TOP

Abatigomya Kampala 364 babayodde

Added 6th April 2013

ABANTU 364 abagambibwa okuteega abatuuze b’e Kamwokya, Kyebando n’emiriraano ne babakuba obutayimbwa n’amasasi poliisi ya Kira Road ebazingizza n’ebayoola.



Bya Joseph Mutebi

ABANTU 364 abagambibwa okuteega abatuuze b’e Kamwokya, Kyebando  n’emiriraano ne babakuba obutayimbwa n’amasasi  poliisi ya Kira Road ebazingizza n’ebayoola.

Alex Edunyu aduumira poliisi ya Kira Road, ye yakulembeddemu  ekikwekweto kino  ekyabaddewo ku Lwokuna okuva ssaawa 2:00 okutuuka 5:00. 
 
Kyaddiridde okufuna amawulire nti abantu abakuba obutayimbwa ekiro, okufumita ebiso, okusobya ku bakyala n’okunywa enjaga bakeera kukung’aanira mu bifo mwe bakubira amatatu ne ppuulu.
 
Edunyu yayambiddwaako akulira poliisi y’e Kisaasi, Mohammed Kirumira ne bazingako ebyalo okuli Kyebando, Kamwokya, Central zooni, Mulimira, Nsoba, Katale, Kibinika ne bayoola abantu bano.
 
Poliisi yabadde n’emmotoka ezaasusse mu ttaano yayambiddwako abakulembeze b’ebyalo bino obwedda ababalaga  abantu abatalina mutawana n’abayaaye.
 
Edunyu yategeezezza nti bakyagenda mu maaso n’okwekenneenya abaakwatiddwa  baggyemu abatalina misango abalala batwalibwe mu kkooti y’e Matugga bavunaanibwe.
 
Yagambye nti  ababbi tebagenda kuddayo kutta muntu  mulala  mu kitundu kino nga yaduumira poliisi eno era ebikwekweto bigenda kukolebwanga misana na kiro.

 

Abatigomya Kampala 364 babayodde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr. Kato nga bamwaniriza mu kigo ky’e Kamwokya.

"Musabire abakulembeze bamm...

KAABADDE kaseera ka ssanyu ate n’okunyolwa ku kigo ky’e Kamwokya, Abakristu bwe baabadde baaniriza Bwannamukulu...

Abakungubazi nga batunuulira ekifaanayi ky’omwana eyattiddwa.

Bawambye omwana ne bamutta

ABATEMU bawambye omwana ow’emyaka mukaaga ne bamutta mu bukambwe, omulambo ne bagwambulamu engoye. Rosemary Ngambeki...

Joseph Ssewungu (ku kkono) ne Latif Ssebaggala nga baliko bye babuuza minisita Jeje Odong (ku ddyo) ku lukalala lw’amannya g’abantu abatalabikako lwe yasomye mu Palamenti.

Ensonga z'ababaka 10 ezitan...

ABABAKA bawadde ensonga 10 lwaki tebamatidde lukalala olwayanjuddwa minisita w’ensonga z’omunda olulaga abantu...

Abaserikale nga batwala omulambo gw'omuwala.

Bagudde ku mulambo gw'omuwa...

ABATUUZE ku Kyalo Kakerenge mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso baguddemu ekyekango bwe bagudde...

Abatuuze nga baziika Ssali.

Amasasi ganyoose nga poliis...

Amasasi ganyoose nga poliisi y’e Wakiso egumbulula abatuuze abaaziikudde omulambo nga bagamba nti famire teyinza...