
BYA ALICE NAMUTEBI
ABABAKA bakyewaggula abaagobwa mu kibiina kya NRM bakedde kwekalakaasiza ku kkooti oluvannyuma lw’okufuna amawulire nti kkooti yabadde etudde esalewo eggoye ku nsonga y'okubafuumuula mu Palamenti.
Ababaka bano okwabadde Theodore Sekikubo, Barnabas Tinkasiimire ne Wilfred Niwagaba abakulembeddwamu ba puliida baabwe okwabadde omulamuzi wa kkooti y’oku ntiko eyawummula, George William Kanyeihamba, Nicholas Opiyo ne Ogallo Wandera, batuukiridde omuwandisi wa kkooti enkulu, Erias Kisawuzi nga bagaala abannyonnyole enkola ya kkooti empya gye babadde batandiisewo ey’okuwulira omusango ne batuuka n’okusalawo nga tebayitiddwa yadde okuweebwa omukisa okwewozaako.
Wabula bino byonna Kisawuzi yabyewuunyizza era n'abyesammula n'abategeeza nti kkooti tennasalawo ku lunakuo omusango gwabwe lwe gugenda okuwulirwa, bwatyo n'abategeeza nti oyo yenna eyabawuddiisizza yabadde yeenoonyeza bibye!
Omubaka w'e Kibuku, Saleh Kamba yatwala okusaba mu kkooti etaputa ssemateeka nga ayagala kkooti esazeemu ensala ya sipiika Rebecca Kadaga ku ky’okukkiriza ababaka bano okusigala nga bakikirira ebitundu byabwe kubanga tebakyalina kibiina mwebagwa era n'asaba kkooti okuyimiriza ababaka bano okutuula n'okuteesa mu palamenti okutuusa nga omusango guwedde okusalibwawo.
Ababaka abaagobwa mu NRM beekalakaasizza ku kkooti