
NAIROBI
MUSAAYIMUTO Uhuru Muigai Kenyatta yalayizibwa nga Pulezidenti wa Kenya owookuna wakati mu mizira, okujaganya, n'essanyu ku mukolo ogw'ekitiibwa ogwetabiddwamu abakulembeze 17 ab'amawanga ga Afrika.
Zaabadde ssaawa 6:57 ez'omu ttuntu Uhuru, n'akuba ekirayiro ekisooka ng'awanise mu mukono ogwa ddyo Bayibuli ey'eddiba erimyufu eyali eya kitaawe Jomo Kenyatta, Pulezidenti wa Kenya eyasooka ate ng'omukono ogwa kkono aguwummuza ku Bayibuli endala eyabade asituddwa mukyala we Margaret.
"Ndayira nti nja kubeera wa mazima era nja kubeera muwulirize eri Kenya, nja kukuuma ekitiibwa, n'ensalo za Kenya wamu n'ekitiibwa kya Bannakenya nga Katonda ye mubeezi wange, ” Kenyatta eyawangudde Raila Odinga mu kulonda kwa March 4, 2013 bwe yalayidde wakati mu kukubirwa emizira.
Abategesi baategeezezza nti abantu 60,000 be bajjuza ekisaawe, enkuyanja y'abantu abajjuza ekisaawe kya Moi International Sports Centre, Kasarani mu kibuga Nairobi, abalala abasukka mu 50,00 basigadde ebweru w'ekisaawe, emikolo ne bagigoberera ku ntimbe za Ttivvi.
Enduulu yasaanikidde ekisaawe kyonna ebbanga kyonna, Uhuru lye yamaze ng'akuba ebirayiro eby'emirundi ebiri bakira ebisomebwa omuwandiisi omukulu owa kkooti, Gladys Shollei nga Uhuru bw'addamu.
Uhuru eyabadde anamye mu ssuuti enzirugavu ng'ataddeko ettaayi emyufu yabugaanye essanyu ng'assa omukono ku biwandiiko ebimutongoza nga Pulezidenti wa Kenya azze mu bigere bya Musajjamukulu Emilio Mwai Kibaki 81.
Ng'amaze okussa omukono ku biwandiiko, Kibaki eyabadde ayigaayigana olw'obukadde, yakwasizza Uhuru ekitala eky'obuduumizi w'amagye ow'oku ntikko ne Konsitityusoni ya Kenya ey'eddiba erimyufu olwo enduulu n'esaanikira ekisaawe.
Bapulezidenti 12 ne ne Bakatikkiro 5 omwabadde Yoweri Museveni, Paul kagame owa Rwanda, Jonathan Goodluck owa Nigeria, Joseph Kabila owa DR Congo, Jacob Zuma owa South Afrika, Jakaya Kikwete owa Tanzania, Hailemariam Desalegn owa Ethiopia, Salva Kiir owa South Sudan, Hassan Sheikh Mohamud owa Somalia n'abalala.
Abaaliko ba Pulezidenti; Daniel arap Moi ne Keneth Kaunda eyali owa Zambia nabo tebaalutumiddwa mwana. Munnabyafuzi mu Amerika Rev Jesse Jackson yakiikiridde Amerika.
Omukolo gwatandise ku ssaawa 4:00 ez'oku makya abagenyi abayite bwe baatandise okutuuka era zaagenze okuwera ssaawa mukaaga nga bonna omwabadde ne ba Pulezidenti bamaze okukkalira.
Kibaki eyabadde akyali Pulezidenti mu kiseera ekyo yatuuse ku ssaawa mukaaga n'ekitundu n'atuukira mu kulambula ennyiriri n'oluvannyuma n'akkalira mu kifo omukolo gw'okulayiza ne gutandika.
Nga Kenyatta n'omumyuka we, William Ruto, bamaze okulayizibwa, ne Kibaki amaze okuwaayo obuyinza, Pulezidenti Museveni yayogedde ku lw'abakulembeze abalala.
Yeebazizza Bannakenya olw'okulonda Uhuru naddala mu kiseera nga Abazungu bamwesimbyemu baagala okweyambisa kkooti y'ensi yonna okutuukiriza ebigenderwa byabwe.
“ Bannakenya mwebale okulaga obuvumu ne mulonda omukulembeze wammwe gwe mwesiimidde,” Museveni bwe yategeezezza abantu ne bamukubira emizira.
Uhuru ne Ruto bakyawerennemba n'emisango egy'okwenyigira mu bikolwa eby'effujo emwafiira abantu 1,100 mu 2007 Kibaki lwe yalondebwa mu ngeri eyali tematiza nga kigambibwa nti obululu bwa Odinga bwabbibwa.
Yagambye nti mwetegefu okukolagana n'amawanga amalala ku nsonga zonna ez'amateeka ag'ensi yonna wabula n'agamba nti ensi ez'ebweru ziteekwa okussa ekitiibwa ku Kenya ng'ensi eyeetongodde.
Uhuru yajjukide kitaawe n'abakulembeze ba Kenya abaalwanirira obwetwaze n'agamba nti agenda kukulembera kyenkanyi Bannakenya abaamuwadde akalulu n'abataawadde.
Yasuubizza okussaawo enkola ez'okutumbula ebyenfuna, okulwanyisa ebbula ly'emirimu, okusitula ebyenjigiriza, embeera z'abakyala naddala abakazi okuzaalira ku bwereere, abavubuka n'okukola ku nguudo, amasannyalaze n'ebirala.
Uhuru Kenyatta alayiziddwa ku bwa Pulezidenti bwa Kenya