TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ababaka balagidde ebikwekweto ku Kony bigende mu maaso

Ababaka balagidde ebikwekweto ku Kony bigende mu maaso

Added 11th April 2013

AKAKIIKO ka Paalamenti akavunaanyizibwa ku byokwerinda kategeezezza nti amagye ga UPDF gaakugenda mu maaso n'okukola ebikwekweto by'okuyigga kyewaggula Joseph Kony mu Central African Republic nti kubanga tewali yali agayimirizza.



BYA AHMED KATEREGGA

AKAKIIKO ka Paalamenti akavunaanyizibwa ku byokwerinda kategeezezza nti amagye ga UPDF gaakugenda mu maaso n'okukola ebikwekweto by'okuyigga kyewaggula Joseph Kony mu Central African Republic nti kubanga tewali yali agayimirizza.

Ababaka bino baabitegeezezza omubaka w'ekibiina ky'obwa nnakyewa ekya 'Invisible Children' ,Jolly Grace A. Okot, eyabasisinkanye mu Paalemti ku Lwokusatu.

Ababaka baagambye nti tebamanyisibwako nti amagye ga Uganda gaali gategeezeddwa mu butongole okuyimiriza ebikwekweto bye gakola mu Central African Republic nga gayigga kyewaggula Joseph kony anoonyezebwa kkooti y'ensi yonna olw'okukola ebikolobero.

Bagambye nti bo kye bamanyi nti ekibinja kya UPDF kiri wamu n'ebibinja ebirala omuli ekya SPLA okuva mu South Sudan, eky'amagye ga gavumenti ya DR. Congo wansi w'omukago gwa Africa, nti era n'amagye ga C.A.R. gaaliko naye ne gabivaamu ng'olutalo olw'omunda lunyinyintidde olwaggyako Pulezidenti Francois Bonzize.

Baajulizza abakungu b'ebitongole by'ensi yonna omuli eky'amawanga amagatte n'omukago gwa Afrika, abaabdde mu kafubo wiiki ewedde ne baminisita; Sam Kuteesa ow'ensonga ez'ebweru, ne Dr. Crispus Kiyonga ow'ebyokwerinda, ne bakkiriza nti UPDF egenda mu maaso n'ebikwekweto bino.

Abayeekera ab;'akawamba obuyinza mu C.A.R. be baali balagidde amagye amagwira gonna gaveeyo, naye bwe baabadde mu kafubo n'abakulembeze b'mu masekkati ga Afirika mu kibuga Ndjamena ekya Chad ne balagirwea okussa mu nkola ebibadde bikolebwa gavumenti ennaanule omuli n'okuyigga kyewaggula kony.

Ababaka balagidde ebikwekweto ku Kony bigende mu maaso

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Muteesasira n’abasuubuzi abalala nga balumbye minisita.

Ab'akatale k'e Wandegeya ba...

ABASUUBUZI mu katale k'e Wandegeya balemesezza minisita wa Kampala, Nnalongo Benny Namugwanya okulondesa abakulembeze...

Pulezidenti Museveni e Bukedi.

Museveni akunze abavubuka k...

PULEZIDENTI Museveni asabye abavubuka okulonda abakulembeze abalina entegeka z'okubaggya mu bwavu okusinga okwesiba...

Olivia Nakyeyune (ku kkono), maama wa Bogere, Enabu, Kiplimo ne Dr. Rukare.

Muve ku masanyu mukuze ttal...

SSENTEBE w'akakiiko ka NCS, akatwala emizannyo mu ggwanga, Dr. Donald Rukare, akuutidde bannabyamizannyo okulemera...

Abazannyi ba KCCA (ku kkono) mu mupiira gw'omukwano ne ttiimu y'eggwanga eya U17. KCCA yawangudde (5-1).

Bright Stars ne KCCA ziggud...

Bright Stars - KCCA e Kavumba 10:00 ENNYONTA abawagizi ba liigi ya Uganda gye babadde nayo eggwaawo leero, era...

Decolas Kiiza, amyuka akulira emirimu mu FUFA, ng'alambuza abaakakiiko k'Amasaza. Wakati ye Ssejjengo ne Ssekabembe (amuddiridde mu ssuuti).

Ab'Amasaza balabuddwa

ABAKAKIIKO akategeka empaka z'Amasaza balabudde okugoba abazannyi n'abakungu ba ttiimu abanaatoloka mu nkambi awagenda...