TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mulwanyise siriimu, akyali wa maanyi - Janet Museveni

Mulwanyise siriimu, akyali wa maanyi - Janet Museveni

Added 27th March 2013

MUKY. Janet Museveni agambye nti mwennyamivu okulaba nga Uganda eyali ensaale mu kulwanyisa siriimu ate kati gy’asinga okwejiriisiza.



Bya Ali  Wasswa

MUKY. Janet Museveni agambye nti mwennyamivu okulaba nga Uganda eyali ensaale mu kulwanyisa siriimu ate kati gy’asinga okwejiriisiza.

Yategeezezza nti Uganda kati eri mu kunoonya ddagala liweweeza ku bulwadde buno kyokka ng’amawanga agaatukoppa mu kiseera we bwalwanyisibwa ennyo wano kati bali ku kaweefube okulaba nga tebwegazaanyizaayo. 

Bino yabyogeredde  mu kibangirizi ky’eddwaaliro ly’e Itojo mu Disitulikiti y’e  Ntungamo wiiki ewedde bwe yabadde omugenyi omukulu ku mukolo  Minisitule y’ebyobulamu kwe yatongolezza enkola empya okulwanyisa obulwadde buno mu baana abato n’okusitula buto olutalo lw’okubulwanyisa.

“Siriimu yandibadde takwata baana bato, twandibadde tulwana okulaba okubataasa nga tebannazaalibwa. Tugenda kukolagana n’amawanga amagabi g’obuyambi tuddemu okuggula olutalo ku bulwadde buno,” Muky. Museveni bwe yagambye. 

N’agattako nti ebitongole ebirwanyisa siriimu byefunyiridde ku kusimba ddagala limuweweeza mu kifo ky’okulaba ng’ettamiiro mu byalo  likomezebwa n’okulaga abantu nti siriimu akyali wa maanyi era akyatta.

Yategeezezza nti abantu emitwalo 14 okukwatibwa siriimu ate ng’abaana bangi bakyazaalibwa n’obulwadde buno, kitiisa. 

Minisita  omubeezi mu minisitule  y’ebyobulamu  akola ku malwaliro  ga wansi, Sarah Opend Acheing yategeezezza nti Gavumenti ya Amerika n’eya Uganda kati zeefunyiridde okulwanyisa obulwadde buno obutakwata baana bali mu mbuto.

 

 

‘Mulwanyise siriimu, akyali wa maanyi’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Akatale k'e Tororo akawemmense obukadde 28.

Olwaleero Pulezidenti Musev...

Olwaleero Pulezidenti Museveni agguddewo akatale e Tororo akatuumidwa Tororo Central Market . Akatale kano kazimbidwa...

Abantu nga basanyukira Pulezidenti Museveni e Tororo olwaleero.

Pulezidenti Museveni bamwan...

Abawagizi ba NRM e Tororo balaze pulezidenti Museveni omukwano ,abamu balabiddwaako nga bonna beesize langi ya...

Agamu ku maka agatikkuddwaako obusolya.

Enkuba egoyezza amaka agaso...

Abatuuze b' e Kasubi mu munisipaali y'e Lubaga mu  maka agasoba mu 50 basigadde bafumbya miyagi oluvannyuma lwa...

Mugoya ng'ayozaayoza Dr. Ssengendo.

Dr. Ssengendo alayiziddwa k...

Dr. Ahmed Ssengendo  akulira yunivaasite y'e Mbale  alayiziddwa ku bumyuka bwa Ssaabawandiisi w'ekibiina  ekitwala...

Sheikh Muzaata

Sheikh Muzaata talina Coron...

ABASAWO boogedde ku mbeera ya Sheikh Nuhu Muzaata. Akyajjanjabirwa mu kisenge ky'abayi olwa ssukkaali ayongedde...