TOP

Asengula abantu e Wakiso bamusibye

Added 19th March 2013

OMUGAGGA Laban Akampurira abatuuze gwe balumiriza okubasengula ku bibanja byabwe, akwatiddwa poliisi ku misango gy’okwonoona ebirime by’omu ku batuuze era n’asindikibwa ku limanda mu kkomera e Sentema. Akampurira yasoose kutwalibwa mu kibanja ky’omutuuze Ali Kiwendo e Kyasa mu Wakiso abatuuze we ba



Bya JOB NANTAKIIKA

OMUGAGGA Laban Akampurira abatuuze gwe balumiriza okubasengula ku bibanja byabwe, akwatiddwa poliisi ku misango gy’okwonoona ebirime by’omu ku batuuze era n’asindikibwa ku limanda mu kkomera e Sentema.

Akampurira yasoose kutwalibwa mu kibanja ky’omutuuze Ali Kiwendo e Kyasa mu Wakiso abatuuze we baasinzidde okumulumiriza okusindikanga abakozi be ab’oku ffaamu ye eriraanye ettaka eririko enkaayana ne basaawa ebitooke bya Kiwendo n’okwonoona ebirime by’abatuuze abalala.

Abatuuze abasukka mu 150 be baabaddewo era abamu ku bbo okuli Josephine Nalukwago, Edward Ssekandi, Gorrete Nabukenya, Stanley Kasajja Mutabaazi, Prossie Babirye, Maimuna Nassali ne Ssentebe w’ekyalo Benon Kasumba ne balumiriza Akampulira okubatwalako ebibanja byabwe nga tamaze kubaliyirira ate abalala abaalemerawo n’atandika okubasaayira ebirime n’okuyimbula ente ze ne zirya emmere gye babeera basimbye.

Akampurira yagambye nti ettaka lino yaligula mu 2004 era Kiwendo ne banne tabamanyi ng’abasenze abatuufu era ennimiro eziri ku ttaka lino zize (Akampurira) nti ne lwe baamulumiriza okusaawa ebitooke, yasindika bakozi be okusalira olusuku.  

Akampurira yakwatiddwa ku Ssande n’asuzibwa mu kaduukulu ka poliisi y’e Wakiso era abakungu ba poliisi abaakulembeddwa DPC Francis Manana nga bali wamu ne RDC wa Wakiso Dan Kaguta bwe baamuggye e Kyasa ne bamutwala e Wakiso ku kkooti n’asindikibwa mu kkomera e Sentema ku limanda.

Omulamuzi Nabafu owa kkooti y’e Wakiso ye yatadde omukono ku mpapula ezaasindise Akampurira ku limanda okutuusa nga March 22, omwaka guno.

Omusango ogwatwazizza Akampurira mu kkomera gwatwalwayo omutuuze Edward Ssekandi mu 2011 ng’amulumiriza okusanyaawo olusuku olwali luwezaako yiika 6, emmwaanyi, yiika 2 ez’ebikajjo n’ebirime ebirala era ne guyingizibwa mu fayiro ya poliisi e Wakiso ku nnamba CRB/14/71/2011.

Wiiki ewedde omutuuze omulala Ali Kiwendo naye yatutte omusango omulala ku poliisi y’e Namayumba ng’alumiriza abakozi ba Akampurira okusaawa olusuku lwe nga guli ku fayiro SD/09/011/03/13 era guno gukyanoonyerezebwako.

RDC Kaguta yagambye nti tagenda kugumiikiriza mugagga yenna ayonoona mmere ya bantu kubanga kigenda kuvaako enjala mu kitundu era n’alagira abaagobwa mu bibanja byabwe mu bukyamu nga n’ensonga zaabwe teziri mu kkooti baddeyo baddemu okubikolerako.

Yasuubizza abakyalina emisango mu kkooti nga baagobwa tebaliyiriddwa nti waakukolagana n’akakiiko ka Minisita omubeezi ow’ebyettaka, Aidah Nantaba okulaba bwe bayambibwa basobole okudda mu bibanja byabwe ng’emisango gigonjoddwa.

Yanenyezza poliisi olw’okulwawo okukwata Akampurira, sso ng’emisango mingi abatuuze gye babadde babaloopeera era ne bajja ne ku bibanja ne balaba ebibeera byonooneddwa, olumu ne basangira ddala n’abakozi ba Akampurira nga basaawa ebirime, kyokka ne batabakwata; era n’alagira DPC okukunulayo fayiro z’abatuuze zonna ez’emisango gye baaloopa Akampurira kyokka ne gitakolwako.

DPC yasabye abatuuze bonna abaatwala emisango ku poliisi okumuwa ennamba z’emisango egy’enjawulo gye baggulawo agirondoole.

Asengula abantu e Wakiso bamusibye

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.