TOP

Bamukutte n'omukazi e Juba ne bamulaawa

Added 14th March 2013

MUNNAYUGANDA akolera e Juba akiguddeko bwe bamuguddeko ekiyiifuyiifu ne bamulaawa nga bamulumiriza nti baamusanze asinda omukwano n’omukazi Omudinka nga muka musajja.Bya Deborah Nanfuka    

MUNNAYUGANDA akolera e Juba akiguddeko bwe bamuguddeko ekiyiifuyiifu ne bamulaawa nga bamulumiriza nti baamusanze asinda omukwano n’omukazi Omudinka nga muka musajja.

Ssaalongo Fredrick Kayondo nga mutuuze wa mu Ndeeba okumpi ne Kampala, musuubuzi e Juba. Mu Sudan gy’akolera yagenda ne mukazi we ayitibwa Night Nakiguli kyokka bwe yatuuka eyo n’akwanayo omukazi omulala Omudinka gw’abadde apepeya naye.

Kayondo annyonnyola nti yagenze ku mulimu nga bulijjo n’annyuka n’adda awaka. Wabula yabadde atuuka awaka, n’asanga abasajja abaamutaayizza mu kavuvung’ano kano n’abeesimattulako n’adduka. Baamugobye nga beeyambisa bodaboda okutuusa lwe baamukutte.

Baamukubye akabaawo ku mutwe n’agwa wansi n’azirika kwe kumuggyamu empale ne bamulaawa.

“Okunsala kwonna nakuwulidde era nawulidde nga bansikamu ensigo zombi kyokka nga nfa obulumi  nga tewali annyamba,” Kayondo eyasangiddwa ku kitanda e Mulago, gye yaleeteddwa okuva e Juba, bwe yattottodde.

Yagambye nti abasajja baamulaaye ku ssaawa nga musanvu ogw’ekiro kyokka teyafunye buyambi okutuusa obudde lwe bwakedde. Bannayuganda abaabadde bayita mu kifo kino ekiyitibwa Mawona mu kibuga Juba, be baamuyoddeyodde ne bamutwala mu ddwaaliro ly’e Juba gye bamuggye ne bamuleeta   e Mulago gy’ajjanjabirwa mu kiseera kino.

Kayondo agamba nti omukazi eyamulaayisizza yamufuna muwala muto era yamuggya mu bazadde be abaamumuwa mu butongole kyokka yeewuunyizza okuwulira nti omuwala abaddeko omusajja omulala eyatuuse n’okwekobaana ne banne ne bamuteega ne bamulaawa.

Wabula Kayondo yagambye nti wadde agudde ku kizibu kino, abadde alina abaana basatu mu mukyala we Nakiguli ate nga yawulidde nti n’omukazi Omudinka yali amufunyisizza olubuto nga naye yazadde.

Omusawo omukugu e Mulago Dr. Charles Kasozi yannyonnyodde nti Kayondo takyaddamu kuzaala era n’amaanyi g’ekisajja gaakendeeredde ddala.

Kayondo agamba nti mukazi we yamuleseeyo e Juba okutwala mu maaso bizinensi yaabwe kyokka n’asaba abazirakisa okumuyambako ku nsimbi z’eddwaaliro nga baziyisa ku ssimu  0785659407.

Bamukutte n’omukazi e Juba ne bamulaawa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...