TOP

Obujulizi obupya ku Chameleone buzuuse

Added 10th April 2013

POLIISI ezzeemu okunoonyereza ku musango gwaggulwa ku muyimbi Jose Chameleone ku by’omuvubuka Robert Kalamagi eyafiira mu ddwaaliro e Mulago oluvannyuma lw’okwokerwa mu maka ga Chameleon e Sseguku.

 

 

 

Bya BENJAMIN SSEBAGGALA

POLIISI ezzeemu okunoonyereza ku musango gwaggulwa ku muyimbi Jose Chameleone ku by’omuvubuka Robert Kalamagi eyafiira mu ddwaaliro e Mulago oluvannyuma lw’okwokerwa mu maka ga Chameleon e Sseguku.

Omwogezi wa ofiisi y’omuwaabi wa gavumenti Jane Okuo Kajuga yategeezezza Bukedde Online nti poliisi yasindika fayiro y’omusango guno mu ofiisi yaabwe bawabule ku kiki ekirina okukolebwa ne bagisoma wabula ne basanga nga waliwo ebituli ebyetaaga okuziba mu bujulizi obwakung’aanyizibwa bwe batyo ne bagiddiza poliisi mu February.

Akulira okubuuliriza ku misango ku poliisi y’e Katwe, Herbert Wanyoto yategeezezza nti bamalirizza okuziba ebituli ebibadde mu bujulizi obwetaagibwa mu fayiro eno nga ku lw'okutaano lwa wiiki ewedde lwe baabadde balina okugizzaayo ew’omuwaabi wa gavumenti abawabule ku kiddako. Kalamagi yali mutabani wa muliraanwa wa Chameleon e Seguku.

Kalamagi nga yakatuusibwa ku ddwaliro e Mulago.

Poliisi y’e Kajjansi ye yasooka okukola ku musango oluvannyuma ne wabeerawo okwemulugunya nti gukwatiddwa bubi fayiro n’ekyusa emikono okuva e Kajjansi n’ezzibwa e Katwe.

Poliisi beyasooka okuggyako sitetimenti abaali mu maka ga Chameleon baategeeza nti omusajja ono yali alumbye okukola obulabe mu maka ga Chameleone era poliisi olwatuukawo nga Kalamagi ayidde n’olususu lubambuse baamussaako empingu ku mikono ne bamuteeka ku kabangali kwe baamutwalira e Mulago gye yafiira.

Fayiro ng’ekyusizza emikono poliisi yaddamu okuggya sitetimenti ku baliraanwa ba Chameleone ne bawa obujulizi obukontana n’obwa Chameleone ne mukyalawe Daniela Atim bwe baawa.

Obujulizi obupya ku Chameleone buzuuse

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Muzamir Mutyaba yeegasse ku...

MUZAMIR Mutyaba oluvannyuma lw’okusalwako KCCA FC omwaka oguwedde, yeegasse ku Express FC mu liigi ya babinywera...

atambulira ku muggo. Mu ssaako ku kugulu we baamukubye essasi.

Eyakubiddwa essasi mu by'ok...

OMUKUNZI w’abavubuka mu NRM, Charles Kabagambe akukkulumidde amagye okumukuba amasasi mu kugulu kyokka ne batafaayo...

Pogba ne Zlatan

Pogba awolerezza Zlatan - '...

Ssita wa ManU ono awolerezza Zlatan nti muntumulamu nnyo era si musosoze mu langi ng’abamu bwe bakimuteekako n’ajuliza...

Mourinho ne Klopp

Mourinho tatuuza mumwa! Ala...

Ng'ensiike ya Spurs ne Liverpool ebindabinda, Jose Mourinho alangidde mutendesi munne Jurgen Klopp amalala. ...

Chelsea eby'okwangula esook...

Chelsea 0-0 Wolves Omutendesi Thomas Tuchel yatandise bubi emirimu mu Chelsea bwe baalemaganye 0-0 ne Wolves...