TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abakyala abafiira mu kuzaala baliyirirwe; Kadaga

Abakyala abafiira mu kuzaala baliyirirwe; Kadaga

Added 4th April 2013

SIPIIKA Rebecca Kadaga asabye ababaka ba palamenti abakazi okwanguya okuleeta etteeka erinaasobozesa gavumenti okutandika okuliyirira ‘famile’ z’abakazi abafa nga bazaala

 

 

 

Bya Muwanga Kakooza

SIPIIKA Rebecca Kadaga asabye ababaka ba palamenti abakazi okwanguya okuleeta etteeka erinaasobozesa gavumenti okutandika okuliyirira ‘famile’ z’abakazi abafa nga bazaala wamu n’okubonereza abasawo ababalaggajjalira.


Yabadde ku mukolo gw’okutongoza kawefube w’ekibiina ekigatta ababaka ne baminisita abakazi ekya NAWMP ow’okulaba ng’omuwendo gw’abakazi abafa nga bazaala wamu n’abaana abafa nga bakazaalibwa nga gukendeera ogwabadde mu palamenti.

Kadaga yagambye nti ebbago ly’etteeka lino wamu n’erisaawo yinsuwa y’ebyobulamu agalindiridde n’amaddu mangi era bwe ganaleetebwa ajja kufuba okulaba nga gayisibwa mu bwanga.

Okusinziira ku ssentebe w’ekibiina kya NAWMP Sylivia Namabidde , ebbago ly’etteeka erikwata ku by’okuzaala ligenda kussibwamu akawayiro akalagira ab’obuyinza okulondoola ensonga z’omukazi afa ng’azaala ekimusse kizuulibwe.

‘’Bwe kinaazuulibwanga nti okufa kw’omukazi oyo kuvudde ku bulagajjavu bwa musawo ajja kukangavvulwanga ne gavumenti eriyirire ab’enganda z’omugenzi’’ Namabidde bwe yagambye.

Emirundi egimu abakazi bafa nga bazaala olw’abasawo okubalagajjalira nga babakanda ensimbi olumu bo ze baba nga tebalina.

 

Abakyala abafiira mu kuzaala baliyirirwe; Kadaga

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Anite ku ddyo ng'atwalibwa mu mmotoka ya poliisi eyamututte e Mukono

Eyatemudde mukwano ggwe n'a...

POLIISI eyogezza omukazi eyasse mukwano gwe n’amubbako omwana e Mukono n’amutwalira muganziwe mu bizinga by’e Kalangala....

Balooya ba Kyagulanyi, George Musisi (ku kkono) ne Fredrick Robert, muganda wa Kyagulanyi, Fred Sentamu Nyanzi (wakati), omuwandiisi wa NUP, Gen. David Lewis Rubongoya, n;omwogezi wa NUP, Jowel Senyonyi (ku ddyo).

Poliisi by'esazeewo ku kuva...

POLIISI ekkirizza okuva mu maka ga Kyagulanyi wabula n'etegeeza nti yaakusigala ng'emutambulizaako amaaso. Omwogezi...

Pulezidenti Museveni lwe yatongoza ekkolero lya METUZHONG erikola bbaasi e Namanve nga March 9, 2019.

Gavumenti by'egenda okukola...

OKUTANDIKA okukolera wano ebintu ebibadde bisuubulwa ebweru w’eggwanga n’okwongera ku bungi bw’ebintu ebitundibwa...

Fred Enanga.

Poliisi eyigga omuwala eyag...

POLIISI etandise okunoonya omuwala, Unique Kobusigye gw’erumiriza okusaasaanya amawulire ku kyasse Omusumba w’e...

Isreal

Boogedde bye balabye mu mya...

Micheal Orahi Osinde, omwogezi w’omukago ogutaba ebibiina byobufuzi byonna mu ggwanga ogwassibwawo mu 2010 agamba...