TOP

Eyali muk'Omuzungu eyattiddwa bamukutte

Added 12th March 2013

EYALI muk’omuzungu nnannyini bbaala eyakubiddwa amasasi e Ntebe n’afa poliisi emukutte ng’akuumirwa ku kitebe ekinoonyereza ku misango egyamaanyi ekimanyiddwa nga Special Investigations Unit e Kireka.

 

 

Bya Kigongo Ssebalamu                                

EYALI muk’omuzungu nnannyini  bbaala  eyakubiddwa amasasi e Ntebe n’afa poliisi emukutte ng’akuumirwa ku kitebe ekinoonyereza ku misango egy'amaanyi  ekimanyiddwa nga Special Investigations Unit e Kireka.

Omukazi ono okukwatibwa kiddiridde okusooka okubulawo ng’omugenzi amaze okuttibwa.

Ono awezezza abantu bana abaakakwatibwa  nga babiri bakuumi ba kkampuni ya Tight Security ate omulala y’abadde muganzi  wa Fina Indolo ng’ono gw’abadde abeera naye  ennaku zino.

Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano Ibin Ssenkumbi yategeezezza nti  balina empapula ze bazudde nti  Indolo yali mu lukwe lw’okutta Caggon.

Caggon yakubwa amasasi bwe yali azeeyo mu maka ge e Kiwafu abantu abatamanyiddwa ng’ayingira ggeeti. Caggon abadde alina enkaayana z’okugabana ebintu n’omukazi ono oluvannyuma lw’okwawukana era ng’ensonga zibadde zikyali mu kkooti.

Wabula mu mbeera eno, ne kubbaala ye eya Four Turkeys embeera ekyali ya kunakuwala nnyo ng’abantu abasinga  obungi tebagendayo.

 

Eyali muk’Omuzungu eyattiddwa bamukutte

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC ng'ayogera eri abantu.

Ab'e Bukomansimbi mwewale e...

Omubaka wa Pulezidenti mu disitulikiti y'e Bukomansimbi, Yahaya Kakooza alabudde abantu b'e Bukomansimbi obutetantala...

Isma yeetondedde Full Figur...

Isma abeera ku mikutu gya sosolo midiya ng'ayogerera banne amafuukule kyaddaaki yeetondedde Full Figure gwe yavuma...

Isma atabukidde Bajjo olw'o...

Isma atera okubeera ku mikutu gya sosolo midiya egy'enjawulo ng'avuma abantu n'okuboogerera ebikankana atabukidde...

Minisita ng'ayogera eri abasuubuzi.

Okulonda abakulembeze b'aka...

Okulonda kw'abakulembeze b'abasuubuzi mu katale k'e Wandegeya kuyiise abasuubuzi bwe bawakanyizza amateeka agabadde...

Abaana b’omugenzi Ssentamu mu kkooti e Mbarara.

'Pulezidenti tuyambe ku mug...

ABAANA b'omugenzi Ssentamu eyali abeera mu kibuga Mbarara nga bakulembeddwaamu omusika, Kyagulanyi Ssentamu balaajanidde...