TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omusuubuzi attiddwa abemmundu ne bamunyagako obukadde 20

Omusuubuzi attiddwa abemmundu ne bamunyagako obukadde 20

Added 26th March 2013

Ababbi ab’emmundu bazzeemu okutakuza poliisi emitwe bwe balumbye edduuka eddala e kamwokya ne bakuba omusuubuzi omuto amasasi agamuttiddewo, ne banyaga ensimbi ezikunukkiriza mu bukadde 20.

Bya Eria Luyimbazi ne Henry Kasomoko

Ababbi  ab’emmundu bazzeemu okutakuza poliisi emitwe bwe balumbye edduuka eddala e kamwokya ne bakuba omusuubuzi omuto amasasi agamuttiddewo, ne banyaga ensimbi ezikunukkiriza mu bukadde 20.

Ono ye musuubuzi owookubiri okukubibwa amasasi mu kampala mu wiiki emu ng’eyasoose amon mwebaze baamuttidde kisaasi ku dduuka lya mobile money ne banyaga obukadde bubiri ate omukozi we gloria keekimuli n’asimattuka n’ebisago by’amasasi agaamukubiddwa mu kugulu. 

Brave aineamani 22, baamusanze abala ssente mu dduuka erisuubuza eby’amaguzi e kamwokya mu kisenyi ii zooni ku ssaawa nga 5:00 ez’ekiro ekyakeesezza eggulo ng’ategeka kuggalawo annyuke.

Baamukubye amasasi abiri ng’erimu lyamukutte mu kifuba ate eddala ne limukuba mu kyenyi, n’agwa wansi n’akalirawo.

Eyalabye ababbi attottodde 

Omu ku batuuze hassan mutumba eyagambye nti yalabye ababbi yategeezezza poliisi nti abazigu baabadde babiri, omu n’ayingira munda mu dduuka ate ow’emmundu n’asigala ebweru.

Agattako nti: bombi baabadde bambadde ebikooti era nnasoose kulowooza nti bakasitooma wabula nnagenze okuwulira nga waliyo amaloboozi agakanda ow’edduuka ensimbi era ekyaddiridde kumukuba masasi.

Baasoose kumusaba nsimbi n’abawa ze yabadde abala ezaabadde ku mmeeza, wabula ne bamulagira n’ezaabadde mu kibookisi wansi aziggyeyo kyokka n’abategeeza nti teri ssente ndala.

Omu ku babbi kwe kusikayo ekibokisi omwabadde ensimbi ezikunukkiriza mu bukadde 20 n’azisonseka mu bijaketi ne batambula nga bagenda.

Wakati mu kusoberwa, brave yafulumye edduuka n’akuba enduulu nga bw’ayita abantu bataayize ababbi abamunyazeeko ensimbi zonna, era ababbi kwe kudda emabega ne bamukuba essasi n’afiirawo.

Brave (erinnya eritegeeza obuzira) yasangiddwa ng’amaze okufa era omulambo gwe nga guli mu kitaba ky’omusaayi.

Abadde asoma ddiguli y’obubalirizi (bachelor of statistics) mu yunivaasite e makerere era nga bw’ava ku ssomero atuukira mu dduuka eryatandikibwa hamu muhwerane mw’abadde akola.

Muhwerane yagambye nti babadde n’enkola ng’okuwunzika olunaku bamala kubala ssente zonna ze bakoze nga kuno kuliko ez’ebbaala eriranyeewo n’ez’edduuka eddala nga zonna babadde bazikung’aanyiza wano era nga we baziggya okuzitwala mu bbanka.

Ssentebe w’abasuubuzi abakolera mu kitundu kino peter bagyenzi yagambye nti naye ababbi abaabadde n’emmundu baamulumbye wiiki ewedde ne bamubba obukadde bw’ensimbi era ateebereza nti beebamu be baalumbye brave ne bamutta.

Kayihura alagidde aba poliisi ennawunyi 8 bakwatibwe

Ettemu lino lisitudde omuduumizi wa poliisi mu ggwanga lt. Gen. Kale kayihura n’agenda e kamwokya n’asaasira abooluganda lwa brave n’agamba nti ababbi bano baakozesezza omukisa gw’abapoliisi ennawunyi okulagajjalira omulimu gwabwe, olwo abatemu ne batigomya ebitundu.

Yabuuzizza dpc wa kira road, robert walugembe, abaserikale be ab’emmotoka ennawunyi gye baabadde, ababbi batuuke okunyaga n’okukuba omusuubuzi amasasi ne bagenda nga tewali abakubye ku mukono!

Yalagidde abaserikale bonna abaabadde balina okulawuna ekitundu kino okukwatibwa bavunaanibwe omusango gw’okulagajjalira omulimu gwabwe nga ku bano kuliko c/asp daniel mugume, david aabeikis, geoffrey kandole, patrick okanga, izama, myanse, mmuhangula ne mokis okello.

Yagambye nti ekitundu kya kampala n’emiriraano yakiwa abaserikale omutwalo mulamba (10,000) okusobola okukendeeza ku buzzi bw’emisango, kyokka abasinga baagala kulabika misana, bwe butuuka ekiro ne beebulankanya, ekiwa ababbi omwagaanya okunyaga n’okutta abantu baabulijjo.

Abooluganda lwa brave yabawadde 1,000,000/-  okuyambako mu by’okuziika okugenda okubeera e sheema. 

Omuduumizi wa poliisi mu kampala n’emiriraano andrew felix kaweesi eyasoose okutuuka mu kitundu yagambye nti bateebereza nti ababbi abaalumbye kamwokya beebamu abalumbye n’e kisaasi nga bakozesa emmundu yeemu wabula nga poliisi egezaako okubeetooloola ebakwate n’emmundu yaabwe gye bakozesa

Omusuubuzi attiddwa abemmundu ne bamunyagako obukadde 20

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...