TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba yunivasite y'e Kyambogo basimbiddwa mu kkooti

Aba yunivasite y'e Kyambogo basimbiddwa mu kkooti

Added 16th May 2013

ABAKUNGU ba yunivasite ye Kyambogo baasimbiddwa mu kkooti ewozesa abakenuzi e Kololo ne baggulwako emisango 7 omuli okujeemera ebiragiro bya Kaliisoliiso n’okwetaba mu kuggya amyuka Cansala wa yunivasite eno mu ofiisi olw’akakuku ke baamulinako.

 

 

 

 

Bya ALICE NAMUTEBI

ABAKUNGU ba yunivasite ye Kyambogo baasimbiddwa mu kkooti ewozesa abakenuzi e Kololo ne baggulwako emisango 7 omuli okujeemera ebiragiro bya Kaliisoliiso n’okwetaba mu kuggya amyuka Cansala wa yunivasite eno mu ofiisi olw’akakuku ke baamulinako.

Polof. John Okedi ssentebe w’akakiiko ka yunivasite, Polof. Opuda Asibo amyuka cansala, bbaasa Sam Akorimo, Wilfred Nahamya, Daniel Ndwaula ne Christine Obonyo abasomesa be baavunaaniddwa.

Ye Jackson Betinamah ataabaddewo, omulamuzi Dorothy Lwanga yalagidde akwatibwe naye aleetebwe ku kkooti avunaanibwe. Oludda oluwaabi olwakulembeddwa Sydney Asubo lwategezeezza nti nga October 31, 2012 abakungu abo beenyigira mu lukiiko olwawaliriza Polof.

Omollo Ndiege eyali omumyuka wa Cansala okuva mu ofiisi nga bagamba nti baamuggulako omusango gwa kalebule wabula ne bataleeta bujulizi bwonna.

Obonyo yategeeza nga Omollo bwe yamukuluusanya.  Beeyimiriddwa nga baakukomawo mu kkooti nga May 29, 2013.

Aba yunivasite y’e Kyambogo basimbiddwa mu kkooti

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ntambi ng'atwalibwa mu kkomera e Luzira.

Sylvia Ntambi owa Equal Opp...

Omulamuzi Pamela Lamunu  owa kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi e Kololo  asindise Muweebwa mu kkomera bwalemeddwa...

Kalenda okuli ebifaananyi bya Yiga

Olumbe lwa Pasita Yiga balu...

Mu lumbe lwa pasita Yiga abatunda eby'okulya, masiki n'abatunda t-shirt okuli ekifaananyi ky'omugenzi bali mu keetalo...

Kaadi y'embaga ya Ramond ne Joy.

Abadde agenda okukuba embag...

Kigambibwa nti omugenzi baamuddusizza mu ddwaaliro Iya IHK abasawo gye bakizuulidde nti omusaayi gubadde gumaze...

Paasita Yiga ng'ali n'abagoberezi be

Ebintu by'azze apanga okufu...

OMU ku baali abakubi b’endongo mu Revival Band yagambye nti, yagyegattako mu 2014 kyokka nga baalina ekizibu ky’okuba...

Pasita Yiga ng’abuulira enjiri.

Engeri Yiga gye yeeyubula o...

AUGUSTINE Yiga ‘Abizzaayo', yazaalibwa mu maka maavu, n'alaba embaawo nnya zokka, tebyamulobera kwetetenkanya kufuuka...