAKANWAGI

ABATUUZE b’e Kyaliwajjala –Kimbejja mu Kira Tawuni kanso  bavudde mu mbeera ne beekubira enduulu ku poliisi nga baagala ebataase ku mutuuze munnaabwe abadde alunda embwa ezisoba mu 70 ze balumiriza nti si ngeme awamu n’okumwekengera nti yandiba ng’asalako ezimu n’azifuula ennyama.

Baakulembeddwaamu Ssentebe waabwe, Edward Musisi eyategeezezza nti baludde nga babuuza Christopher Nakabaale nnannyini mbwa ababuulire kyafuna mu mbwa naye nga tewali gwakkiriza kulinnya mu kikomera kye okutuusa lwe baaleese poliisi  n’ebiyingiramu kyokka baagenze okuyingira mu kikomera ng’ebwa ezaali zisoba mu 70 zisigadde 18 kye balumiriza nti yandiba nga azisala n’azigatta mu nnyama y’embizzi gyatundira e Nsambya.

Akulira poliisi mu Town Council y’e  Kira, Peter Nkulega yagambye nti  bakyakung’aanya bujulizi basobole okulaba omusango gwe bayinza okuggula ku Nakabaale.

 

 



 

Balumirizza ow’e Kyaliwajjala okutunda ennyama y’embwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebintu by'azze apanga okufu...

OMU ku baali abakubi b’endongo mu Revival Band yagambye nti, yagyegattako mu 2014 kyokka nga baalina ekizibu ky’okuba...

Pasita Yiga ng’abuulira enjiri.

Engeri Yiga gye yeeyubula o...

AUGUSTINE Yiga ‘Abizzaayo', yazaalibwa mu maka maavu, n'alaba embaawo nnya zokka, tebyamulobera kwetetenkanya kufuuka...

Mondo Mugisha ng’ayogera eri abaamawulire. Emabega be bakanyama abassiddwa ku kkanisa okukuuma. Tunuza kkamera y’essimu yo mu kalambe olabe vidiyo.

Pasita Ssenyonga mumuboole ...

Omusumba Mondo Mugisha y’omu ku bakungubazi abeetabye mu kukungubira Paasita Yiga Abizzaayo e Kawaala. Mu butaluma...

Kayanja ng'ali mu situdiyo ye.

Wuuno 'mutabani wa Nabbi Ka...

JOB Kayanja y’omu ku ba pulodyusa abeekoledde erinnya. Wadde abayimbi tebakyakola olw’omuggalo gwa ssennyiga omukambwe,...

Pasita Kayiwa mu lumbe.

Paasita Kayiwa ayogedde ens...

Omusamize yandabula nti nali waakufa mu nnaku musanvu, kyokka ekyewuunyisa ate ye yafa ku lunaku olw’omusanvu....