TOP

Abadde afera Maama Fiina obuwumbi bamuyodde

Added 14th May 2013

POLIISI ekutte omuvubuka omufere eyagenze ew’akulira abasawo b’ekinnansi mu ggwanga, Sylvia Namutebi (Maama Fiina) n’agezaako okumufera.Bya Joseph Mutebi

POLIISI ekutte  omuvubuka  omufere  eyagenze  ew’akulira abasawo b’ekinnansi mu ggwanga,  Sylvia Namutebi  (Maama Fiina) n’agezaako okumufera.  

Yamusabye amuwe akawunti ye, eya  bbanka ya Standard Charted amuteekereko n’omukono gw’akozesa mu bbanka  eno  ayisizeeko  obuwumbi  bwa ssente 10  ku 60 ze yatunze mu ttaka.

Ben Nsereko 27, ow’e Ggangu ku lw’e Busaabala yamaze ennaku ng’agenda  mu maka ga Maama Fiina e Bulenga ng’amutegeeza nga bwe yatunda ettaka  jjajja we lye yamuwa e Kaduggala -Masaka omuli eky’obugagga ky’amayinja agakola koolaasi.

Maama  Fiina yategeezezza  poliisi  nti Nsereko yagenda mu makage e Bulenga ku Lwokutaano oluvannyuma lw’okumala ebbanga ng’amukubira  essimu  ng’amutegeeza nga bw’alina ekizibu.

 “Olwatuuse  n’antegeeza nga bwe yaakaguza Abazungu  ettaka  jjajjawe lye yamuwa e Kaddugala Masaka erya yiika 36 , ku buwumbi 60 ne bamusasulako obuwumbi 30 mu bbanka ya Standard Charted wabula ng’atya okuzigyayo kuba  gavumenti ejja mukwata ng’erowooza nti  muyeekera” bwe yannyonnyodde.

Maama Fiina yagambye nti yasoose n’amuwa 300,000/- ng’azudde nti anoonya ssente zaakulyako  naye yalabidde awo ng’akomawo.

 Yamuyitidde poliisi eyamukutte n’aggalirwa. Wabula bwe yatuusiddwa ku poliisi yasabye Maama Fiina amusonyiwe kuba yabadde ayagala kufunira bakyala be abasatu okuli   ali olubuto olukulu obuyambi.

Akulira poliisi y’e Bulenga Kamugira Kalindoli yategeezezza nti baamuguddeko omusango gw’okusalimbira mu makaage ku fayiro nnamba SD/18/12/05/2013. 

 

Abadde afera Maama Fiina obuwumbi bamuyodde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...