TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Museveni alagidde aba UPDF abayigga Kony okusigalayo

Museveni alagidde aba UPDF abayigga Kony okusigalayo

Added 27th March 2013

PULEZIDENTI Yoweri Museveni alagidde amagye ga Uganda agali mu Central African Republic okusigalayo kyokka nga gateze nga nsanafu okwetaasa singa gaba galumbiddwa.



Bya AHMED KATEREGGA

PULEZIDENTI Yoweri Museveni alagidde amagye ga Uganda agali mu Central African Republic okusigalayo kyokka nga gateze nga nsanafu okwetaasa singa gaba galumbiddwa.

Omwogezi w'amagye, Lt. Col. Paddy Ankunda yategeezezza eggulo nti, "Okusooka abayeekera baabadde batiisizza okugobayo amagye amagwira gonna. Naye tulina ebiragiro okuva ow'omuduumizi w'amagye (ga Uganda) ow'oku ntikko nga bitulagira tugende mu maaso n'ebikwekweto byaffe naye nga tuteze nga nsanafu nti singa tulumbibwa, twerwaneko." 

Uganda erinayo abajaasi nga 3,000 ku 5,000 ab'omukago gwa Afrika ng'abalala ba South Sudan, DR Congo ne bakkomando Abamerika 100 abayamba mu by'okuketta. Bayigga kyewaggula Joseph Kony ne banne abaliko 'bakuntumye' okuva mu kkooti y'ensi yonna ewozesa ab'ebikolobero.

Amagye amagwira amalala agaasindikibwayo okutaasa gavumenti gye baggyeeko naye nga tegali ku gwa kuyigga Kony, ga Chad ne South Africa era nga gabadde mu kibuga ekikulu Bangui. Aga Chad gakyaliyo era Pulezidenti waayo Idris Deby y'asinze okussa akazito ku bayeekera bagabane obuyinza n'ebibiina byobufuzi awamu n'ebirala ebirwanyi.

Uganda egaanyi okutongoza gavt. y'abayeekera

Mu kiseera kye kimu, gavumenti ya Uganda  egaanyi okutongoza gavumenti eneekolebwa abayeekera b'omu Central African Republic (CAR) okutuusa nga bazzizzaako gavumenti ya Gen. Francois Bonzize, eyalondebwa abantu.

Minisita omubeezi ow'ensonga ez'ebweru ow'enkolagana n'ama-wanga ag'omuliraano, Hajji Asumani Kiyingi, yagambye nti, "Uganda ekkiriziganya n'omukago gwa Afrika ogwayimirizza CAR ku bwammemba." 

Ssaabawandiisi wa UN, Ban ki Moon naye yavumiridde okuwamba kuno sso nga Bufalansa, Amerika ne Chad zaagala abayeekera bakuume endagaano y'emirembe gye baakola mu Congo Brazzaville.

 

Museveni alagidde aba UPDF abayigga Kony okusigalayo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omutume John Bungo ne Bp. Joel Kakembo nga boogerezeganya mu lukung'aana lw'okusaba

Musabire eggwanga nga twete...

Abasumba okuva mu bitundu by'eggwanga ebyenjawulo babanguddwa ku ngeri gye basobola okulung'amyamu ekisibo kya...

Kabangali etomeddwa bbaasi yonna esaanyeewo mu kabanje akasse abantu abana e Mbarara.

Akabenje katuze 4 e Mbarara...

Abantu bana be bakakasiddwa okufiira mu kabenje akawungeezi kw'olwaleero ku kabuga k'e Rugando mu luguudo lwa Mbarara-Ntungamo...

Nakitto maama wa Amos Ssegawa (mu katono) eyattibwa.

Gavumenti etuliyirire obuwu...

BAZADDE b'abaana abattibwa bagamba nti ekya Museveni okubaliyirira si kibi bakirindiridde naye alina okukimaanya...

Ssendagire omu ku baakubwa amasasi n'afa.

Famire z'abattiddwa mu kwek...

PULEZIDENTI Museveni yayogedde eri eggwanga ku kwekalakaasa okwaliwo nga November 18 ne 19 nga kwaddirira okukwata...

Pulezidenti Museveni ng'alamusa ku bantu be.

Pulezidenti akunze aba NRM ...

Pulezidenti Museveni ayingide mu bitundu by'e Busoga olwaleero mu kukuba kampeyini ze ezobwapulezidenti . Mu...