TOP

Bba gwe yatemyeko omukono avunze

Added 31st March 2013

OMUKAZI Joan Nakayiwa bba gwe yatemyeko omukono embeera ye ekyeraliikiriza, omukono bwe gutandise okuvunda.

 

 

 

Bya Sofia Nalule


OMUKAZI Joan Nakayiwa bba gwe yatemyeko omukono embeera ye ekyeraliikiriza, omukono bwe gutandise okuvunda.

Nakayiwa omutuuze w’e Namungoona nga yatemeddwa bba, Moses Mbabazi, yasangiddwa mu waadi 3A e Mulago agamba:

‘Mmaze mu bufumbo ne baze emyaka 8. Tubadde twakapangisa mu bitundu ebisoba mu kkumi olw’ebbuba lya baze erisusse.

Essanyu mbadde ndifunako ng’agenze safaali kubanga bw’abaawo tayagala nnyumye na muntu yenna. Nnina omwana omu gwe najja naye mu bufumbo nga wa musajja gwe nasookerako.

Buli lwe tubadde tutabukamu nga baze annangira butamuzaalira. Ssezaala wange ye Isingoma enzaalwa y’e Masindi ate nnyazaala nzaalwa y’e Tororo.

Mbadde situukangako waabwe wadde okumanya abeewaabwe naye nga buli lwe nkimusaba ankuutira okugumiikiriza.


Ku Lwokutaano ku makya, baze yankubidde essimu n’antegeeza nti agenda kumpeereza akadomola k'amata nfumbire muwala wange Namatovu, 7 ngabireko ne baliraanwa.

Nga wayise eddakiika kkumi, yazzeemu n’ankubira n’ambuuza nti, ‘Mami, okola ki? ne mmuddamu nti ndi ku mulimu nkola, essimu n’agiggyako.

Oluvannyuma lw’essaawa emu, yankubidde n’ambuuza we ndi ne mmuddamu nti ‘tompulira nga ndi ku mulimu?’


Ku ssaawa 1.00 ey’akawungeezi yazzeemu n’ankubira n’ambuuza nti, ‘Otuuse awaka? Njagala kwogerako ne Namatovu mmubuuze obulwadde.’

Namuzzeemu nti ndi mu kkubo nzirayo era nnaatera okutuuka. Bwe natuuse awaka, namukubidde ne mmuwa omwana n’ayogera naye.

Emisana nabadde ndabye baze ng’asalinkiriza okumpi ne ku mulimu gye nkolera mu katale ka St. Balikuddembe.


Yakomyewo ku ssaawa 3.00 ez’ekiro era yansanze mmulindiridde mu mukwano omungi olw’engeri gye yabadde ankubidde amasimu emisana agalaga nti anfaako.

Bwe yatuuse, ne mmugwa mu kifuba ne mmubuuzaako era ne mmutegeeza nga bwe namulabyeko emisana mu ngoye zennyini ze yabadde ayambadde. Yanzizeemu mu bukambwe nga bwe saalabye ye.
Oluvannyuma yantegeezezza nti, ‘Bajjajja bange bantegeezezza nti olina abasajja abalala, leero kankuteme ommalidde ssente zange nnyingi nnyo, olya buli byange kaki k’onkoledde?

Olwamaze ebigambo ebyo, n’asikayo ekiso mu mugongo n’ansanjaga nga bw’annangira okumuliira emmere ey'obwereere.”


Nakayiwa agamba nti abadde talina balamu be b’amanyi okuggyako maama wa Mbabazi gwe yalabako omulundi ogumu.


Mbabazi ng’amalirizza okutemaatema Nakayiwa, yadduse kyokka abatuuze bagamba nti baamulabyeko ku kyalo ng’akomawo n’ekiso mu ssaati wabula bwe yalabye abamuwondera n’adduka n’essimu n’agiggyako.

Omusango gw’okugezaako okutta omuntu oguli ku poliisi y’e Namungoona ku fayiro nnamba SD Ref 29/14/03/2013.

Sharon Nabbosa Muliraanwa,
Nakayiwa ne bba babadde baakamala wiiki bbiri zokka ku kitundu. Buli ku makya omwami abadde akeera n’ayambako mukyala we emirimu gy’awaka olwo ne bagenda okukola. Mbadde siwulirangayo kanyoolagano konna era nze mbadde mmanyi Namatovu muwala waabwe bombi.

(Alina obuyambi, nsaba anziruukirire ku ssimu nnamba 0756972005 oba abunsanze e Mulago mu waadi 3A.)

Ssentebe w’ekitundu ky’agamba
Mu April w’omwaka oguwedde nasisinkana Mbabazi ne mmusaba yeewandiise kubanga yali mutuuze mupya mu kitundu era n’akikola.

Yantegeeza nti avudde Nateete n’asenga ku nnyumba ya Paul Mukalazi mu kifo ekiriraanye we nsula.

Tewayiseewo na mwaka ng’enda okuwulira nti yavuddewo n’asenga awalala gye nabadde nkyanoonyereza.

Omwezi tegwaweze ne nfuna amawulire g’okutemako mukyalawe omukono n’amutuusaako n’ebisago.

‘Mbabazi yankubira ng’atema Nakayiwa’

Juliet Babirye (Muganda we)
Mbabazi mulamu wange naye mbadde ndwawo okumulaba kubanga akola safaali.Kyokka muganda wange abadde ang’amba nga Mbabazi bw’amwagaza okumuzaalira omwana naye abadde akyabuze.

Okuddamu okuwuliza Mbabazi, yankubidde ssimu ku ssaawa 6.00 mu ttumbi n’ambuuza nti, ‘Wategeddeko nti muganda wo mulwadde?

Namubuuzizza ekimuluma n’anziramu nti ababeera ne Nakayiwa bamukubidde ne bamugamba nti ali bubi nnyo.

Mu ddakiika 15 nabadde mmaze okutegeezebwa nga Mbabazi bw’atemyetemye Joan n’adduka. Namukubidde essimu ne mmutegeeza nga bwe ntegedde ky’akoze, essimu n’agiggyako.

Enkeera Mbabazi yankubidde amasimu ag’okumukumu ng’atulabula nga naffe abooluganda bw’agenda okututuusaako obulabe.

Nakayiwa nali mmugaanyi okudda mu bufumbo – nnyina

Immaculate Karugaba (Nnyina wa Nakayiwa) agamba:
Nakayiwa yantuukirira n’antegeeza nga bwe yali afunyeyo munne. Namukkiriza era ne mmusaba amundeetere awaka mmulabe ne bakituukiriza ne bansuubiza okwanjula mu bbanga eritali ly’ewala era kwe mbadde nninda.

Nga bamaze emyaka ebiri, nayita Mbabazi ne mmutwala ne bamanyigana ne kitaawe wa Nakayiwa n’amusaba okukola endagaano y’okutwala muwala we n’agikola.


Oluvannyuma lw’omwaka, Nakayiwa yankubira essimu n’antegeeza nti embeera yali etabuse ne mmugamba asooke akomewo awaka.

Bwe yatuuka yantegeeza ng’omusajja bwe yali amukubye n’amuggyako engoye ze zonna n’azikweka.

Nga wayise emyezi ebiri, nayita Mbabazi ne mmubuuza oba yali akyetaaga muwala wange n’akkiriza nti yali akyamwagala.


N'omwaka tegwawera, ngenda okuwulira nti Nakayiwa ali ku poliisi avunaanibwa gwa bubbi olwa bba okumuwawaabira nti yali amubbyeeko sente ze.

Omusajja olwamanya nti ntegedde, n’aggya Nakayiwa mu kkomera. Bwe yava mu kkomera, yatuukira wange ne mmugaana okudda ew’omusajja kyokka waayita wiiki bbiri n’amunona awaka nga mwetoowaze n’amuzzaayo.

 


Bba gwe yatemyeko omukono avunze

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....